Carbon Kaboni

Gakuweebwa Muwanga !! 1.Kebera akaziba ka Kaboni(the Carbon atom)

Kaboni y’endagakintu(element) esinga okusangibwa ku Nsi mu ttaka, amazzi, ensolo, n’ebimera.

Kaboni (Carbon) :

•akabonero: C

•namba y'akaziba: 6

•kiva mu kya lulattini carbo(coal)


Kaboni bwe yegatta n’endagakintu eyitibwa okisigyeni, tufuna ekipooli ky’empewo ekiyitibwa kabboni-bbiri-okisayidi (Carbondioxide).

Ky’olina okusooka okunnyonnyioka kwe kuba nti Ensolo ziyingiza nabuzimbe eyitibwa omukka gwa okisigyeni ate ne bifulumya omukka ogwa kaboni-biri okisayidi nga kazambi.

Kyokka Kaboni-bbiri okisayidi ono ensolo gwe zifulumya nga kazambi ate ebimera bbyo gwe biyingiza ate bbyo ne bitufulumiza okisigyeni ffe gwe tuyingiza mu kussa nga omukka ogwa kazambi eri bbyo.

Weetegereze nti mu kussa ffe, ensolo tufulumya kaboni-bbirokisayidi nga omukka ogwa kazambi ogutuvaamu ate ne tuyingiza okisigyeni ng’omukka , emibiri gyaffe gye gwetaaka okusobola enkola z’ekikyusabuziba okugenda mu maaso omubiri gubeere mulamu.

Kimanye nti mu sayansi n’omuntu naye abalibwa mu nsolo, omuntu naye nsolo naye si kisolo.Weetegereze nti mu Luganda: (a)Ensolo =all animals including humanbeings (b)Ekisolo= Animals that are not humanbeings.

Ffe bwe tufulumya kaboni-bbirokisayidi ng’omukka ogwa kazambi ate ebimera bbyo ne biba nga byetaaga kuyingiza C02 ono . Olaba ekibalo ky’obutonde mmwe kyemwagala okutaataganya nga musanyaawo ebibira n’obutasimba miti !!

Waakitegedde nti Katonda okukakasa nti okisigyeni ensolo gwe zetaga okussa buli kaseera abaawo nga bwe tumwetaaga kwe kumerusa ku nsi emiti n’ebibira enkuyanja ebiyingiza kaboni-bbirokisayidi gwe tufulumya ate bbyo ne bitufulumiza okisigyeni ffe gwe gwe twetaaga okuyingiza mu mibiri gyaffe ?

Kaakati nno buli abantu lwe mweyongera okuzaala n’okulunda ensolo ennyingi ku nsi olw’obwetaavu bw’ennyama obwetaavu bwa okisigyeni ensolo gwe ziyingiza mu kussa nga gweyongera.

Kino kitegeeza nti omuntu alina okwongeza ku bungi bw’emiti egiri ku nkulungo y’Ensi naye ekyewuunyisa emiti n’ebibira tubisaanyizzaawo awatali kusimba mirala egingendana n’obungi bw’abantu be tumala gazaala ku Nsi n’ebisolo bye tweyongera okulunda , byonna ebyetaaga okisigyeni okuba ebiramu.

Ng’ojjeeko okuba nti ebimera byetaaga omukka ogulimu kaboni mu kussa kwabyo ,Kaboni alina mugaso ki omulala eri ebiramu ku Nsi ?

Ekibalo kya Katonda era kirimu ennabuzimbe eyitibwa kaboni(C) okuba nga y’etega (traps) oba okuyingiza (to absorb) ebbugumu eryetaagibwa ebiramu ku nkulungo y’Ensi.

Ebbugumu lerisinga obungi lye tulina ku Nsi liva ku Njuba Muwanga (Our sun) nga lituuka ku nsi ng’olubugumu olw’amayengo ag’ekitangaala , oluyitibwa oluyengo(radiation). Olubugumu olw’amayengo g’ekitangaala oluva kun juba lulimu emitendera musanvu nga egimu ku ggyo girina enziirng’ana ya waggulu nnyo(very high frequence) ekitegeeza nti luba n’amasoboza mayitirivu nnyo era ag’obulabe eri obulabe.

Ekibalo kya Katonda Namugereka ddunda, kye kyakola kwe kukkakkanya olubugumu luno nga terunatuuka ku nsi ne kalonda w’obutonde wa mirundi ebiri: (a)Olububi lw’omukka gwa ozooni (O3) olusembayo waggulu olubisse ku nampewo (b)Nampewo , eno nga bbulangiti y’omukka ogukola ebirungo by’empewo eyetaagibwa ebiramu. Ekimu ku bikola ebirungo bya nampewo gwe mukka gwa kaboni-bbirokisayidi(CO2) nga buli molekyo ya C02 emu ebaamu atomu ya kaboni emu. (c)Emigendo gy’amasoboza ag’ebbugumu egiva kun juba bwe gitomera ku safeesi y’Ensi giba gikola kiddannyuma ne giddayo waggulu mu mwengula ekintu ekyandirese enkulungo y’ensi nga nnyinyogovu nnyo ne waba nga tewasobola kubaawo kiramu kyonna ku nsi. Nabuzimbe eyitibwa kaboni(C) ku nsi ne mu Nampewo y’emu ku kibalo ekisobozesa n’okukuuma obulamu ku Nsi olw’okuba etega (it traps) ebbugumu eryekigero eryetaagisa ku Nsi lyonna lireme kuddayo butereevu mu bwengula.

