Geoffrey Sserunkuma yazaalibwa nga 7 Ogwomukaaga mu 1983 munayuganda azannyira kumutendera gw'ensi yonna ng'esaawa eno azannyiira Wakiso Giants FC ne ttiimu ya Uganda ey'eggwanga gyebayita "Cranes" ng'omuteebi.
Ng'akola ng'omuteebi, Sserukuma yazannyirako Police Jinja. Yenyumirwa obuwanguzi bweyali ku Kampala City Council FC, nga tanaba kugenda mu liigi y'e Ethiopian eyababinywera mu kiraabu ya Saint-George SA mu 2017 Ogwomusanvu.Mu kyeeya kya 2008, yayabulira kiraabu ya Addis Ababa n'agenda mu Bloemfontein Celtic. Mu 2009 Ogwomusanvu, yayabulira Bloemfontein Celtic, n'amaliriza okugenda mu Vasco Da Gama, oluvannyuma lw'okubeera nga yali takyalina nkolagana n'omutendesi wa Celtic Owen da Gama.
Nga 6 Ogwokuna mu 2010, Sserunkuma yateeka omukono kundagaano mu Bidvest Wits nebategeregana ddiiru ya myaka ebbiri ne kiraabu.
Wabula, yakomawo mu Vasco Da Gama mu sizoni eyagoberera, ng'azannyira mu kibinja eky'okubiri, oluvannyuma lw'okubeera nga kiraabu yali yasalibwako okuva mu kibinja kyababinywera.
Mu 2015, Sserunkuma jyeegata ku Lweza FC. Sserunkuma yabasambira sizoni ng'ali ne Lweza F.C gyeyateeberamu ggoolo munaana mu sizoni eyo.
Mu 2016 Ogwomusanvu, Sserunkuma yeegata ku Kampala City Council FC ng'ava mu Lweza Football Club; tguno gwali mulundi gwa kubiri nga Sserunkuma akomawo mu kiraabu esinziira e Lugogo, ng'omulundi gwe ogwasooka gwaliwo mu sizoni ya 2004 ne 2006. Sserunkuma yagulawo okuteebakwo mu mupiira gweyasooka okusamba ne ggoolo gyeyakuba JMC Hippos ku Lwokutaano nga 22 mu Gwomunaana mu 2016 aba Kampala City Council FC nga bawangula abagenyi baabwe 2-1 ku kisaawe kya Phillip Omondi Stadium e Lugogo. Bwebaali mu sizoni ya 2016/2017 , Sserunkuma yeyali omusambi eyasooka okutuuka enamba za ggoolo ez'emirundi ebbiri mu sizoni eyo. Ggoolo ye nga battunka ne BUL FC yali ya 10 u sizoni eyo. yasemba okulabikako mu Kampala City Council, webaali bazannya Paidha Black Angels FC mu fayinolo za 2017 eza Uganda Cup mu Arua gyeyateebera ggoolo ye eyali esembayo. Sserunkuma yateeba ggoolo 31 mu mpaka zonna kulwa KCCA FC mu sizoni ye eyali esembayo n'ayamba ttiimu okuwangula ebikopo byabwe ebbiri ebyawaka.
Mu 2017 Ogwomusanvu, Sserunkuma yeegata ku Buildcon F.C. Nga 12 Ogwomunaana, Sserunkuma yateeba ggoolo ye eyali esooka mu Buildcon F.C nga battunka ne Lusaka Dynamos imu mupiira ogwali ogwa liigi gwebasambira ku kisaawe kya Levy Mwanawasa Stadium.
Yasambirako NAPSA Stars F.C.okumala sizoni.
Nga 7 Ogwomunaana mu 2019, Sserunkuma jyeegata ku Wakiso Giants FC.
Yasooka okutandika okusambira Cranes mu 2002. Yali omu ku ttiimu ya Uganda Cranes eyeetaba mu mu mpaka za 2016 ez'amawanga g'okulukalo lwa Afrika ezaali mu Rwanda, era n'ateeba ne ggoolo nga balemagana ne Zimbabwe 1-1. Sserunkuma yali omu ku basambi omukaaga abagucangira ewaka abaali ku ttiimu ya Cranes eyakiikirira Uganda mu kikopo ekyetabibwamu amawanga okuva ku lukalo lwa Afrika ekya 2017 e Gabon.
