Ekisaawe Ky'eggwanga Ekya Mandela

 

Ekisaawe ky'eggwanga ekya Mandela National Stadium kisaawe eky'eyambisibwa mu mirimu egy'enjawulo mu Uganda. Ky'atuumibwa okuva mu eyali Pulezidenti wa South Africa era eyawakanya enkola y'obusosoze, Nelson Mandela. Likodi y'ekisaawe kino ey'okutuuza abantu 50,000 yakolebwa mu 2004, mu mupiira ogw'aliwo mu masekkati ge tiimu z'amawanga eya Uganda ne South Africa.

W'esangibwa

Ekisaawe kisangibwa ku kasozi Namboole mu Waadi y'e Bweyogerere, Kira Munisipalite, Disitulikiti y'e Wakiso. Ekisaawe kino, kiri Kilomita 10 (6.2 mi) okuva ku luguudo, mu Buvanjuba bwa Disitulikiti y'ekibuga Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene.

Ebikolebwa mu kisaawe kino

Ekisaawe ky'eggwanga ekya Mandela National Stadium kikozesebwa nnyo mu mizannyo gy'emipiira gy'ebigere, newankubadde nga waliwo n'emizannyo emirala egikolebwamu nga emisinde. Ekisaawe kino kituuza abantu 45,202. Ekisaawe kino g'emaka ga ttiimu ya Uganda ey'omupiira gw'ebigere, emanyikiddwa nga Uganda Cranes.

Akakiiko ka Paalamenti ya Uganda mu 2015 kawaaba nti ekisaawe kino ky'ali ky'olekedde okuggwa olw'ebbula ly'ensimbi nga kagamba nti ekisaawe ky'amala ebbanga nga "kikwasaganyizibwa bubi n'enkola etaliiko musingi" ekyaviiramu okufiirwa ensimbi ezili mu biliyooni za Uganda 3.6. Okuddukanya ekisaawe kino mu nkola eya private-public partnership ng'egendererwa okuleeta amagoba kikyali kya kusomooza kinene.

Ebyafaayo ku kisaawe

Ekisaawe ky'azimbibwa okuva mu nsako ey'aweebwa Uganda eya Miliyooni za Doola 36 okuva mu kibiina kya People's Republic of China (PRC). Mu ntandikwa ky'ayitibwa Namboole Stadium, nga ligyibwa ku kasozi kw'ekyali ky'azimbibwa. Kati mu butongole kiyitibwa Mandela National Stadium, erinnya ery'atuumibwa okuva ku eyali Pulezidenti wa South Africa, Nelson Mandela. Ky'aggulwawo mu 1997 n'ekivvulu ky'omuyimbi w'ennyimba za Reggae mu South Africa Lucky Dube. Ekisaawe kino ky'addamu okuddaabirizibwa mu 2010–11, n'ensako eya miliyooni za ddoola 2.8 okuva mu PRC.

Laba n'abino

Ebijuliziddwamu

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

Tags:

Ekisaawe Ky'eggwanga Ekya Mandela WesangibwaEkisaawe Ky'eggwanga Ekya Mandela Ebikolebwa mu kisaawe kinoEkisaawe Ky'eggwanga Ekya Mandela Ebyafaayo ku kisaaweEkisaawe Ky'eggwanga Ekya Mandela Laba nabinoEkisaawe Ky'eggwanga Ekya Mandela EbijuliziddwamuEkisaawe Ky'eggwanga Ekya Mandela Ebijuliziddwamu ebyebweru wa WikipediyaEkisaawe Ky'eggwanga Ekya Mandela

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Francis ZaakeMowzey RadioYirediyaamu (Irdium)Amakumi ana mu ssatuOkuzaala omwana omufuButurukiBalubaale(the Departed Thinkers/Wisepersons of Buganda)Aamito LagumOkugwamu amazziBrasilKaboni (Carbon)UfaAmaaso agaleeta ebinyinyiAlice NabatanziKigaliEssomampuyisatu (Trigonometry)AlgeriaEthiopiaAntimoni (Antimony)Fakikya (fact)SeychellesOkuggyamu olubutoWarszawaUruguayRobinah NabbanjaMolingaAligebbulaNsanyukira ekigambo kino lyricsLydia MugambeNamungina z'ebipimoKabakaLuuka (disitulikit)KampalaEkigoberero kya AkimeediziEnsolo LubbiraNabulagalaEBYENYANJA OMUNTU YENNA OSOBOLEERA DALA OKUBILUNDIRA AWAKA NGA AKOZESEZA PIIPALipscomb County, TexasBaltic SeaOmuntuJohn Ssenseko KulubyaEkitenderoMr LengsComorosMutwalo gumuEbyamalimiroKotido (disitulikit)Victoria NyanjuraObulwadde bw'Okulumizibwa amaguluKkopa (Copper)EbirogologoWheeler County, TexasObwetoloovu (Circumference)RomaniaHo Chi Minh CityBukiikakkonoKkalwe (Iron)John Chrysestom MuyingoEssomabuzaaleEkipulukoAmateeka agafuga Empandiika y'Oluganda🡆 More