Rosemary Seninde: Munnabyabufuzi

Rosemary Nansubuga Seninde, era Rosemary nansubuga Sseninde yazaalibwa Rosemary Nansubuga nga 7 Ogusooka 1965, munayuganda munabyanjigiriza era munabyabufuzi.

Ye Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza mu kabineeti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Ogw;omukaaga 2016, ng'adda mu kifo kya John Chrysostom Muyingo eyafuuka Minisita omubeezi w'eby'enjigiriza ebya waggulu. Mu kiseera kye kimu akola Palamenti ya Uganda.

Ebyafaayo n'okusoma

Rosemary Nansubuga yazaalibwa mu disitulikiti eye Wakiso nga 7 Ogusooka 1965. Yagenda ku St. Agnes Boarding Primary School e Naggalama gyeyatandikira okusoma. Oluvannyuma yagenda mu St. Joseph's Senior Secondary School mu Nsambya okusoma O-Level, n'amaliriza mu 1982. Yasomera mu Trinity College Nabbingo okusoma A-Level, n'amaliriza mu 1985.

Mu 1997 yafuna ebbaluwa y'obusomesa okuva mu Lady Irene College, mu Ndejje, kati ekitundu kya Ndejje University. Omwaka ogwaddirira, yeetaba mu kubangulwa okwa wiiki 10 mu National Institute of Small Industries Extension Training (NISIET), mu Hyderabad, India, n'attikirwa satifikeeti.

Mu 2001, yafuna dipulooma mu by'ebyenjigiriza, eyamuweebwa Institute of Teacher Education (ITEK), kati ekitundu kya Kyambogo University. Mu 2005, yafuna diguli esooka mu Human Resource Management, eyamuweebwa Makerere University. Oluvannyuma mu 2009, yafuna diguli ey'okubiri mu Arts mu ethics and public management.

Omulimu gw'obusomesa

Yatandika omulimu ogw'obusomesa mu 1987, ng'omusomesa/omulambisi mu ssomero ly'ekisulo erya pulayimale, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1994. Oluvannyuma yakyuusibwa ku Wampeewo Senior Secondary School ng'omusomesa, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2000. Mu 2001, okumala ebbanga eritaaweza mwaka gumu, yakolera ng'omusomesa ku Shimoni Teacher Training College.

Eby'obufuzi

Mu 2001, yayingira eby'obufuzi bya Uganda era n'alondebwa mu Palamenti ya Uganda okukiikirira abakyala ba disitulikiti eye Wakiso. Yaddamu okulondebwa mu 2006, 2011 ne 2016, era ng'ekifo y'akiwangula. Mu kabineeti eyalondebwa nga 6 Ogw'omukaaga 2016, yalondebwa nga Minisita omubeezi Ow'ebyenjigiriza bya pulayimale.

Obulamu bwe

Rosemary Nansubuga Sseninde yafumbirwa Zephaniah Kizza Kikoba Walube Sseninde okuva nga 12 Ogwekkumi 1985. Maama w'abaana musanvu. Muwala we, Jean Sseninde, muzannyi w'omupiira ogwa pulofeesoni, mu ttiimu y'abakyala eya London Phoenix, mu English Second League.

Laba era

Ebyawandiikibwa

Enkolagana ez'ebweru

Tags:

Rosemary Seninde Ebyafaayo nokusomaRosemary Seninde Omulimu gwobusomesaRosemary Seninde EbyobufuziRosemary Seninde Obulamu bweRosemary Seninde Laba eraRosemary Seninde EbyawandiikibwaRosemary Seninde Enkolagana ezebweruRosemary SenindeJohn Chrysestom Muyingoen:Cabinet of Ugandaen:Ministry of Education and Sports (Uganda)en:Parliament of Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

DoodoLulyansoloFlorence NamayanjaMityana (disitulikit)Olupapula OlusookaOMWENGE NA KABI KAGWOOkulya emyunguOKubalirira (Arithmetic)Diana NkesigaENGERO ZA BUGANDAImmaculate AkelloLibyaEmisingi gya NambaAkasana ddagala eri abalwadde ba pulesaShamim MalendeOkulima green paperHo Chi Minh CityEntababutondeObulwadde bw 'ensusuAga KhanEndagamuwendo (digits)Whitfield County, GeorgiaEKIKA KY'EMPEEWOAmazzi mu mubiri (water in the Body)EkimuliBugandaOkusogola omwengeEnergyMalawiKandidaRadoje DomanovićFlavia TumusiimeEYAABWEMontenegroEsteri TebandekeEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?NnalubaaleMaggie KigoziKabaka wa BugandaYitaleKihiihiEryokanga n’etonyaMonacoGabonKapir AtiiraSantiago, ChileTokyoEddagala lya ulcers ez'omulubutoBaibuliRose AkolEbika by’ettakaKkanisa ya Yeso EyannamaddalaNBS Television (Uganda)Katumba WamalaMooskoKilimanjaroAdonia KatungisaMcIntosh County, GeorgiaLatviaTanzaniaOkusoosowaza ebyenfuna (materialism)🡆 More