Biodiversity Obulamu Obw'enjawulo

Gakuweebwa Muwanga !! Kino ky' ekibalo Katonda kye yateekawo okusobozesa obulamu ku nkulungo y’Ensi yaffe.Okusooka obulamu bwetaaga bino wansi:

(i)Ekitangaala eky’ekigero

(ii)Obulamu obw’enjawulo(Biodiversity)

(iii)Nabuzimbe eya Kaboni n’ebbugumu ery’ekigero

(iv)Amazzi

(v)Ebirungo by’emikka ebikola empewo ey’obulamu

Okukuuma obuwangaaliro bwaffe n’olwekyo kiba kitwetaagisa okukuuma omutindo gw’obutonde ogwa bino wansi:

(a)Ebiramu eby’enjawulo ebiri ku Nsi, ebimera, ensolo, n’obulamu obusirikitu obusinga obungi.

(b)Kaboni n’ekigero ky’ebbugumu ekyetaagisa ku Nsi.

(c)Amazzi agali ku Nsi

(d)Empewo esangibwa mu Nampewo ku Nsi.

Ekiwangaaliro mulamwa gwe Mulamwa Muwanga gwe yazimbye okuva mu bigambo by’Oluganda “obutonde bw’Ensi mwe tuwangaalira”. Abamu mujja kulowooza nti netumiikiriza okuzimba emiramwa gye tulina mu luganda naye ekituufu kiri nti nze nga omunoonyereza bwe nzuula obwetaavu obw’okukola ennongoosereza mu bigambo bye tukozesa sisobola kukikwatibwa nsonyi wabula ngenda mu maaso butereevu n’enkola ennongoosereza.

Mu lulimi lwonna omulamwa ogujjibwayo ekigambo ekimu guba mwangu okutegeera , okujjukira n’okunnyonnyola okusinga ogwo ogujjibwayo ebigambo ebibiri oba okusingawo. Tubadde tukozesa ebigambo “obutonde bw’ensi”(nature of the earth) okuvvuunula “environment”. Obuzibo bubadde bujja nga twetaaga okuvvuunula:

•Obuwangaaliro bw'Obutonde (the “natural” environment )

Tekikola makulu kugamba nti “obutonde bw’ensi obw’obutonde”(the natural environment) kubanga environment kiraga mbeera eyinza okuba ey’obonde oba etali ya butonde.

Okuddira ebigambo “obnutonde bw’ensi mwe tuwangaalira” n’embijjamu omulamwa gw’obuwangaaliro kigenderedde kujjawo kubuzaabuzibwa okwo era kati osobola okuvvuunula “the natural environment ” butereevu n’akagambululo “obuwangaaliro bw’obutonde”.

Kigonze nnyo , kati mu kifo ky’okugamba obutonde bw’Ensi okozesa kigambo kimu “obuwangaaliro” era n’okinnyonnyola ensibuko y’akyo nga ekiva mu bigambo by’oluganda “obutonde bw’ensi mwe tuwangaalira.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Amakumi abiri mu ssatuEnkyusabuzuba (Chemicals, Pure susbstances)Okwekwasawaza (bonding)Omubalanguzi(mathematician)Muteesa I of BugandaNsanyukira ekigambo kino lyricsBetty NamboozeRepublic of CongoFreda Mubanda KasseKabakaSusan Nalugwa KiguliBeti Kamya-TurwomweOkukunganya Amazzi G'enkubaMuhammad SsegirinyaTunisiaBubirigiOkusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)Amakumi ataanoTtiimu ya Vipers SCBeninCaayiBakitiiriyaAmazziBulaayaNigeriaEnzikuAluminiyamuImmaculate AkelloJustine NabbosaLunaanaEntaba-wordsEntababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)UetersenKabaka wa BugandaJoan KageziKookolo w’omu lubutoOkuwandiika Baguma MuhendaManafwa (disitulikit)EBISOKOKifabakaziBoda-bodaEnnyingo(Terms, nomials)GirimaneOmusujja gw'ensiriEddagala erigema olukusenseOkukomola AbasajjaEkkuumiro ly'ebisolo erya BwindiThe concepts necessary for Luganda discourse on the science of electricityFrancis ZaakeMolingaEsther Mayambala KisaakyeNwoya (disitulikit)PpookinoMpuyimusanvu (heptagon)Lumonde awusseEngozo n'Engolo(Cams and Cranks)EnnambaVladimir PutinEmyezi mu MwakaWinnie ByanyimaBa Ria🡆 More