Lutikko Ya Namirembe

  Lutikko y'Omutukuvu Paulo Namirembe (Saint Paul's Cathedral Namirembe), amanyiddwa nga Lutikko ya Namirembe, ye Lutikko eyasooka okuzimbibwa mu Uganda.

Ye Lutikko y'Ekkanisa ya Uganda (Anglican Church of Uganda) era ye Lutikko y'Obulabirizi b'weNamirembe, nga bwe Bulabirizi obwasooko okutondebwawo mu Kkanisa ya Uganda mu 1890. Wakati wa 1919 ne 1967, Lutikko eno yakolanga Lutikko y'Ekkanisa ya Uganda oba giyite, Anglican Communion. Mu myaka gya 1960, ekitebe ekikulu ek'Ekkanisa ya Uganda kyava e Namirembe ne kidda ku Lutikko ya All Saints e Nakasero kyokka oluvannyuma kyaggibwayo ne kiddizibwa e Namirembe.

W'esangibwa

Lutikko Ya Namirembe 
Mu mbiriizi zaayo

Lutikko eno esangibwa ku kasozi Namirembe mu Divizoni y'e Lubaga, mu kibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene, Kampala. Namirembe eri mu kiro mmita nga 2 ng'odda mu bugwanjuba bwa Kampala, Disitulikiti y'omu masekkati ga Uganfa esingamu ebyobusuubuzi. Namirembe esangibwa ku bipimo bino:0°18'54.0"N, 32°33'35.0"E (Latitude: 0.315000; Longitude: 32.559710).

Ebirala ebigikwatako

Akasozi Namirembe kye kibadde ekifo ekikulu eky'Abakristaayo eky'okusinzizaako mu in Buganda okuva Omulabirizi Alfred Tucker lwe yatandikawo ofiisi y'Obwali buyitibwa Obulabirizi Eastern Equatorial Africa mu 1890. Kyokka Lutikko ennya ezaasooka okuzimbibwa Abakuristaayo baagenda zaatuukako ebizibu nga zisaanawo.

  1. Ekizimbe ekyasooka okuzimbibwa ne kiba Ekkanisa eno kyazimbibwa mu 1890, ng'etuuza abantu 800, Abakristaayo baagisuulawo mu 1891 kubanga yali mu kifo kya lutobazzi w'ansi w'akasozi Namirembe. N'ensonga endala yali nti ekizimbe kyali kifuuse kitono okutuuza Abakristaayo abaali beeyongedde obungi.
  2. Ekizimbe ekirala kyazimbibwa kibe ekkanisa wakati w'Ogwomusanvu 1891 n'Ogwomusanvu ogwa 1892, ng'etuuza abantu abasukka mu 3,000. Mu Gwekkumi 1894, kibuyaga ow'amaanyi yajja n'abambulako akasolya kaayo era ekkanisa eyo nayo n'erekebwa ne bazimba endala.
  3. Lutikko Ya Namirembe 
    Egambibwa okuba Lutikko ya Namirembe eyookuna eyaliwo wakati wa (1904-1910)
    Ekkanisa eyookusatu yazimbibwawakati wa 1894 ne mu 1895. Eno yali etuuza asabi 4,000. Eno baagizimba na budongo, emmuli empagi z'emiti n'essubi, nayo ne bagivaamu ku ntandikwa y'emyaka gya 1900 nga batya nti enkuyege zaali ziyinza okugirya ne zzigikuba ku ttaka.
  4. Ekizimbe kya Lutikko ekyokuna kyazimbibwa na mataffaali n'akasolya ak'essubi n'emmuli, wakati wa 1900 ne 1904. Yaggulwawo nga 21 Ogwomukaaga 1904, ku mukolo ogwetabwako abantu abasoba mu 10,000 omwali n'eyali Kabaka ya Buganda mu budde obwo, Kabaka Daudi Chwa II, nga mu kiseera ekyo yali wa myaka musanvu gyokka egy'obuto. Mu ttuntu lya nga 23 Ogwomwenda 1910, akasolya ka Lutikko eno kaakwata omuliro nga kigambibwa nti laddu ye kagikuba olwo yonna n'ebengeya. Mu ddakiika ezitasukka asatu (30), akasolya konna kaali kayidde era ekkanisa eno n'emenyebwawo.
  5. Lutikko ya St Paul's Cathedral Namirembe eriwo kati yazimbibwa wakati wa 1915 ne 1919 nga bakozesa bbulooka/ amataffaali ne bagiseresa amategula. Ebadde ekyaliwo mu bugumu bwayo kyokka bazze bagiddaabiriza okusinziira ku bwetaavu obw'enajwulo. Lutikko eno y'emu ku bifo eby'Obuwangwa ebya Uganda (id: UG-C-022).

