Allen Kagina: Munnayuganda omukozi mu kitongole ekiwooza omusolo mu ggwanga

Allen Kagina
Obuzaale 1961 (emyaka 56–57)

Uganda

Ekifo gy'abeera Kampala, Uganda
Eggwanga Munnayuganda
Obutuuze Uganda
Ssettendekero Makerere University

(Bachelor of Science in Psychology)

University of Liverpool

(Masters of Public Administration)

Omulimu Munnabbizineesi
Emyaka gy'amaze mu mulimu ogwo 1985 okutuusa leero
Amanyiddwa mu Administrative Skills, Integrity
Obutaka Kampala
Eddaala ly'aliko Akulira ekitongole kya Uganda National Roads Authority

Allen Catherine Kagina Munnayuganda era nga y'akulira ekitongole kya Uganda National Roads Authority (UNRA). Yaweebwa ekifo ekyo nga 27 Ogwokuna 2015.[1] Bwe yali tannaweebwa kifo ekyo, yaweerezaako ng'omukulu w'ekitongole kya Uganda Revenue Authority (URA) okuva mu mwaka gwa 2004 okutuuka mu 2014.2]

Ebyafaayo bye n'obuyigirize

Yazaalibwa mu mwaka gwa 1961 mu ddisitwikiti y'e Rukungiri, nga ddisitwikiti eno esangibwa mu bitundu by'omu Bugwanjuba bwa Uganda.[3] Kagina yasomera ku ssomero ery'ettutumu ate nga lya kisulo erimanyiddwa nga Gayaza High School, eriri ku musingi gwa bwassekyewa era nga lya bawala bokka. Alina ddiguli mu Bachelor of Science in psychology gye yafunira ku ssettendekero esinga obukulu mu Uganda ate ng'eri ku musingi gwa gavumenti ( Makerere University). Mu ngeri y'emu, alina ddiguli ey'okubiri ( Masters in Public Administration) gye yafunira mu University of Liverpool e Bungereza.[4]

Obukugu bwe

Kagina yatandika emirimu gye mu mwaka gwa 1985 ng'akola ng'omuyigisa omuyambi (teaching assistant) ku Ssettendekero Makerere (Makerere University). Oluvannyuma yafuna omulimu ku Woofiisi y'omukulembeze w'eggwanga. Mu mwaka gwa 1992, Kagina yeegatta ku kitongole kya URA ng'akola nga ofiisa akulira ebyemisolo mu kitongolekino, ng'eno yakolerayo okutuusa mu mwaka gwa 1998. Yalinnyisibwa eddaala mu mwaka gwa 2000 n'aweebwa ekifo ky’obumyuka w’omukulu avunaanyizibwaku kusolooza emisolo ku bintu ebiva ebweru w’eggwanga  mu kitongole kya URA, n'akakkalabya emirimu gye okutuusa mu mwaka gwa 2001. Yaweebwa omulimu gwa commissioner general mu kitongole kya URA mu 2004.[5] Atenderezebwa okuba yasobola okuyimusa ekitongole kino mu byenfuna. Mu mwezi Gwokubiri, mu mwaka gwa 2006, Kagina yaweebwa ekirabo (Corporate Leadership Award) okuva mu kibiina ekimanyiddwa nga, Destiny Consult, nga kimusiima okusitula omutindo n'enkola y'emirimu mu kitongole ekisolooza omusolo okuva lwe yakwasibwa obuvunaanyizibwa bw'okukulira ekitongole ekyo mu mwaka gwa 2004.[6] Mu mwezi Ogwekkumi, mu mwaka gwa 2010, endagaano ye yazzibwa buggya, n'ayongebwa emyaka emirala esatu. Kigambibwa okuba nga yali awebwa omusaala oguwerera ddala ssiringi za Uganda, obukadde 28 (kyenkana ddoola z'America, US$11,250).[7] Nga 27 Ogwokuna 2015, Mminisita wa Uganda eyali avunaanyizibwa ku byemirimu n'entambula mu kiseera ekyo, John Byabagambi, yamuwa ekifo ky'okukulira ekitongole kya UNRA, era nga yali waakutandika kukakkalabya mirimu gye mu kifo kye ekiggya okutandikira ddala ng'ennaku z'omwezi 1 Ogwokutaano, 2015.[1][8]

Ebimukwatako ng'omuntu

Allen Kagina mufumbo eri Paul Kagina. Balina abaana basatu, Dan, Michelle ne Mark. Allen Kagina mukyala mulokole.[4][9]

Laba ne

  • Olkalala lw'abantu abasinga obugagga mu Uganda

Ebijulizo

Emikutu emirala

·        URA eruubirira okuyingiza obuwumbi lukaaga n'obukadde bisatu (UGX:6.3 Trillion (US$2.7 Billion) mu mwaka gw'ebyenfuna:2011/2012

Tags:

Allen Kagina Ebyafaayo bye nobuyigirizeAllen Kagina Obukugu bweAllen Kagina Ebimukwatako ngomuntuAllen Kagina Laba neAllen Kagina EbijulizoAllen Kagina Emikutu emiralaAllen Kagina

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Namba ez'Omugerageranyo(Rational NUmbers)BukakkataFulton County, OhioOkusiriiza entamuBeninWalifu y'OlugandaEnjokaCayinaSayansi w'EbyamalimiroAllen KaginaSung Jae-giSiriimuOMWETANGOChadAbigaba Cuthbert MirembeLogan County, OhioDenis Obua (omukubi w'omupiira)EnkimaLuyiika (liter)Nicholas County, KentuckyFlorence NamayanjaIsilandiMonacoEsigalyakagoloAgnes NandutuEssomampandiikaBaldwin County, GeorgiaGhanaNBS Television (Uganda)Enzijanjaba y'OlukusenseBaltic SeaSister CharityHenry County, GeorgiaEngeri ez'enjawulo ez'okuzimbamu emiramwa gy'ekibalangulo mu Luganda(the different techniques of forming mathwords in Luganda Language)Ebitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiTanzaniaLas VegasEkigaji ddagalaUganda People's CongressOMWENGE NA KABI KAGWOSarah Nabukalu KiyimbaSeychellesEddagala lya ulcers ez'omulubutoEbifa ku ‘amazzi mu byalo mu’ enkulaakulana eya namaddalaTerrell County, GeorgiaNapooleon BonapatBakonjoLuganda - Lungeleza dictionaryRwashaMadagascar (firimu)McIntosh County, GeorgiaBrasilEKIKA KY'EMPEEWOSudaaniAlleluya Rosette IkoteTheodore SsekikuboEssomabiramuKawuka🡆 More