Sylvia Owori

Sylvia Owori (yazaalibwa mu 1976) munayuganda omwolesi w'emisono era ayagazisa abantu eby'obufuzi.

Ye Ssentebe era avunaanyizibwa ku kukuuma erinnya ly'ekitongole ekya Zipa Modeling Agency, kkampuni gye yatandikawo era gy'avunaanyizibwako. Kigambibwa nti y'omu ku bantu ba nnagagga mu Uganda, ekitundu ekyokusatu ekisinga obunene mu East African Community.

Ebyafaayo n'okusoma

Owori yazaalibwa mu Uganda mu 1976, y'omu ku baana musanvu. Yasomera mu ssomero lya Nsambya Senior Secondary School, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene mu ggwanga eryo. Yasomera mu Newham College mu London, ng'atandika eyaka 19, y'afuna diguli esooka mu Arts mu fashion design.

Emirimu

Oluvannyuma lw'okusoma mu Bungereza, Owori yaddayo ewaabwe mu Uganda n'aggulawo edduuka ly'engoye eryasooka okutunda engoye ezisuubuzibwa. Kkampuni eyo, Sylvie's Boutique, erina ekitebe kyayo ekikulu ku Garden City Mall mu Kampala business district, n'ettabi eddala ku Mabirizi Complex, nayo mu Kampala, n'ettabi ery'okusatu mu Kilimani, ekitundu kya Nairobi, ekibuga ekikulu ekya Kenya. Yawa abakozi 80 mu mawanga gombi, okuva mu Ogwekkuminebiri 2009.

Owori era yatandika [ddi?] okuyiiya n'okukola engoye ze n'emikwano gye. Mu mwaka ogwa 2000, Sylvia Owori yalondebwa okukola ku ngoye z'abantu abali bagenda okuzanya mu MNet Face of Africa, mu Dar es Salaam ne Cape Town. Omwaka ogwaddirira, mu 2001, yalondebwa okukola ku ngoye z'omuzannyi wa Uganda mu mpaka za Nokia Face of Africa. Okuva mu 2001 okutuuka mu 2004, Sylvia Owori ye yatandikawo entegeka za "Miss Uganda Beauty Pageant", bw'atyo n'agaziya okwolesebwa kwe. Mu 2004, yatongoza omutimbagano ogw'engoye ze, wansi wa Sylvia Owori label. Mu 2005, yatandikawo Africa Woman Magazine, akatabo akafulumizibwa buli mwezi nekasaasanyizibwa mu Uganda, Kenya, Rwanda, South Sudan ne Tanzania. Owori yateekateeka era n'afulumya emisono gy'abazannyi abakulu abasajja n'abakyala n'abamu ku bazannya mu filimu eya The Last King of Scotland, eyafulumizibwa mu 2006. Ye mutandisi era nnannyini Zipa Modeling Agency, ekitongole ekikulembera okwolesa emisono mu kitundu ekya African Great Lakes.

Owori era muyambi wa Senkulu wa Ssabakunzi (Gen. Salim Saleh) ow'ekitongole ekya Operation Wealth Creation on Public Private Community Partnerships.

Obulamu bwe

Owori maama w'abaana balenzi babiri. Omu ku baana, yazaalibwa mu 2008, wa Al Hajji Nasser Sebaggala, eyaliko meeya wa Kampala, eyali mu buyinza okuva mu 2006 okutuuka mu 2011.

Laba era

Ebyawandiikibwa

Enkolagana ez'ebweru

Tags:

Sylvia Owori Ebyafaayo nokusomaSylvia Owori EmirimuSylvia Owori Obulamu bweSylvia Owori Laba eraSylvia Owori EbyawandiikibwaSylvia Owori Enkolagana ezebweruSylvia Oworien:Chairpersonen:Chief Executive Officeren:East African Communityen:Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Yoweri Hunter Wacha-OlwolObubulwaEmpewo (Air)NakasigirwaKokoloPeace MutuuzoEssomampimo (Geometry)Amaanyi g’EnjubaChadEby'obutondeAustralia (ssemazinga)Ekituli ky'EkizikizaJennifer Nansubuga MakumbiNzikiriza y'AbatumeBupooloNooweLugandaEarthIngrid TurinaweEnjobeAluminiyamuEmpewo eya kiwanukaKyakyuEsther and EzekielLuganda - Lungeleza dictionaryAbayimbiramu kibiina kye bayita 'Goodlyfe'PallasoRio de JaneiroJennifer MusisiSaratovNigeriaŁódźEkigaji ddagalaJoyce BagalaBaibuliObwoka mu batoNnyaBugandaEquatorial GuineaGlascock County, Georgia91.3 Capital FMOkunywaDenis ZakariaPorto-NovoYokohamaSamuel Wako WambuziJowaash Mayanja NkangiAllan SsewanyanaDjiboutiGuinea-BissauAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaCameroonOkutumbira olubutoLillian MbabaziSiriimuNamirembe BitamazireMichael EzraManjeri Kyebakutika🡆 More