Template:Updated
Uganda | ||
---|---|---|
Omwaka | Emirundi gy'azannye | Ggoolo z'ateebye |
2002 | 5 | 1 |
2004 | 2 | 0 |
2005 | 6 | 3 |
2006 | 10 | 5 |
2007 | 4 | 0 |
2008 | 2 | 0 |
2009 | 1 | 1 |
2010 | 2 | 0 |
2011 | 4 | 0 |
2012 | 1 | 0 |
2016 | 4 | 1 |
2017 | 7 | 1 |
Omugate | 48 | 13 |
No | Enaku z'omwezi | Ekifo | Gwebaali basamba | Gwagwa gutya | ebyavaamu | Empaka |
---|---|---|---|---|---|---|
1. | 1 Ogwekumineebiri, mu 2002 | Sheikh Amri Abeid Memorial Stadium, Arusha, Tanzania | Somalia | 1–0 | 2–0 | Empaka ezetabibwamui amawanga g'omumasekati n'obuvanjuba bwa Afrika mu 2002 |
2. | Nga 4 Ogwekumineebiri mu 2002 | Sheikh Amri Abeid Memorial Stadium, Arusha, Tanzania | Ethiopia | 3–0 | 3–0 | Empaka ezetabibwamui amawanga g'omumasekati n'obuvanjuba bwa Afrika mu 2002 |
3. | Nga 6 Ogwekumineebiri mu 2002 | Sheikh Amri Abeid Memorial Stadium, Arusha, Tanzania | Rwanda | 2–1 | 2–1 | Empaka ezetabibwamui amawanga g'omumasekati n'obuvanjuba bwa Afrika mu 2002 |
4. | Nga 18 Ogwomukaaga mu 2005 | Mandela National Stadium, Kampala, Uganda | Cape Verde | 1–0 | 1–0 | Empaka za FIFA ez'okusunsula abagenda mu kikopo ky'ensi yonna mu 2006 |
5. | Nga 8 Ogwekumi mu 2005 | Mandela National Stadium, Kampala, Uganda | Burkina Faso | 2–1 | 2–2 | Empaka za FIFA ez'okusunsula abagenda mu kikopo ky'ensi yonna mu 2006 |
6. | Nga 30 Ogwekuminoogumu mu 2005 | Amahoro Stadium, Kigali, Rwanda | Djibouti | 4–0 | 6–1 | Empaka za 2005 ezeetabibwamiu amawanga okuva mu masekati n'obuvanjuba bwa Afrika. |
7. | Nga 3 Ogwekumineebiri mu 2005 | Amahoro Stadium, Kigali, Rwanda | Sudan | 2–0 | 3–0 | Empaka za 2005 ezeetabibwamiu amawanga okuva mu masekati n'obuvanjuba bwa Afrika. |
8. | Nga 16 Ogwomunaana 2006 | Zaawia Stadium, Zawiya, Libya | Libya | 2–1 | 2–3 | Ogwa mukwano |
9. | Nga 27 Ogwekuinoogumu 2006 | Addis Ababa Stadium, Addis Ababa, Ethiopia | Sudan | 1–1 | 2–1 | Empaka za 2006 ezeetabibwamu amawanga okuva mu masekati ga Afrika n'obuvanjuba |
10. | Nga 30 Ogwekuminoogumu mu 2006 | Addis Ababa Stadium, Addis Ababa, Ethiopia | Rwanda | 1–0 | 1–0 | Empaka za 2006 ezeetabibwamu amawanga okuva mu masekati ga Afrika n'obuvanjuba |
11. | Nga 8 Ogwekumineebiri mu 2006 | Addis Ababa Stadium, Addis Ababa, Ethiopia | Sudan | 2–1 | 2–2 (5–6 p) | Empaka za 2005 ezeetabibwamu amawanga okuva mu masekati ssaako n'obuvanjuba bwa Afrika. |
12. | Nga 31 Ogwokutaano mu 2009 | Tamale Stadium, Tamale, Ghana | Ghana | 1–2 | 1–2 | Gwali gwa Mukwano |
13. | Nga 4 Ogwomwenda 2010 | Mandela National Stadium, Kampala, Uganda | Angola | 3–0 | 3–0 | Empaka za 2012 ez'okusunsula abagenda okwetaba mu kikopo ekyetabibwamu amawanga ga Afrika. |
14. | Nga 27 Ogwolubereberye mu 2016 | Umuganda Stadium, Gisenyi, Rwanda | Zimbabwe | 1–1 | 1–1 | Empaka za 2016 ez'okusunsula abagenda okwetaba mu kikopo ekivuganyizibwamu amawanga g'okulukalo lwa Afrika. |
15. | Nga 11 Ogwomukaaga mu 2017 | Estádio Nacional de Cabo Verde, Praia, Cape Verde | Cape Verde | 1–0 | 1–0 | Empaka za 2019 ez'okusunsula abagenda okwetaba mu kikopo ekizvuganyizibwamu amawanga g'okulukalo lwa Afrika. |
Kampala Capital City Authority FC
This article uses material from the Wikipedia Luganda article Geoffrey Sserunkuma, which is released under the Creative Commons Attribution-ShareAlike 3.0 license ("CC BY-SA 3.0"); additional terms may apply (view authors). Content is available under CC BY-SA 4.0 unless otherwise noted. Images, videos and audio are available under their respective licenses.
®Wikipedia is a registered trademark of the Wiki Foundation, Inc. Wiki Luganda (DUHOCTRUNGQUOC.VN) is an independent company and has no affiliation with Wiki Foundation.