Joan Kagezi

  Joan Namazzi Kagezi (née Namazzi; 14 Ogwomusanvu 1967 – 30 Ogwokusatu 2015), yali munnamateeka wa Uganda era omuwolereza wa Gavumeti.

Yatemulwa nga 30 Ogwokusatu 2015 e Kiwaatule, mu Kampala, bweyali adda ewaka. Mu kaseera we yattibwa, yali mumyuka w'omuwolerza wa Gavumenti era yali akulembera Divizoni ekwasaganya emisago gy'eddaala y'ensi yonna mu minisitule ya Uganda eya Minisitule y'ebyamateeka n'ensonga za Ssemateeka.

Obuto bwe n'emisomo gye

Yazalibwa n'atuumibwa Joan Namazzi eri omwami Kaggwa Sserwadda n'omukyala Sserwadda ab'okukyalo kya Luteete, Disitulikiti y'e Rakai, nga 14 Ogwomusanvu 1967. Yasomera ku Nsuube Primary School okuva mu 1973 - 1980. Yasomera ne ku Mount Saint Mary's College Namagunga, essomero lya Ssekendule ery'ekisulo ery'abawala bokka elisangibwa mu Disitulikiti y'e Mukono, mu mismo gye gy'ombi egya O ne V levo. Mu 1987, yegatta ku Ssettendekero wa Makerere okusoma amateeka, nga yatikkirwa mu 1990 ne Diguli esooka mu mateeka. Mu 1992, yafuna Dipuloma mu kukwasisa amateeka eya Diploma in Legal Practice okuva mu Law Development Centre. Mu kaseera w'eyafiira yali asoma Diguli ey'okubiri mu kukwasaganya bizinensi eya Master of Business Administration okuva mu Eastern and Southern African Management Institute.

Emirimu gye

Okuyita mu myaka 23 egy'emirimu gye nga munnamteeka, Kagezi yaweereza ng'omukozi wa Gavumenti ya Uganda. Nga y'akava mu Law Development Centre mu 1992, yafuna kifo ng'akwasganya eby'ettaka mu Minisitule y'ebyettaka, amayumba n'enkulakulana y'ekibuga. Mu Gwokutaano 1994, Yalondebwa ku ky'omuwaabi wa Gavumenti mu Minisitule y'ebya mateeka n'ensonga za ssemateeka. Yakuzibwa mu Gwokubiri 2002 ng'akulira abawaabi ba Gavumenti. Mu Gwomunaana 2007, yakuzibwa ku kya siniya akulembera abawaabi ba Gavumenti. Mu Gusooka 2015, yalondebwa okukulira Divizoni ekwasaganya emisango egiri ku mutendera gw'si yonna, ng'omumuka wa Dayilekita w'abawolereza ba Gavumenti.

Okufa kwe

Nga 30 Ogwokusatu 2015, ku saawa 7.30 pm ez'akawungeezi, Kagezi, eyali avuga emmotoka y'omulimu ekika kya Ford double-cabin pick up nga yaliko namba puleeti ya Gavumenti nga talina bakuumi, yayimirira ku mabbali g'ekkubo okugula ebivaavava mu kimu ku bitundu ebiri mu Kampala ekye Kiwaatule. Yali adda mu makage agaali ku muliraano e Najjera. Mu mmotoka ye mwalimu abaana basatu ku baana be abana, abawala ababiri n'omulenzi omu. Omuwala omu yali avuddeyo mu mmotoka okugenda okunona ebintu ng'abalala basigadde mu. Omuwala bweyali addayo, omusajja yasembera ku mmotoka. yakonkona ku ddirisa ly'omuvuzi eryali ligaddwa ng'alinga ayagala okumwebuuza. Kagezi bweyaggulawo, omusajja yamukuba amasasi abiri mu bulago n'adda emabega ng'alinda owa boda boda, era ne badduka. Yaddusibwa mu ddwaliro ekulu erye Mulago National Referral Hospital, gye yalangirirwa nti yali afudde nga y'akatuusibwa ku saawa 8.00 ez'ekiro. Yalina emyaka 47 egy'obukulu.

Emisango gye yakolako

Mu misango eminene Joan Kagezi gye yetabamu oba okukulembera mu myaka 21 ng'omuwaabi wa Gavumenti gye gino:

