Doreen Amule

  Doreen Ruth Amule, nga amanyikiddwa nga Doreen Aumule, Munnayuganda, munnabyabufuzi era Mubaka wa Paalamenti, akiikirira abakyala mu Disitulikiti y'e Amolatar, okuva mu 2017.

Y'omu ku bavugirizi b'etka lya Paalamenti ery'okujja ekkomo ku myaka gya Pulezidenti wa Uganda, nga bwekyawandiikibwa mu Ssemateeka wa Uganda owa 1995.

Obuto bwe n'emisomo gye

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Amolatar, nga 28 Ogwekkumi 1882. Yasomera ku Masindi Secondary School wakati wa 1998 ne 2001, mu misomo gye egya O-Levo. Oluvanyuma yegatta ku Wanale View Secondary School, mu Mbale, mu misomo gye egya A-Levo, okuva mu 2002 okutuusa mu 2003.

Mu 2004, yakkirizibwa mu Yunivasite ya Uganda eya basiraamu eyitibwa Islamic University in Uganda, nga yatikkirwa mu 2007 ne Diguli mu kukwasaganya abantu eya Bachelors in Human Resource Management. Mu 2010, yasomera ku ssomero ly'amateeka erya Law Development Centre mu Kampala, nga yatikkirwa Satifikeeti mu mateeka eya Certificate in Administrative Law. Oluvanyuma, mu 2014, yatikkirwa Diguli eyokubiri mu Bizinensi eya Master of Business Administration okuva mu Yunivasite y'e Nkumba.

Emirimu gye

Mu 2008, yatandika okukola nga omuyambi w'omusomesa ku ttabi lya Yunivasite ya Nile eliri mu Arua, nga yasomesa okutuuka mu 2009.

Emirimu nga Munnabyabufuzi

Mu 2011, yalondebwa nga Kansala wa Disitulikiti y'e Amolatar. Mu 2014, yalondebwa nga Sentebe w'akakiiko k'abakyala akakulembera Disitulikit y'e Amolatar, nga yaweereza mu kifo ekyo mu 2016. Mu kasera keekamu, yawereza nga Omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina ky'abakyala ekya Network for Locally Elected Women of Africa (REFELA), era yali sentebe w'akakiiko akakwasaganya eby'embalirira mu kibiina kya Gavumenti ey'awakati. Okuva mu 2011 okutuusa mu 2016, yaweereza ng'omwogezi w'akakiiko akakulembera Disitulikiti y'e Amolatar.

Mu 2016 yesimbawo ku kifo ky'omukyala mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Amolatar. Yesimbawo ku kaadi y'ekibiina ekiri mu bukulembeze ekya National Resistance Movement. Yawangula.

Laba ne bino

Ebijuliziddwamu

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya


Tags:

Doreen Amule Obuto bwe nemisomo gyeDoreen Amule Emirimu gyeDoreen Amule Emirimu nga MunnabyabufuziDoreen Amule Laba ne binoDoreen Amule EbijuliziddwamuDoreen Amule Ebijuliziddwamu ebyebweru wa WikipediyaDoreen Amuleen:Amolatar Districten:Parliament of Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Lutikko ya NamirembeAbantuGirimaneBukomeroSylvia OworiKandidaKasanjeOmusujja gw'EnkakaGeoffrey SserunkumaPauline Kemirembe KyakaSheebah KarungiMary Paula Kebirungi TuryahikayoEnsenkeMpuyimusanvu (heptagon)Empewo (Air)Muhammad NserekoKikanja john baptist/sandboxBrasilAkatale k’omulimi ekikonoona biibinoMontenegroFinilandiEnnengeza(Telescope)Rose NamayanjaAligebbulaEnkakaJalia BintuKurowEkitendero ekyewunzifu(Inclined Plane)Ssappule y'abajulizi ba ugandaCharles Peter MayigaOkulima green paperBushenyiEkigoberero kya AkimeediziKisaawe ki ekisinga obunene mu Afrika?EnsiRwashaBhumibol AdulyadejAfrigo BandKololiiniPatricia AkelloEbyafaayo bya UgandaBwamiramiraSenegalVilla Maria, YugandaKookolo w’omu lubutoHellen AdoaKimwanyiDoris AkolEquatorial GuineaBetty AmongiParisAlice AlasoGombe, ButambalaVatone ( Negative ion)Allen KaginaGrace Nambatya Kyeyune🡆 More