Catherine Bamugemereire

Catherine Bamugemereire munnamateeka era omulamuzi mu Uganda, okuva mu 2015, abadde akola ng'omulamuzi mu kkooti ejulirwaamu mu Uganda, era ekola nga kkooti eya Semateeka mu Uganda.

Ebyafaayo n'okusoma

Yazaalibwa mu Bubulo, mu disitulikiti eye Mbale,kati ye disitulikiti ya Manafwa, mu myaka gya 1970. Yasomera mu Nabumali High School mu siniya. Alina diguli esooka mu mateeka, eyamuweebwa mu 1992 okuva mu Makerere University, mu Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu disitulikiti. Alina ne Diploma mu Legal Practice, eyamuweebwa Law Development Centre,nayo mu Kampala. Master of Laws in Comparative Law and International Law, okuva mu Southern Methodist University, mu Dallas, Texas, United States, mu 2003.

Emirimu

Bamugemereire yasooka kukola mu 1993, ng'omuwaabi wa gavumenti mu minisitule ya Uganda ey'obwenkanya ne Semateeka y'obwenkanya n'ensonga z'amateeka mu Uganda, ng'abeera mu tawuni eya Arua, mu disitulikiti y'e Arua, mu bitundu ebya West Nile. Oluvannyuma, yalondebwa nga Magistrate ow'eddaala erisooka. Mu gye 90, yayita mu mitendera gyona n'ava ku ky'omulamuzi wa kooti ento n'atuuka ku ky'omulamuzi owa kooti enkulu.

Mu mwaka ogwa 2001, yafuuka omuwi w'amagezi mu by'amateeka eri kampuni eya Shell Mexico LPG mu kibuga Mexico. Oluvannyuma yasoma diguli ye ey'okubiri mu United States. Mu 2003, yasengukira e Bungereza neyekozesaako ng'omusomesa mu University of Surrey, okumala emyaka musanvu.

Mu 2010, ekitongole ky'amateeka ekya Uganda kyamufuula omulamuzi wa kkooti enkulu, okukola mu kitongole kirwanyisa enguzi n'obulyaake ku kooti. Akola ku misango egy'engassi ne n'egyannaggomola mu Uganda yonna. Mukugu ku buli bwenguzi era ayogedde n'okuwandiika enyo ku nsonga eno.a eno. Mu 2015, yalondebwa mu kkooti eya Semateeka gy'akyakola n'okutuuka kati okuva mu mwezi ogwa Kuminaggumu 2017.

Obukiiko obubuuza

Catherine Bamugemereire abadde akulira okunoonyereza kwa mirundi esatu okw'eggwanga ku nsonga z'okulya enguzi mu bitongole bya gavumenti: (a) akakiiko akabuuliriza ku nsonga mu byamateeka akeekeneenya ekitongole ekya Kampala Capital City Authority, okuva mu Ogwomukaaga 2013 okutuuka mu November 2013. (b) okunoonyereza ku kitongole ekya Uganda National Roads Authority, okuva mu Ogwomukaaga 2015 okutuuka mu Ogusooka 2016 ne (c) akakiiko akanoonyereza ku kibba ttaka n'obukuubagano bw'ettaka mu Uganda, okwatandika mu 2017.

Amaka

Yafumbirwa George Bamugemereire era balina abaana babiri.

Ebirala ebirowoooozebwako

Mu 2017, Southern Methodist University yamuwa ekirabo kya Distinguished Global Alumni Award, olw'okusiima emirimu gye.

Laba era

  • Minisitule y'obwenkanya n'ensonga za Semateeka (Uganda)

Ebyawandiikibwa

Enkolagana ez'ebweru

Tags:

Catherine Bamugemereire Ebyafaayo nokusomaCatherine Bamugemereire EmirimuCatherine Bamugemereire Obukiiko obubuuzaCatherine Bamugemereire AmakaCatherine Bamugemereire Ebirala ebirowoooozebwakoCatherine Bamugemereire Laba eraCatherine Bamugemereire EbyawandiikibwaCatherine Bamugemereire Enkolagana ezebweruCatherine Bamugemereireen:Court of Appeal of Ugandaen:Judgeen:Lawyer

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Colquitt County, GeorgiaChadNBS Television (Uganda)Adonia KatungisaEKIKA KY'EMPEEWOObulwadde bwa HerniaKyanamukaakaLangiEddagala eriyitibwa Mwambala zitonyaMonacoAmakumi abiri mu nnyaOLWEZAOMWETANGOLesothoSister CharityEnsiOmuntuBeninNnalubaaleBarbie KyagulanyiObulwadde bw'OkwebakaMaliEssomero lya Française Les Grands LacsKkopa (Copper)Amakulu g'emiramwa(Lexical Semantics)SeychellesObulwadde bw 'ensusuBulindoMbazziOkusogola omwengeOtema AllimadiEMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIREBuyonaaniSsebwanaBuwengeKawukaEleanor NabwisoIbandaEstoniaLuganda - Lungeleza dictionaryPeruLatviaBuikweEnergyNamirembe BitamazireAgnes NandutuIdi AminNzikiriza ey'eNiceaChileTanzaniaEbyafaayo bya UgandaAga KhanMbale (disitulikit)Okutta omukagoNorth AmericaENGERO ZA BUGANDAŤhomas B. ŤayebwaEnnambaEnjokaKimwanyiCharlton County, GeorgiaEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiEbitontome bya Charles Muwanga Ebya Sayansi(Charles Muwanga's Poems of Science)🡆 More