Akabi kava wa ?

Singa obungi bwa kaboni oba kaboni-bbirokisayidi buyitirira ku nsi ,kino kiviirako nampewo ne safeeesi y’ensi okufuna ebbugumu erisinga kw’eryo ebiramu bye lyetaaga ku Nsi , ekintu ekiviirako olubuguumiriro lw’enkulungo y’Ensi(Global warming) , ekyeya, n’enjala kakutiya mu bitundu ebisinga obunji ku Nsi. Olubuguumiriro lw’ensi era luleeteera ebifo ebifumbekeddemu omuzira okumerenguka ne kiviirako omujjuzo ku semanzinga n’ebizinga awamu n’enkuba empitirivu erimu embuyaga ereeta amataba agasanyaawo ebyalo, amalimiro , ebyobugagga, n’obulamu. 

Olubuguumiriro lw’enkulungo y’Ensi Luva ku ki?

Nga bwe tulyabe enkulungo y’Ensi bw’ennyogoga ekiyitiridde kisanyaawoobulamu ku Nsi kyokka era bw’eyokya ekiyitiridde nakyo kireetawo embeera esanyaawo obulamu ku Nsi.

Mu butonde bw’ensi Katonda yamerusa entababimera (vegetation), omuli emiddo, emiti, n’ebibira ebirimu obulamu obw’enjawulo (biodiversity) nga bimala bumazi okuyingiza omukka gwa kaboni-bbirokisayidi(CO2) ensolo gwe zifulumya ku Nsi.

Omuntu ow’omulembe guno ky’akoze kwe kutataaganya ensengekera z’obutonde(natural systems) ez’ebiramu ng’akola ebikolobero bino ku buwangaaliro Katonda bwe yamukolera okwetusaako buli ky’ayagala mu bulamu:

(a)Okutema n’okukozesa emiti awatali kusimba mirala (b)Okuzaala ennyo n’okulunda ensolo ekiyitiridde, bino nga bye bimu ku byongera obungi bwa kabonibbirokisayidi ku Nsi , awatali kusimba miti na bibira kwongera ku bungi bwa nkozeso za kaboni(carbon sinks). (c)Amakolero (factories) n’ebitondekero (industries) ebikozesa amafuta ga nakavundira w’ebiramu (fossil fuels) amayitirivu buli lunaku , ne gafulumya kazambi w’omukka ogujjudde kaboni omuyitirivu asukkulumye ku bwetaavu bw’entababimera nga emiti n’ebibira okukozesa. Kaboni bw’asukka obungi mu nampewo atega olubugumu lw’enjuba luyitirivu okusinga olwo ebiramu bye lwetaaga ku Nsi, ekintu ekireetawo olubuguumiriro lw’enkulungo y’ensi(Global warming). (d)Wano mu Uganda n’abakugu aba NFA nga batunuulirwa abo aba NEMA baddidde ebibira ebirimu obulamu obw’enjawulo ne babipangisa abagagga okusanyaawo obulamu obw’enjawulo ne babizzaamu ekika ky’omuti ekimu naddala kalittunsi. Kimannyiddwa nti obulamu gye bukoma okuba obw’enjawulo buli kiramu gye kikoma okuganyulwa .Baasoma ki abo !!

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Sessomo (Academic Disciplines in Luganda)Rose NamayanjaBakitiiriyaFrank TumwebazeHelsinkiLilian AberGhanaEmbu z'AmannyaOkwekubagiza(Self pity)LithueeniaJamila MayanjaIbrahim SekagyaBugandaMpuyimusanvu (heptagon)SIKAAVEKookolo w'EkibumbaStephen BengoLaura KahundeSapporoMuhammad NserekoDonald TrumpEnsenkeBarbara KimenyeMilton OboteOkulima green paperGaetano KagwaSsoolabessaazaalaOlujjuliroWinnie NanyondoEbyobuwangwa (Culture)Uganda Broadcasting CorporationSemayanja ne Waluyanja(Oceons and Seas)EntaseesaRed Hot Chili PeppersSarah NajjumaLeah NamugerwaSpecioza KazibweShafik BatambuzeJoyce BagalaJames WapakhabuloEkizimbaDobraBulungibwansiOlusoziLithuaniaSsappule y'abajulizi ba ugandaEkitendero ekyewunzifu(Inclined Plane)SwiidenYirediyaamu (Irdium)Eugene SseppuyaObulwadde bw'OkwebakaEnnkulakulanna eya nnamaddalaPulezidenti Commission wa UgandaSerbiaDavid ObuaBukwo (disitulikit)Ettundiro ky'eddagala(Drug shop)Peter OdekeSeanice KacungaNamirembe BitamazireKeriputooni (Crypton)🡆 More