Muteesa I Of Buganda

Ssekabaka Muteesa I Mukaabya

Walugembe Kayiira Muteesa I Mukaabya Walugembe Kayiira (1837–1884) e yali Kabaka wa Buganda owa 30, yafuga okuva mu 1856 okutuuka mu 1884.

Engeri gye yatuula ku Nnamulondo

Yazaalibwa mu lubiri oluyitibwa Batandabezaala, e Mulago, mu 1837. Yali mutabani wa Kabaka Ssuuna II Kalema Kasinjo, eyafuga mu myaka gya 1832 - 1856. Nnyina yali Nnaabakyala Muganzirwazza, Namasole omu kw'abo 148 abaali baka Kabaka oyo abaamanyibwa. Yalya eŋŋoma oluvannyuma lwa kitaawe, Ssuuna II okukisa omukono mu October wa 1856.

Okusinziira ku munnabyafaayo MSM Kiwanuka, Muteesa si ye yali atunuulirwa akusikira kitaawe!,[1]bw'omugeraageranya ku Baganda be okwali Omulangira Kajumba n'Omulangira Kiyimba. Kajumba kitaabwe gwe yali ayagala amusikire/ amuddire mu bigere, era Suuna yamusongangako lunye eri abakungu be nti yali amulabamu omulamwa n'ebitendo by'obukulembeze. Wabula, abakungu nga bakulembeddwa eyali Katikkiro Kayiira baalaba nga Kajumba yali waakuba muzibu wakukwataganya nga yandifuuka Nnantagambwako kwe kulonda Muteesa, eyali tamanyiddwa nnyo.Yatuuzibwa ku Namulondo ya bajjajja be ku kasozi Nabulagala. He Yakuba ekibuga kye ekyasooka ku kasozi k'e Banda Banda Hill. Oluvannyumayalekulira olubiri olwo n'akuba embiri endala e Nakatema, Nabbingo, Kabojja, n'asembyayo olw'e Kasubi, Nabulagala.[2]Erinnya Kabojja kigambibwa nti lyava ku mbeera ya kutambira n'okutta abantu Kabaka ono we yabeererayo ne bakyefaanaanyiriza ku mbeera y'okubojja ng'okw'omusota.[3]

Oluvannyuma lwa Muteesa okutuuzibwa ku Nnamulondo y'Obwakabaka bwa Buganda ng'ayambibwako Kayiira bagandabe yabasibira mu kkomera ku bizinga by'e Kisimi. Kyokka kigambibwa nti abakungu abamu e Mengo baagezaako okuggya Kabaka mu ntebe eno bamusikize muganda we, Omulangira Kiyimba. Kyokka olukwe luno Muteesa yalugwamu era n'akwata abao bonna abaali mu lukwe ne baganda be Kiyimba ne Kajumba abaali baagala okumusuuza entebe ne battibwa.

Obufumbo bwe

Kigambibwa nti Muteesa I Mukaabya Walugembe Kayiira yawasa abakazi 87. 

Abaana be

Kigambibwa nti yazaala abaana 98, okuli :

Obukulembeze bwe

Nga bwe kyali ku Bassekabaka be yaddira mu bigere, okusuubulagana okwaliwo okuva eyo mu myaka gya 1840 wakati wa Buganda n'Abawalabu (Arab) wamu n'abasuubuzi Abasiraamu (Muslim traders) okuva e Zanzibar nga baleeta ebintu nga ebyokulwanyisa (emmundu) omunnyo n'engoye yo Buganda n'ebasuubuza amasanga (ivory) n'abaddu (slaves).

Ku mulembe gwa Muteesa I, abagenyi abalala baatuuka e Buganda nga bava e Bulaaya (Europe) okutandika ne John Speke wamu ne James Augustus Grant mu 1862. Okujja kwabwe okwali kujjudde ebibala kwasikiriza abantu abalala okuyingira Buganda nga n'eyaddirira ye Henry Morton Stanley mu 1875.[4]:151

Abaddako be Bakatoliki Abalooma (Roman Catholics) abajja mu 1879, okwali Simon Lourdel Monpel, amanyiddwa ennyo nga 'Pere Mapeera' ne Brother Amans, aba White Fathers.

