Jessica Alupo

 

Jessica Rose Epel Alupo, gwebasinga okumannya nga Jessica Alupo, ye ow'omwenda era omumyuka wa pulezidenti wa Uganda okuva mu 2021.Munabyabufuzi Omunayuganda, omusomesa, ate eyaliko munamaggye. Yawerezaako nga minisita w'eby'enjigiriza mu kabineeti ya Uganda, wakati wa 2011 ne 2016. Era ono ye mukyala omubaka wa Paalamenti omulonde akiikirira Disitulikiti ye Katakwi.

Obulamu bwe n'okusoma kwe

Yazaalibwa mu Disitulikiti ya Katakwi nga 23 Ogwokutaano mu 1974. Yasomera ku Apuuton Katakwi Primary School. Oluvannyuma n'agenda ku Kangole Girls School fgyeyamalira S4. Emisomo gye egya S6, yagituulira ku Ngora High School. Alupo yatendeka nga eyali awereza ku dduuka eritunda eby'okulya kusomero nga tanaba kugenda okusoma koosi y'okutendekebwa byakubeera musirikale kutendekero lya Uganda Junior Staff College e Jinja. Alina Diguli mu by'emisomo gya sayansi mu by'obufuzi ne munimi, gyeyafuna mu 1997 okuva ku Yunivasite ye Makerere. Diguli ye ey'okubiri eyasooka, yali Master of Arts in international relations and diplomacy, nga nayo yagifunira ku Yunivasite y'e Makerere mu 2008. Alina ne Dipulooma mu by'okudukanya n'okulabirira embeera z'abantu gyeyafuna mu 2008 okuva kutendekero lya Uganda Management Institute (UMI). Diguli ye ey'okubiri mu by'okudukanya n'okulabirira embeera z'abantu yabifuna mu 2009, okuva ku Yunivasite ye Makerere.

Obumannyirivu mu by'emirimu

Emyaka egiyise, abadde akola emirimu egy'enjawulo okubadde:

Mu 2001, yayingira mu by'obufuzi nga yeesimbyewo ku ky'omubaka omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti ye Katakwi. Yeesimbawo ku tikiti y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM). Yawangula era nebaddamu okumulonda mu 2006. Mu 2009, yaweebwa eky'okubeera minisita omubeezi ow'ensonga z'abavubuka n'abaana. Mu 2011, baddamu nebamulonda okukiikirira konsitituweensi ye mu Paalamenti.Munkyuka kyuka ya kabineeti nga 27 Ogwokutaano mu 2011,yakuzibwa n'agenda ku kya minisita w'eby'enjigiriza eby'emizannyo. Yadira Namirembe Bitamazire mu bigere, eyali asuliddwa okuva mu kabineeti.

Obulamu bwe

Alupo mukyala mufubo ng'era baawe ye Innocent Tukashaba. Kigambibwa nti ayagala nnyo eby'okusoma, okukuunga abantu wamu n'okutambula engendo empaavu.

Ebijiliziddwaamu

Ewalala w'oyinza okubigya

Tags:

Jessica Alupo Obulamu bwe nokusoma kweJessica Alupo Obumannyirivu mu byemirimuJessica Alupo Obulamu bweJessica Alupo EbijiliziddwaamuJessica Alupo Ewalala woyinza okubigyaJessica Alupo

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

NakongezalinnyaEndwadde y’omugongoSomaliaEmbu z'AmannyaAmambuluggaButyabaJames WapakhabuloJapanEbiseeraAustriaFinilandiKiiza EronThe mithEbikolwaNvumetta Ruth KavumaKkanisa ya Yeso EyannamaddalaKabaka wa BugandaTete ChelangatJoyce Nabbosa SsebugwawoBeninGombe, ButambalaEugene SseppuyaOkutanaNatasha SinayobyeEkiyondoMediterranean SeaShamim BangiEbyamalimiroOkuwangaala mu LugandaRadio Muhabura42Sierra LeoneEnzikuOsakaKalagi, MukonoEssomamawangaCharles MayigaEkizibu ky'OkwerabiraRepublic of CongoENKOZESA YOMULURUUZAYisaaka NetoniAamito LagumAmabwa munda w’obulagoKutu kumuEkigaji ddagalaAmazziRobert KakeetoHilda Flavia NakabuyeEssaza Ekkulu erya Kampala (Eklezia Katolika)Nkumi bbiriLithueeniaKitamiloRebecca KadagaJose ChameleoneBugandaRwashaPayisoggolaasiJoan Acom AloboLulyansolobi(Omnivorous animals)EkkyO (IQ)Red Hot Chili PeppersEmmanuel Okwi🡆 More