  • Omusango ogwali guvunaanibwa Munnayuganda zaalwa ye Australia omukugu mu ndwadde z'omutima Aggrey Kiyingi olw'okutta mukaziwe, munnamateeka Robinah Kasirye Kiyingi. Yali yakubibwa amasasi mu Gwomusanvu 2005 wabweru w'kikomera ky'amaka gaabwe e Buziga, ku muliraano gw'ekibuga Kampala. Gavumenti yawangulwa mu musango guno.Okuvunaanibwa kw'eyali owa munisipaal y'e Arua, Akbar Hussein Godi, nga mukyala we yali yattibwa nga 4 Ogwekkuminebiri 2008 mu Disitulikiti y'e Mukono. Mu Gwokubiri 2011, Godi yasomerwa emyaka 25 mu nkomyo oluvanyuma lw'okusingisibwa omusango gw'okutta Rehema Caesar Godi, eyalina emyaka 19 mu kaseera we yafiira.
  • Okuvunaanibwa kw'omusuubuzi wa Kampala Thomas Nkulungira, amanyikiddwa nga "Tonku", nga muganziwe yali yattibwa wakati w'ennaku z'omwezi 21 ne 30 Ogwekkuminebiri 2010. Omubiri gwe gwasuulibwa mu kinnya kya kabuyonjo mu maka ga Nkulungira e Muyenga, okuliraana Kampala. Nga 13 Ogwomunaana 2011, omulamuzi yasalira Tonku ekibonerezo kya kusibwa mayisa olw'obutemu.
  • Okuvunanibwa kwa Thomas Kwoyelo, omuyeekera wa Lord's Resistance Army, ku by'okuwamba, okutemula abantu, okukabasanya, n'okutulugunya saako n'okutugumbula abantu. Omusango gwasazibwamu Kkooti ya Uganda etaputa Ssemateka bwe yasalawo okumwejjereza. Mu kujulira, wabula, Kkooyi ya Uganda ensukkulumu yasazaamu okusalawo ku nga 8 Ogwokuna 2015, n'ezaaayo omusango guno mu Kkooti enkulu okuwulirwa.
  • Omusango Kagezi gwe yali akolako mu kaseera we yafiira ogw'abantu 13 abaali bavunaanibwa okwetaba mu kulumbaga kwa Kampala mu Gwomusanvu 2010, okwabalukawo mu mupiira gw'ensi yonna ogw'akamalirizo mu 2010, omwafiira abantu 79.

Famire ye

Ng'akyasoma ku Makerere University mu myaka gye 1980, yasisinkana omwami we ow'ebiseera eby'omumaaso, Henry Morton Kagezi. Yafa mu 2006. Bombi baalina abaana abalenzi babiri n'abawala babiri : George Phillip Kagezi eyazaalibwa mu 1993, Carol Milcah Kagezi eyazaalibwa mu 1994, Pearl Priscilla Kagezi eyazaalibwa mu 1999, ne John Harvey Kagezi eyazaalibwa mu 2004. Pulezidenti Yoweri Museveni yeyama okusasula ebisale by'essomero eby'abaana okutuusa okutuusa lwe balisalawo okukomekereza emisomo gyaabwe.

Okunnonyereza ku batemu abamutemula

Nga 8 Ogwokuna 2015, amaggye ga Uganda n'abakungu mu by'okwerinda aba U.S. bakwata Jamal Abdullah Kiyemba, eyali yakwatibwa mu Guantanamo. Wabula tewaliwo bukakafu bwankomeredde bwali bukwasa Kiyemba ku kutemulwa kwa Kagezi, abakugu mu kunoonyereza baali bamubuuza akana n'akataano ku kigendererwa kye mu musango ogwo n'emisango emirala.

Laba na bino

Ebijuliziddwamu

Tags:

Joan Kagezi Obuto bwe nemisomo gyeJoan Kagezi Emirimu gyeJoan Kagezi Okufa kweJoan Kagezi Emisango gye yakolakoJoan Kagezi Famire yeJoan Kagezi Okunnonyereza ku batemu abamutemulaJoan Kagezi Laba na binoJoan Kagezi EbijuliziddwamuJoan Kagezien:Assassinationen:Kampalaen:Kiwaatuleen:Ministry of Justice and Constitutional Affairs (Uganda)en:State Attorneyen:Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Ekitangattisa(Photosynthesis)GirimaneYenga1Agnes AmeedeNzikiriza ey'eNiceaKabakaEmbu z'AmannyaRose MwebazaVilniusEKIBWANKULATACredonia MwerindeEmpisa ez'Obuntu(Morals)GabonPakubaKhalid AuchoDisitulikiti za UgandaJudy Rugasira KyandaOLWEZAMediterranean SeaParisKadimiyaamu(Cadmium)Obulumi mu lubutoPulesaEritreaEssomanjatulaOMULULUUZANzikiriza y'AbatumeBukiikakkonoMexicoPpookinoEnkakaBududaFred RwigyemaYulaniyaamu (Uranium)ObuwakatirwaAmasoboza (Energy)GhanaEnnambaOkutanaPaltogaEquatorial GuineaSarah Achieng OpendiMoses AliHannz TactiqOKULIMA EBIJANJAALOAfirikaCatherine Odora HoppersEbyobuwangwa (Culture)AniyaOsakaBupooloOkusiriiza entamuEssaza Ekkulu erya Kampala (Eklezia Katolika)ENNAKU MU SSABIITIMadagascarAbu Kawenja🡆 More