Namba Ez'omugerageranyorational Numbers

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Namba Ezomugerageranyo (Rational Numbers) nga 5/1, 1/2, 1.75, -97/3...

Namba ez'omugerageranyo (rational number) ye namba yonna eyinza okuwandiikibwa ng’ekitundu /omugerageranyo (ratio) gwa kibalirampuyibbiri ebbiri mu ngeri ey’okugerageranya. Kino kitegeeza nti namba enzijuvu eba ya kitundu bwe tuba tuyinza okugiwandiika ng’enkutulemu (fraction) nga kinnawaggulu (numerator) ne kinnawansi (denominator) zombi kibalirampuyibbiri (integers).

Mu mugereeso gwa namba, ekigambo “namba eyomugerageranyo” kiva mu kigambo " omugerageranyo" (ratio) kubanga namba eyomugerageranyo (rational numbers) ze zisobola okuwandiikibwa nga emigerageranyo(in the ratio form) a/b, nga a ne b namba kibalirampuyibbiri(integers). kibalirampuyibbiri eba ya mugerageranyo (rational numba) kubanga eyinza okuwandiikibwa ng’enkutulemu bw’eti n/1. Ekyokulabirako 1 = 1/1 , 2 = 2/1, 3=, 3/1 n’okweyongerayo. Kyokka namba nga 1/2, 1/3, ¼, 64444288/968463, ne -1/8 nazo za mugerageranyo kubanga nkutulemu ezirina kinawaggulu ne kinnawansi nga kibalirampuyibbiri.

N’olwekyo omugereko (set) gwa namba ez'emigerageranyo (rational numbers) gwonna guba gwefaananyirizaako bwe guti: (5/9, -7, 2.15, -103/13, n’endala. Namba yonna eyinza okuwandiikibwa nga omukutule eyitibwa ya mugerageranyo(Rational Number). Kino kitegeeza singa x ne y ze namba kibalirampuyibbiri (integers), kitegeeza x/y namba ya mugerageranyo.

Eky’okulabirako: singa x ye 7 ate nga y ye 2, kitegeeza x/y = 7/2 = 3.5 nga namba mugerageranyo. Embaranguza eno w’etakolera wokka nga y eri ziro kubanga okugabanya ne zeero tekirina nsonjola.

Manya: Mu namba z’emigerageranyo : x/y : x ne y ziba namba za kibalirampuyibbiri, naye y teyinza kuba zeero. N’olwekyo kimu kya kibiri (½) eba namba za mugerageranyo ne 2 nayo ya mugerageranyo kubanga oyinza okugiwandiika nga 2/1. Okutwalira awamu namba z’emigerageranyo zirimu:

Kibalirampuyibbiri zonna zonna

Emikutule gyonna

Waliwo namba ezitali za migerageranyo (numbers that are not rational number). Zino tuziyita namba ezitali za mugerageranyo(Irrational).

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

BelarusKatongaPader (disitulikit)KigaliOMUGASOAlice KaboyoCameroonButurukiEmyezi mu MwakaOlubuguumiriro lw'Enkulungo y'EnsiFfeneKampalaImmaculate AkelloObukwafu n'Obukwafuwavu(Thickness and density)Lwaki Tukuuma Obuwangaaliro bwaffe(Why we should Protetct our Emvironment)TunisiaEbikolwaOmusujja gw'ensiriJames OnenDavid BahatiBulaayaLungerezaForceEddagala erigema olukusenseObuwangaaliro obw'Obutonde(the natural environment)Omumbejja Elizabeth ow'e TooroEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?OlunyarwandaAustralia (ssemazinga)BusiaOMUSUObuwakatirwaOkusengeka namba (Ordering numbers)AligebbulaRosemary SenindeJustine Lumumba KasuleSenegalOmwololaEkirongoosabirwadde (Surgery)Amateeka agafuga Empandiika y'OlugandaWashington County, MissouriJoel SsenyonyiThe mithDenimaakaPalabek KalAmazziKookoweKazannyirizi(Character)LithueeniaLangiBeti Kamya-TurwomweTororo (disitulikit)Eddagala eriyitibwa Mwambala zitonyaAdolf HitlerObuyuteEddy KenzoEndagabwolekeroENIMAWALumonde owa Kipapaali mulime owonnya obwavuBetty NamboozeSusan Nalugwa KiguliLiberiyaOkwekwasawaza (bonding)Okulima amayuni🡆 More