Ttiimu Ya Vipers Sc

Template:Infobox football club Vipers SC ttimu y'omuzannyo gw'omupiira gw'ebigere esangibwa mu Kampala, Uganda.

Baakazibwako erinnya ly'obusaggwa oba Nyokas (mu luswayiri kitegeeza misota). 

Ebyafaayo bya ttiimu eno

Kilaabu y'omupiira eno yatandikibwawo nga Bunamwaya FC mu 1969.

Ttiimu ya Vipers SC ezannye mu liigi ya Uganda ey'ababinywera okuva mu 2006 oluvanyuma lw'okuwangula liigi ya Wakiso Disitulikiti ne liigi y'okusunsulamu eya Super Mini League promotion mu 2005. Baamalira mu masekkati g'ekimeeza mu sizoni ez'omuddiŋŋanwa 2006–07.

Nga bayambibwako pulezidenti Lawrence Mulindwa, kilaabu y'asayininga abazannyi eb'enjawulo ab'omugaso mu sizoni ya 2010, ga mw'alimu abazanyi musanvu abaali ku ttiimu y'eggwanga ey'omupiira mu biseera ebyo. Bunamwaya bawangula ekikopo ky'abwe eky'asooka mu liigi y'ababinywera nga bongera kw'ekyo ky'abaali balina. Tebaasobola kwetaba mu mpaka za liigi ya CAF mu 2011 olw'ensonga z'eby'ensimbi.

Bunamwaya tebaasobola kukuuma buwanguzi bw'abwe nga bamalira mu kifo ky'akusatu mu 2011 n'emu ky'okubiri mu liigi ya 2012.

Nga 21 Ogwomunaana 2012, Bunamwaya y'akyusibwa eriinya n'efuuka Vipers SC n'ekigendererwa "eky'okulinyisa omutindo gwa kilaabu" era n'okubafuula ab'enkizo mu Ggwanga lyonna.

Vipers bawangulwa mu mpaka ez'akamalirizo ez'omupiira gwa Uganda mu 2013 mu ngeri eyali emenya omutima. Oluvannyuma lw'okukulembera eddakiika 78 nga balina goolo eyali eibiddwa Joseph Mprade mu penati, Ssettendekero wa Victoria University yateeba goola mu mu saawa ey'akamalirizo era nebawanglwa mu penati 5–3.

Obuwanguzi mu liigi bw'ajja oluvannyuma mu sizoni ya 2014–15 oluvanyuma lw'akalulu akakubwa nti Vipers yali yawangulwako omulundi gumu gwokka. Bakulemberwamu Edward Golola. Kilaabu eno erina enkolagana y'amaanyi n'essomero lya St. Mary's mu Kitende, ng'abazanyi 17 abaali ku tiimu eyawangula mu 2015 baava mu ssomero eryo.

Obuwanguzi bw'asanga aba Vipers bali mu mpaka za ssemazinga wa Afrika omulundi ogwasookeraddal. Mu liigi ya 2016 CAF Champions League, baawangulwa omulundi gwaabwe ogwasooka mu mpaka za ssemazinga wa Afrika 2–1 eri ttiimu ya Enyimba FC ey'e Nigeria mu mpaka z'okusunsulamu.

Vipers yamalira mu ky'okubiri mu sizoni ya 2015–16 era obuwanguzi bwaabwe mu kikopo kya Uganda Cup, nga bawangula Onduparaka FC 3–1. Obuwanguzi buno bw'abasanyiza okwetaba mu mpaka za 2017 CAF Confederation Cup gy'ebakubira tiimu ya Volcan Club okuva mu Comoros 1–1 mu kukyala kwabwe mu lawundi y'okusunsulamu wabula bakubibwa tiimu ya South Africa Platinum Stars ku mulundi ogw'asooka 3–2 okuva ku penati eyaweebwa mu ddakiika eya 90.

Aba Vipers beetaba mu liigi ya 2018-19 CAF Champions League ng'eno bawangulwa aba CS Constantine okuva mu Algeria 3–0 nga bawandulwa ku mulundi ogusooka okuva mu kibinja.

Mu Gwokutaaano 2020, Vipers sc balangirirwa ng'abawanguzi ba liigi ya Uganda ey'ababinywera mu 2019/2020 nga baakulembera n'obubonero 54 okuva mu mipiira 25 omulundi ogw'okuna mu byafaayo oluvanyuma lwa FUFA okusazaamu liigi olw'okubalukawo kw'ekirwadde kya COVID19.

