Namirembe Bitamazire: Munnabyabufuzi omunnayuganda

Geraldine Namirembe Bitamazire munnayuganda ow'eby'enjigiriza era munnabyabufuzi.

Ye Cansala w'ekitongole kya Uganda Management Institute . Yaliko minisita w’eby'enjigiriza okuva mu 1979 okutuuka mu 1980 era n’addamu okuva mu 2005 okutuuka mu 2011. Era yaliko omubaka wa palamenti ng'akiikirira abakyala mu Disitulikiti y'e Mpigi mu Palamenti ya Uganda okuva mu 2001 okutuuka mu 2011.

Gyenvudde n’Okusoma

Yazaalibwa nga 17 ogw'Omusanvu 1941 mu Masekkati ga Uganda. Bitamazire yasomera mu Trinity College Nabbingo okusoma siniya. Yayingira yunivaasite ey'e Makerere okufuna dipulooma mu by'enjigiriza njigiriza mu 1964. Okwo yazaako n’afuna diguli esooka mu 1967 ne diguli ey'okubiri mu 1987, byombi okuva mu yunivasite y’e Makerere.

Emirimu

Okuva mu 1971 okutuuka mu 1973, yaweereza nga dayirekita w’ekitongole kya East African Harbors Corporation, ekitundu ku mukago gwa East African Community ogwasooka . Era yaweerezaako ng’akulira Tororo Girls School okuva mu 1971 okutuuka mu 1974. Okuva mu 1974 okutuuka mu 1979, yaweereza ng’omukulu w’eby'enjigiriza mu minisitule ya Uganda ey’eby'enjigiriza n’emizannyo . Mu 1979, yalondebwa okuba minisita w’ebyenjigiriza, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1980. Okuva mu 1981 okutuuka mu 1996, Bitamazire ye yali omumyuka wa ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku mpeereza y’abasomesa. Yalondebwa ku bwaminisita w’ebyenjigiriza mu 1999, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2005, lwe yalondebwa okubeera minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo. Mu 2010, Disitulikiti y’e Mpigi yayawulwamu ebitundu bisatu; Disitulikiti y'e Butambala, Disitulikiti y'e Gomba, ne Disitulikiti y'e Mpigi entono eya leero. Mu kulonda kw’eggwanga okwa 2011, Bitamazire yawangulwa mu kalulu ka primary Mariam Nalubega, naye ow’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM), mu Disitulikiti y’e Butambala. Mu nkyukakyuka mu kabineti eyakolebwa nga 27 May 2011, Bitamazire yagobwa mu kabineti n’asikizibwa Jessica Alupo .

Bitamazire mu kiseera kino akola nga chancellor w’ekitongole kya Uganda Management Institute, ettendekero lya gavumenti, erigaba diguli, ery’amatendekero aga waggulu, nga lirina okukkirizibwa okwenkana yunivasite.

Obulamu bwe

Bitamazire mufumbo ne Alphonce Bitamazire owa Uganda People's Defence Force. Ono wa kibiina kya byabufuzi ekya NRM. Yali mmemba w'akakiiko k'ekibiina ky'amawanga amagatte akavunaanyizibwa ku mbeera z'abakyala okuva mu 1998 okutuuka mu 2001 era mmemba abatandikawo ekibiina ekigatta abakyala mu by'enjigiriza mu Afrika .

Laba ne

Ebijuliziddwa

Ebiyungo eby’ebweru

Tags:

Namirembe Bitamazire Gyenvudde n’OkusomaNamirembe Bitamazire EmirimuNamirembe Bitamazire Obulamu bweNamirembe Bitamazire Laba neNamirembe Bitamazire EbijuliziddwaNamirembe Bitamazire Ebiyungo eby’ebweruNamirembe BitamazireMpigi (disitulikit)Yugandaen:Academicen:Parliament of Ugandaen:Uganda Management Institute

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Stella Isodo ApolotMeade County, KentuckyKookolo w'amawuggweKwata enkata nkutikkeMaliOsascoSylver KyagulanyiSwiidenSudaaniNakongezalinnyaJustine KhainzaTokyoLydneviAsiaYisaaka NetoniOmuzira OmusiruLesothoChristine Ayo AchenAnne Juuko (Munnabyanfuna)MbogoSamalie MatovuEnkakaAchia RemegioGambiaEmbizziEMMYEZIAmambuluggaApolo NsibambiSsekalowooleza KayikuuziHerman BasuddeGrace AkelloSouth AfricaKawandaEmiramwa egyetaagisa mu Aligebbula(Concepts required for algebra in Luganda)GatonnyaNelson MandelaBaltic SeaEdith Mary BataringayaFrancis K. ButagiraEssomabwengulaLaurel County, KentuckyEdirneBrasilEnsimbuEritreaRwandaDent County, MissouriDjiboutiAmuruSekazziOmumbejja Elizabeth ow'e TooroOlutabu olw'ekipuluko(magma)OlukoongoJackie SenyonjoTirinyiEkirwadde kya CholeraEbyuma (Metals)Amama MbabaziGirimaneOlupapula OlusookaSantiago, ChileOmusuja gw’enkaka (Yellow fever)ObufumboNTV UgandaKenyaEkimuliKyankwanzi (disitulikit)Okugwamu amazzi🡆 More