Josephine Karungi

  Josephine Karungi, munnayuganda ow'ebyamawulire akola ng'omukugu mu byempuliziganya eyebuzibwako n'ekitongole ekya Bbanka ey'ensi yonna nga ofiisi zakyo zisangibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.

Nga kino tekinnabaawo, okuva nga 1 Ogwekkumi 2018 okutuuka nga 30 Ogwokusatu 2021, yaweerezako ng'akulira amawulire ku NTV Uganda, mu kiseera ekyo. yaweereznga butereevu eri avunaanyizibwa ku mawulire Daniel Kalinaki.

Karungi yazaalibwa mu Uganda. Yasomera mu Nakasero Primary School, e Kampala. Oluvannyuma yagenda mu St. Lawrence Citizens High school, Horizon Campus okusoma Sekendule. Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Yunivasite ya Makerere, yunivasite y'eggwanga esinga obunene mu Uganda, mu Kampala, gye yamaliriza ne diguli esooka mu by'amawulire.

Emirimu

Yegatta ku National Television Uganda (NTV Uganda) mu 2009 ng'omusomi w'amawulire ag'oluzungu. Yateeekateekanga era n'aflulumya pulogulamu y'oku ttivi eyitibwa Perspective With Josephine Karungi. Mu Ogwekkumi 2018, yafuulibwa okukulira amawulire ku NTV Uganda, ng'adda mu kifo kya Maurice Mugisha, eyatwalibwa ekitongole ekya Uganda Broadcasting Corporation, ng'amyuuka avunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu mu kitongole ekyo. Oluvannyuma yalondebwa ng'akulira eby'empuliziganya mu kitongole ekya Bbanka ey'ensi yonna nga tanava ku Nation Media Group.

Mu Ogw'okusatu 2021, yafulibwa akulira amawulire ku NTV Uganda.

Amaka

Karungi yafumbirwa Vince Musisi, munayuganda era pulodyuusa w'ennyimba. Bombi baalina omukolo ogw'ekyama ennyo nga gwali mu Speke Resort Munyonyo, amambuka g'ennnyanja Victoria. Abafumbobano balina ezadde ery'omwana ow'obulenzi.

Ebirala bye balowoozaako

Mu Ogusooka 2017, olupapula lw'amawulire olwa Daily Monitor lwamwogerakonga, omu ku "bantu abayinza okuba abasikiriza mu Uganda mu 2017".

Laba era

Ebyawandiikibwa

Enkolagana ez'ebweru

Tags:

Josephine Karungi EmirimuJosephine Karungi AmakaJosephine Karungi Ebirala bye balowoozaakoJosephine Karungi Laba eraJosephine Karungi EbyawandiikibwaJosephine Karungi Enkolagana ezebweruJosephine KarungiNTV Ugandaen:Daniel Kalinakien:World Bank

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Susan Nalugwa KiguliNamibiaEndwadde y’omutimaEritreaChemistryFrancis ZaakeAmasannyalazeBakakensa ba Buganda abedda (the Scientists and Philosophers of ancient Buganda91.3 Capital FMSusan NsibirwaOMWETANGOKabaka wa BugandaEkigaji ddagalaOmusujja gw'ensiriMabira ForestGodfrey WalusimbiShatsi Musherure KutesaJessica AlupoBulgariaMowzey RadioMoroccoEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiErinnya KabakaChileEnnyanja WamalaSylvia OworiHenry Oryem OkelloEkibanduso (A Primer of Change)Omusingi gw'Ebyenfuna(The Economic Base)São Tomé and PríncipeKolera ndwaddeOkutabuka omutwe (Schizophrenia)EkkajjolyenjovuOKULUNDA EBYENYANJABreinigerbergCayinaOkudibaga okwakolebwa abafuzi b'amatwale(the distortions of colonialism)ButurukiEbirogologoRepublic of CongoZiria Tibalwa WaakoRwashaOkusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)Yisaaka NetoniYugandaEby'obutondeEMMANUEL COLLEGE KAZO, KAMPALAObulemu ku maasoGirimaneCatherine BamugemereireEkkuumiro ly'ebisolo erya BwindiEnkokoOLUBUTO OKWESIBAMukunyuEbyobufuna bya Buganda Eyedda (the Political economy of precolonial Buganda)🡆 More