Mu Gwokuna 2022 Vipers yawangula KCCA FC ku kisaawe ky'e Lugogo 2-1 nga balumba okuva emabega nga bakozesa Kaputeeni waabwe Halid Lwaliwa ne Milton Marisa. Vipers SC era bawanika ekikopo oluvanyuma lw'okukuba Express FC 3-0 ku kisaawe kya St. Mary's n'emipiira ena egisigaddeyo ku sizoni ya 2021-2022

Ekisaawe ky'abazannyiramu

Bazanyira mu kisaawe kya St. Mary's-Kitende, ekituuza abantu 25,000. Ekisaawe kino kyamalirizibwa okuddabirizibwa mu 2018 ne kisaawe kya kapeti.

Obuwanguzi bwe batuukako

      2010, 2015, 2017–2018, 2019–2020, 2021-2022
  • Ekikopo kya Uganda Cup: 2
      2016, 2021
      2015
      2019

Abazannyi abali mu ttiimu kati

Mu Gwokutaano 25, 2022  

No. Pos. Nation Player
1 GK Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Fabien Mutombora
2 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  SSD Joseph Dhata
3 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Dissan Galiwango
4 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Livingstone Mulondo
5 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Asiku Bashir
6 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Siraje Ssentamu
7 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Orit Ibrahim
8 MF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Jamil Kalisa
9 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  COD César Lobi Manzoki
10 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Ibrahim Ndugwa
11 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  SSD Umar Kyebatala
12 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  SSD Yunus Sentamu
13 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Dan Sserunkuma
14 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Paul Mucureezi
15 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Paul Willa
16 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Denis Mwemezi
17 MF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Allan Kayiwa
18 MF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Bobosi Byaruhanga
19 GK Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Ssekagya Bashir
20 MF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA David Bagoole
21 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Halidi Lwaliwa (C)
23 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Aziz Kayondo
25 MF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Abdul Karim Watambala
22 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Okao Jacob
26 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Najib Yiga
27 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Wasswa Geoffrey
28 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Muhammad Shaban
29 FW Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Milton Karisa
30 GK Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Kigundu Denis
31 MF Ttiimu Ya Vipers Sc  KEN Innocent Wafula
32 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Ahmed Amayo
35 DF Ttiimu Ya Vipers Sc  UGA Rashid Toha

Olukiiko olukulembera ttiimu ya Vipers SC

Omuyambi w'omutendesi Jose Rodrigues Marcelo cardoso
Omuyambi w'omutendesi Male Daniel
Omutendesi w'omukwasi wa Goolo Ibrahim Mugisha
Omusawo wa ttiimu Lule Micheal
Physical Trainer Kato Ibrahim
Diyilekita w'omuzannyo Charlse Masembe
Akwasaganya ebikozesebwa mu kutendekebwa Edward Ssentongo

Former managers

  • Template:Country data MexicoTemplate:Namespace detect showall Javier Martinez Espinoza

Ebijuliziddwamu

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

Tags:

Ttiimu Ya Vipers Sc Ebyafaayo bya ttiimu enoTtiimu Ya Vipers Sc Ekisaawe kyabazannyiramuTtiimu Ya Vipers Sc Obuwanguzi bwe batuukakoTtiimu Ya Vipers Sc Abazannyi abali mu ttiimu katiTtiimu Ya Vipers Sc Olukiiko olukulembera ttiimu ya Vipers SCTtiimu Ya Vipers Sc Former managersTtiimu Ya Vipers Sc EbijuliziddwamuTtiimu Ya Vipers Sc Ebijuliziddwamu ebyebweru wa WikipediyaTtiimu Ya Vipers Scen:Football (soccer)en:Kampala

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Shelby County, TexasEnkokoIan WrightGlanis ChangachirereVilniusBuwendaBagandaEDAGALA LY'AMANNYI G'EKISAJJA ERYEKINANSIOlubuguumiriro lw'Enkulungo y'EnsiEddagala lya ulcers ez'omulubutoArua (disitulikit)Kalusiyaamu (Calcium)ComorosSão Tomé and PríncipeNapooleon BonapatOKUBULWA OTULOAmakumi ana mu ssatuEkigeranyabuddeKatongaMolekyoFakikya (fact)Ssekabaka Daudi Cwa IIHelsinkiSiriimuJapanNsanyukira ekigambo kino lyricsBarlonyoKkalwe (Iron)OMUGAVUBotswanaEssomabwengulaPersis NamuganzaPrince Wasajja KiwanukaKyendaMuwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaButurukiRose AkolAsiaKolomiyaamu(Chromium)VayiraasiEgyptYirediyaamu (Irdium)MexicoNational Resistance MovementKisoziIvory CoastEstoniaEntababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)SsatuBoda-bodaTunisia🡆 More