Jalia Bintu

Jalia Bintu era amanyiddwa nga Bintu Lukumu Ngonzi Abwooli Jalia (yazaalibwa 20 Ogw'Okutaano 1967) mukyala munnabyabufuzi mu Uganda era omukozi wa mubantu/ omusomesa ali mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement .

Ye mubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Masindi abadde mu Palamenti ya Uganda ey’omunaana, ey’omwenda, n’ey’ekkumi .

Gyenvudde w'eby'enjigiriza

Yamaliriza satifikeeti ey’obusomesa ku ddaala ery'okubiri mu1985 okuva mu National Institute of Education, Makerere University oluvannyuma n’awandiisibwa okufuna satifikeeti y’obusomesa ku ddaala ery'okusatu mu Institute of Teacher Education Kyambogo n’agimaliriza mu 1989. Yeegatta ku Institute of Teacher Education Kyambogo mu 1993 okusoma dipulooma mu by’enjigiriza. Mu 1999, yamaliriza diguli esooka mu Arts okuva mu yunivasite y’e Makerere n’akomawo okukola diguli ey'okubiri mu peace and conflict studies mu 2005 okuva mu yunivasite y’emu.

Obulamu obwasooka

Okuva mu 1986 okutuuka mu 1988, yaweereza ng’omusomesa mu ssomero lya Army Barracks Public School oluvannyuma n’ayingira mu Kamurasi Teachers College wakati wa 1993 ne 1994 ng’omusomesa. Yaliko omumyuka wa ssentebe w’ekibiina ekigatta ababaka ba Palamenti abakyala mu Uganda (2004-2006). Yakolera mu Palamenti ya Uganda ng’omumyuka wa ssentebe, akakiiko akavunaanyizibwa ku bukiiko, obuvunaanyizibwa mu mateeka n’ebitongole bya gavumenti (COSASE) mu (2001-2004) era nga ye ssentebe, akakiiko akavunaanyizibwa ku mikisa egy’enkanankana (2006-2008). Mu 2008, ye yali omutunuulizi mu nteeseganya z’emirembe e Juba . Jalia yaweerereza ku mirimu egiwerako nga mmemba mu kakiiko k’eggwanga ak’okwebuuza ku bantu aba Fast-Tracking East African Federation (2007), kaminsona mu kakiiko ka Palamenti (2011-2013), era nga ssentebe, Parliamentarians SACCO mu Palamenti ya Uganda (2015 okutuusa kati).

Emirimu gy’ebyobufuzi

Okuva mu 2001 n’okutuusa kati, abadde mubaka wa Palamenti mu Palamenti ya Uganda . Nga ali mu Palamenti ya Uganda, Jalia azze akola emirimu egy’enjawulo nga mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti n’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obulimi.

Ono yalondeddwa mu babaka ba Palamenti abali wansi w’ekibiina kya NRM abamaze ebisanja bibiri n’okusoba mu Palamenti kyokka ne balemererwa okufuna bendera y’ekibiina ne bawangulwa mu kulonda kwa 2021-2026. Teyasazeewo mu kulonda ebbago ly’etteeka erikyusa ssemateeka, eririmu akawaayiro akagenda okuggyawo ekkomo ku myaka. Bintu yagambye nti agenda kusooka kwebuuza ku bantu be nga tannaba kukwata kifo ku nsonga eno.

Obulamu bwe

Mufumbo. Ayagala nyo Okusoma ebitabo, okuzannya netball, emisinde, okuyimba n’okuzina. Era ayagala nyo kuyamba abetaavu, okusimba emiti n’okutumbula okusomesa omwana omuwala.

Laba ne

Ebiyungo eby’ebweru

Ebiwandiiko ebikozesebwa

Tags:

Jalia Bintu Gyenvudde webyenjigirizaJalia Bintu Obulamu obwasookaJalia Bintu Emirimu gy’ebyobufuziJalia Bintu Obulamu bweJalia Bintu Laba neJalia Bintu Ebiyungo eby’ebweruJalia Bintu Ebiwandiiko ebikozesebwaJalia BintuMasindi (disitulikit)National Resistance Movementen:Parliament of Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Nsanyukira ekigambo kino lyricsWhitfield County, GeorgiaEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiNovosibirskLulyansoloKenyaSeziyaamu (Cesium)Diana NkesigaBulindoLuganda - Lungeleza dictionaryBubirigiTerrell County, GeorgiaAmakulu g'emiramwa(Lexical Semantics)Denis Obua (omukubi w'omupiira)BugandaOkusumululwa okw'Omwoyo(Deliverance)Keriyaamu (Herium)Enkulungo y'Ensi (The Planet Earth)Kkopa (Copper)Baldwin County, GeorgiaOmweziMbogoMolekyoEddagala erigema endwadde ya kkoleraWinnie KiizaEbyobuwangwa (Culture)Alubbaati AnsitayiniYoweri MuseveniMilton OboteQuitman County, GeorgiaJohn Chrysestom MuyingoMozambiquePatience Nkunda KinshabaFlavia TumusiimeBurundiJackie SenyonjoKookolo W’omu musaayi (Leukemia)Ennima ey'obutondeObwakalimageziKatumba WamalaEnkwaso (Chemical bond)Charlton County, GeorgiaMontenegroNamirembe BitamazireBarbie KyagulanyiKizuna AISister CharityMityana (disitulikit)Baltic SeaAgnes NandutuEkikataRobin van PersieBupooloGabonAmasannyalazeGhanaBrussels🡆 More