Okulima Ebijanjaalo

OKULIMA EBIJANJAALO.

Ebijanjaalo ky'ekilime ekula amangu era ngakisola okukuwa sente singa oba ng'obirabiridde bulungi ddala.Tulina ebika by'ebijanjaalo biwerako era nga mubinomulimu bino wammanga . 1 ,kanyeebwa 2 , Nambaale 3 ,Yellow beans ,Nakyewogola n'ebirara bingi.Omulimi w'oba osimbye ebijanjaalo byo mubbanga lyamyezi ebiri n'ekitundu kwesatu obeera okungula eri gwe aba ayagala okutunda ebibisi. EBIJANJAALO BY'ETAAGA BINO WAMMANGA. Ebijanjaalo bino by'etaaga ennimiro nga sinnyonjo nnyo kisukiridde kubanga birina ensigo nnene bulungi osobola okugisimba awantu neweba nga siwayonjo tebilinga bimera birara . Ebijanjaalo ng'obisimba olina okubisimba mumabanga amalungi ddala era nga gwe akozesa engalo zo ng'osimba olina okusimba mumabanga ga 30 ku 30 cm oba okusingako awo katono . Ebijanjaalo ngabimeze bifuyiremu ekigimusa kyaNPK owamazzi era nga kino kiyamba nnyo kubanga kilimu ebiriisa byamirindu essatu ebisinga okwetagibwa ekimera era muno mulimu [Nitrogen,Phosphorus,Pattasium].Ng'omaze okufuyira ebijanjaalo byo ,ekiddako kuba kubikoola era nga bino bikoolebwe omulindi gumu kw'ebiri . Ebijanjaalo ngabimaze okukoolebwa ngabituuse ku stage emulisa , bifuyire n'eddagala ely'ebiwuka ngalino mulimu Rocket ,Turfgor ,Dudu cyper n'ebirara era ngalino mutabikwamu ely'obuwunga liyite Dithen oba liyite Mancozeb n'ekigimusa ekiyitibwa Allwin gold era ngakino kiyambako ekimera okuleeta amatabi n'okukwasa okimuli . Ebiseera bw'ebiba ngabyankuba ebijanjaala kasita bileeta eminnyololo ,ofuna omo ejiiko bbiri n'omutabula mobbomba n'eddagala lyebiwuka nga Rocket n'ofuyira ebijanjaalo byo.Kino kiyamba okugumya ekikuta ky'ekijanjaalo amazzi nga tegasobola kuyingira munda kwonona mpeke zebijanjaalo . OBULWADDE BW'EBIJANJAALO . 1 ,KIBABUKO . Ebiseera ebisinga okwenkuba ebijanjaalo bibabuka ebikoola n'ebijanjaalo byennyini era kino ng'osobala okukigoba ne mancozeb oba fungalcil. 2 ,KIWOTOKA. Oluusi ebijanjaalo bimanyi okuwotoka era ngakino kiyinza okuva kumunyeera ,kale obalina okukozesa eddagala lyonna ely'ebiwuka. 3 ,EKIGENGE. Kino osobola okukozesa Dudu acelamectin. EBIWUKA EBIYIGANNYA EBIJANJAALO 1 , Ebisaanyi ngabino bilya ebikoola n'ebimuli . 2 ,Munnyeera ng'ono abiwotosa . 3 ,Amagongolo ngagano galya ebijanjaalo naddala nga bigudde . 3 ,Amayanzi era ngagano galya ebimuli .Okuziyiza bino kozesa eddagala elitta ebiwuka . MUBEERE BULUNGI ,TUNADDAMU NATE MUKAMA ABAKUUME MBADDE KIKANJA JOHN BAPTIST. 0759-241-525. 0700-762-336.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Ngora (disitulikit)EssomabiramuEssomansiLungerezaPrince Wasajja KiwanukaAssani BajopeJinja (disitulikit)KenyaVladimir PutinEkinonoozo (Engineering)Napooleon BonapatMargaret MunghereraMbwaKassandaRosemary SalmonEKIKAKALAOmulangiriziBebe CoolAlgeriaSea of AzovKookolo w'EkibumbaAmaanyi g’EnjubaClinch County, GeorgiaBotswanaOkutanaOkubalaKompyutaSsembalirwa nicholas/sandboxBbuulweAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaJudy Obitre–GamaYitaleKibingoAnnet Katusiime MugishaEMMYEZILukaagaProscovia NalweyisoBeninAzawiCleopatra KoheirweAisha SekindiKalagalaPhilly Bongole LutaayaOmuti omuzimba ndegeyaSt. Anthonys Secondary School KayungaAmambuluggaJoan KageziFred RwigyemaIganga (disitulikit)OLWEZARosette Kajungu MutambiKamuswagaKasawoOlubuguumiriro lw'Enkulungo y'EnsiJinjaSophie Gombya🡆 More