Ebibinja bya bannaddiini bino byonsatule buli kimu kyalowoozanga nti Kabaka Muteesa I yali asinga kwagala kyo okusinga ebirala. N'olw'ensonga eyo, bwe baddangako ewaabwe nga bawaayo obubaka obwagaliza Buganda ebirungi nga bawagira okugenda mu maaso n'ebyensuubulagana n'okufunira Buganda emikwano. Olw'embeera eno, Buganda, ne Uganda okutwaliza awamu teyafuna bafuzzi ba matwale wabula baawunzika balifuudde ettwale erikuumibwa (protectorate) so si okufugibwa. Abantu abamu balowooza nti ye kabaka wa Buganda akyasinze enkizo kubanga olw'engeri gye yali alengerera ewala ate nga muteesa mulungi kyokka abalala bamunenya olw'okwanirirza n'okusenza Abangereza abaawunzika nga bakkakkanyizza amaanyi ga Buganda n'okugiggyako Obwetwaze.[5]

Emyaka gye egyasembayo

Yakisiza omukono (yafiira) e Kasubi Nabulagala nga 9 October (Mukulukusa-Bitungotungo) 1884 ku myaka 47, n'aterekebwa (n'aziikibwa) nga 18 October 1884 e Kasubi, era ye Kabaka eyasooka okuterekebwa mu kifo ekyo.  Mu 2007,Yunivaasite ya Muteesa I Royal University yabangibwawo ng'ebbuddwamu erinnya lye was opened in his name, in recognition of his contribution to the education of the people of Buganda and Uganda. Ssenkulu wa Yunivaasite (chancellor) eno eyasooka yali Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga ye Kabaka aliko mu kiseera kino. Mu 2016, Omulamuzi Julia Sebutinde yatuuzibwa ng'asikira Kabaka mu kifo kino ekya SSenkulu wa Yunivaasite eno olwo Kabaka n'afuuka Omugenyi ow'enjawulo owa Yunivaasite eno.

Ebyogerwa ku Muteesa I

Mu kiseera naga ye Kabaka, Obwakaba twebwanyeezezebwa mu ngeri yonna awatali ntalo ez'omunda oba obulumbaganyi okuva wabweru. Yayongera okufuuka ow'amaanyi n'okuba omugunjufu. Yakkiriza Abaminsani okusomesa abantu nti ba makulu ddala kumpi kujula kumwenkana era nga baweebwa nnyo ekitiibwa n'obukuumi. Yalina amaanyi n'obusobozi okwenkanyankanya eddiini okuli Abakatoliki, Abakulisitaayo, Abasiraamu n'ab'ensinza ey'ekinnansi n'asobola okubafuga bonna.

  • Kabaka Mutesa II, Desecration of My Kingdom (1967)

Olukangaga lw'enziriŋŋa ya Bakabaka ba Buganda

Laba ne bino

Ebijuliziddwamu

Tags:

Muteesa I Of Buganda Engeri gye yatuula ku NnamulondoMuteesa I Of Buganda Obufumbo bweMuteesa I Of Buganda Abaana beMuteesa I Of Buganda Obukulembeze bweMuteesa I Of Buganda Emyaka gye egyasembayoMuteesa I Of Buganda Ebyogerwa ku Muteesa IMuteesa I Of Buganda Olukangaga lwenziriŋŋa ya Bakabaka ba BugandaMuteesa I Of Buganda Laba ne binoMuteesa I Of Buganda EbijuliziddwamuMuteesa I Of Buganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Abigaba Cuthbert MirembeBrasilSiriimuDemocratic Republic of CongoPrince Wasajja KiwanukaEryokanga n’etonyaSarah Nabukalu KiyimbaYitaleObulwadde bw’ensigo (Kidney stone disease)Uganda People's CongressMilton OboteBakonjoJoel SsenyonyiZviad GamsakhurdiaAmasannyalazeKimwanyiGabonOkuwangaala mu LugandaIdi AminOkulima green paperEbyobuwangwa (Culture)EnsibukulaEkitookeRuhakana RugandaTito OkelloNational Unity PlatformKolera ndwaddeLugandaEbyafaayo bya UgandaBulaayaEnkwaso (Chemical bond)EbyamalimiroLulyansoloGatonnyaNolweSenegalEnjobeMaggie KigoziKrakówDenis Obua (omukubi w'omupiira)Robin van PersieKagadiLuganda - Lungeleza dictionaryNakongezalinnyaKyanamukaakaEleanor NabwisoEnjokaObulwadde bwa HerniaOLWEZAEbirwaza(Diseases)Wakiso (disitulikit)MexicoENNAKU MU SSABIITIHo Chi Minh City🡆 More