Ennanga y'e Namirembe

Ennanga y'e Namirembe yateekebwamu mu 1931 ng'omulimu guno gwakolebwa kkampuni yaPositive Organ Company (1922) Limited. Mu 1952, bwe yali yaakamala emyaka makumi abiri ng'ekozesebwa ennanga eno yali ekaddiye nga yeetaaga okuddaabirizibwa okw'amaanyi ng'obuvunaanyizibwa obwo bwaweebwa omwami Alfred E. Davis ow'e Northampton mu Bungereza. Ennanga eno yaddamu n'etereera n'ekola okumala emyaka emirala makuni abiri, kyokka oluvannyuma lw'okuggibwako kwa Idi Amin mu 1971 ennanga eno yagenda eyonoonoka olw'obutakozebwa mu biseera by'entalo. Oluvannyuma olutalo bwe lwaggwa, mu 1998, Peter Wells okuva e Bungereza yasindikibwa e Namirembe okugyekebejja era oluvannyuma yawa amagezi ku kyalina okukolebwa okugizza obuggya. Baabaga engeri ez'enjawulo ez'okugizza obujja ne basalawo okukozesa eya Michael Sozi, eyali ssentebe w'olukiiko olwali luvunaanyizibwa nnanga eno mu 1999.

Olwokuba ssente ezaaliwo zaali tezimala, bakkaanya okuzzaawo ennanga eno mu ngeri ya mitendera ng'omutendera ogwasooka gwatandika oluvannyma lwa Paasika ya 1999 nga nakyo kyakolebwa Bangereza okwali Peter ne Ann. Omulimu guno gwaggwe wakati wa 2006 ne 2007. 

Egimu ku mikolo emikulu egibadde mu Lutikko ya Namirembe

Nga 16 Ogwekkumineebiei 2012, Namirembe ye yalimu okutuuzibwa kwa Ssaabalabirizi omuggya Most Reverend Stanley Ntagali, eyafuuka Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda owoomunaana (8). Omukolo guno gwetabwako abantu abateeberezebwa okubeera eyo mu 3,000 omwali ne Robert Duncan, Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Anglican mu North Amerika ne John Sentamu, Ssaabalabirizi wa York mu Bwakabaka bwa Bungereza (United Kingdom). Mu balala abajja mwalimu Ssaabalabirizi wa Burundi, Owa Bungereza (England), Ssaabalabirizi wa Indian Ocean, Ssaabalabirizi wa Kenya, Ssaabalabirizi wa Middle East, Ssaabalabirizi wa Nigeria, Ssaabalabirizi wa Rwanda, Ssaabalabirizi wa Scotland n'owa Sudan. Omukolo gwe gumu gwetabwako ne Yoweri Museveni, Pulezidenti wa Uganda.

Laba na bino

 

Ebijuliziddwamu

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

Tags:

Lutikko Ya Namirembe WesangibwaLutikko Ya Namirembe Ebirala ebigikwatakoLutikko Ya Namirembe Ennanga ye NamirembeLutikko Ya Namirembe Egimu ku mikolo emikulu egibadde mu Lutikko ya NamirembeLutikko Ya Namirembe Laba na binoLutikko Ya Namirembe EbijuliziddwamuLutikko Ya Namirembe Ebijuliziddwamu ebyebweru wa WikipediyaLutikko Ya NamirembeYugandaen:All Saints' Cathedral, Kampalaen:Anglican Communionen:Anglican dioceses of Bugandaen:Church of Ugandaen:Nakasero

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Alleluya Rosette IkoteNorth AmericaWolfe County, KentuckyChadNnalubaaleKawukaSung Jae-giENNAKU MU SSABIITIEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?AmerikaSeychellesEmuJane KiggunduSafina NamukwayaCherokee County, GeorgiaObulwadde bwa HerniaNsanyukira ekigambo kino lyricsNakongezalinnyaAmazzi mu mubiri (water in the Body)Aga KhanBuyonaaniOkusogola omwengeKolera ndwaddeNakasigirwaKikajjoBurundiLithueeniaMbale (disitulikit)Charlton County, GeorgiaMpanga Central Forest ReserveEnkulungo y'Ensi (The Planet Earth)Syda BbumbaEkiyondoNapooleon BonapatBukiikakkonoEmeere bugaggaMalawiEnsiEndagamuwendo (digits)EnjobeLugandaTerrell County, GeorgiaEddagala erigema endwadde ya kkoleraKapir AtiiraEMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIREEssikirizo (Gravity)EkimuliBrasilEmisingi gya NambaMolekyoAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaEDDAGALA LY’ENVA N’EBIBALAQuitman County, GeorgiaEnkimaKilimanjaroEbitontome bya Charles Muwanga Ebya Sayansi(Charles Muwanga's Poems of Science)LungerezaBaskin-RobbinsEbika by’ettakaTheodore SsekikuboEKIKA KY'EMPEEWO🡆 More