Barbie Kyagulanyi: Munnayuganda, omuwandiisi era omulwanirizi w'eddembe

 

Barbara Kyagulanyi (yazalibwa mweezi gw'omwenda 7, 1984) Munayuganda alafubanira okulaba nga akyuusa embeera z'abantu naddala okuwaayoo obuyambi era omuwandiisi. Mukyaala w'omuyimbi ayimba ku mbeera z'abantu n'ebyobufuzi era munabyabufuzi Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyidwa nga Bobi Wine. Yemuwandiisi wa "Golden Memories of a Village Belle" akafulumizibwa mu 2012.

Mu 2013, yatandikawo ekibiina ky'obwanakyewa ki Caring Hearts Uganda, n'ekirubirirwa eky'okutumbula obukulembeze bw'abaana abawala, HIV/AIDS, Obuyonjo obwekuusa kunsonga z'abakyaala okusomesebwa kw'omwaana owobuwala mw'asomesebwa abaana bobuwala ku nono n'eneyisa, okumalawo omusujja gw'ensiri, Ebyenjigiriza, okwekulakulanyakwa kinoomu ne n'obukugu mu kutandiikawoemirimu okutumbula enkulakulana mubavubuka. Nga ayita mu kitongole kye oky'obwanakyewa agabye ebikozesebwa masomero eriabaana amasomero eri abaana abatalina webabeera n'abatalina mwasirizi.

Barbie yeggatta ku by'obufuzi mu 2018 okuwagira n'okuwenjeza bba Bobi Wine obuwagizi okufuuka omubaka wa palamenti n'oluvanyuma ku bwa Pulezidenti mu 2020 n'omulamwa gwe ogw'okutumbula embeera z'abakyaala, abaanan'abavubuka. Yalwana ku kuteebwa kwa bba Bobi Wine bweyasibibwa e Nalufenya wakati mukuwenja akalulu ku kifo ky'obwa Ky'obwa Pulezidenti era yasanyukirwa nnyo emikutu gy'amawulire bweyavaayo n'ategeeza omukutu gw'amawulire ogwa ogwa BBC nti olutalo lw'enkyukakyuka si lulwe oba famile ye wabula Banayuganda abanyigirizibwa. Oluvanyuma yasibibwa ewaka ne bba Bobi Wine. Yavaayo n'edoboozi limu okulaba nga abantu babuljjo bakoma okuwozesebwa mu kkooti z'ekinamagye.

Obulamu bwe Obwabulijjo

Barbie yazalibwa mu mwezi gw'omwenda nga 7, 1984, mu Disitulikiti ye Ntungamo , mu maserengeta g'obugwa Njuba bwa Uganda. Bazadde be ye Dokita Gershom Kagaju ne Joy Kagaju. Yasomera ku St. Hellen's Primary School, Nyamitanga e Mbarara, Bweranyangi Girl's school ku mutendera gwa siniya "O ne A levels'' okumala emyaaka mukaaga. Oluvanyuma yegatta ku Yunivasite e Makerere gyeyasomera Okutumbula embeera z'abantu n'ebitundu.

Yamaliriza digiri ye ey'okubiri mu Ddembe ly'obuntu ku University of London. Barbie yasisinkana ne Bobi Wine bweyali nga akyasoma siniya nga Bobi Wine Muyizi wa Byakuyimba, okuzina n'emizanyo ku Yunivasite e Makerere. Ababiri bafumbibwa mu 2011 mu krezia ye Lubaga mu Kampala nga bakabeera bombi emyaka 10 era nga balina abaana bana.

Engule (Awaadi)

Barbara yaweebwa awaadi Kiraabu ya Rotary eye Bugolobi olw'obuwereza bwe mu 2018, yafuna engule y'okulembera obulungi okuva mu mu Tendekero lya The AidChild Leadership institute/Uganda. Mu 2020, yaweebwa engule y'okubeera omuntu asinga okwagalwa ku mikutu emikwanira wala abatiini eya Teenz Awards 2020. Yasiimibwa aba Remnant Generation olw'okuyambako abawala abazaala nga tebanetuuka, awaadi ebudabuda wamu n'okuyambako ku bawala abazaala nga bakyali bato mu Uganda.

Gyebisimbudwa

obuyungizo bwe bbali

Tags:

Barbie Kyagulanyi Obulamu bwe ObwabulijjoBarbie Kyagulanyi Engule (Awaadi)Barbie Kyagulanyi GyebisimbudwaBarbie Kyagulanyi obuyungizo bwe bbaliBarbie Kyagulanyi

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Azaalibwa n’endira ebbiriEmmanvuOkugwamu amazziLillian MutuuzoEkiyondoSentemaOLUNYEREKETOBobiEthiopiaEnnima ey'obutondeDokita Ronald KizitoAlice KaboyoRomeKieran TierneyBbiriWobulenziBogotáNwoya (disitulikit)Jessica AlupoAbokeJohn Akii-BuaGombe, WakisoAtiakEbikolwa ebigerekere(Instinctive acts)Bazilio Olara-OkelloEkitembeZibugo ne NkubansiNigeriaShelby County, MissouriJeff Davis County, GeorgiaZari HassanMbogoOkulowooza(thinking)Ssekalowooleza KawumpuliTunisiaNampawengwa(neutron)KasanvuOMUZIMBA NDEGEYAEkigewukano(irony)KikagatiObukontanyo(Protons)KAZUNZANJUKIEbyobufuna bya Buganda Eyedda (the Political economy of precolonial Buganda)Ebirwaza(Diseases)Mpuyittaano(Pentagon)NnamusunaNicholas WadadaObulwadde bw'OkwebakaTogoOLukalala lw'Emiramwa egy'Ekibalangulo(a List of Luganda mathematical terms)KyotoEbyenfuna mu Buganda EyeddaSinach🡆 More