Ebiseera

Mu Luganda tulina ebiseera ebikulu mukaaga omukolerwa ebikolwa eby’enjawulo.

Buli kiseera kirina akabonero kaakyo akakyoleka. Kakabonero ako tukayita akawango (affix).

  • Ekiriwo/ekya bulijjo
  • Ekyakayita
  • Ekyayita
  • Ekirijja
  • Ekinajja
  • Ekyayise

Ekiseera ekyakayita/ekiyise

Ekiseera kino tukikozesa bwe tuba nga twogera ku kikolwa ekibaddewo oluvannyuma lw’essaawa mukaaga emabega nga kimaze okubaawo. Ekikolwa ekirimu ekiseera kino kiragibwa n’akabonero aka –e ku nkomerero yaakyo. Eby’okulabirako: -Nkoze -Nnyimbye -Bakutte - Batambudde Mu ngeri yeemu, ekikolwa ekiyambi –badde kyeymbisibwa nnyo singa tuwandiika emboozi erimu ekikolwa ekiri mu kiseera ekyakayita. Okugeza; -Abadde akola. -Mubadde mulya. -Babadde basoma.

Ekiseera ekiriwo/ekya bulijjo

Ekiseera ekiriwo (present continuous) n’ekieera ekyabulijjo (present simple) mu Luganda bizibu okwawula mu mpandiika naye omuntu bw’abeera anyumya emboozi kiba kyangu okwawula ekiseera mw’aba ayogerera. Mu biseera bino byombi temuli buwango bubiraga era ekikolwa kisigala mu mbeera yaakyo nga tekikyusiddwamu. Eby’okulabirako:

  • Bulijjo tulya bulungi
  • Abaana bazannya mupiira kati.
  • Ndeka nsoma bitabo byange.
  • Buli lunaku nteekwa okuyimba.

Ekiseera ekinajja/ekijja

Tukozesa ekiseera ekijja bwe tuba nga tulaga nti ekikolwa kigenda kukolebwa mu bbanga eriri wakati w’essaawa omukaaga n’abiri mu ennya. Bwe tuba tuwandiika sentensi erimu ekiseera ekinajja, mu kikolwa twongeramu ennyingo eraga ekiseera ekyo –naa- era akawango ako tukawandiika oluvannyuma lw’okwandiika nakasigirwa enkozi. Eby’okulabirako;

  • Nnaamulaba enkya.
  • Tunaagenda ku makya.
  • Banaalima akawungeezi.
  • Anaasoma enkya.

Ekiseera kino oluusi tuyinza okukiraga nga tweyambisa ekikolwa ekiyambi jja nga tukyeyambisa oluvannyuma lw’okuwandiika nakasigirwa enkozi era nga ekikolwa ekiyambi “jja” kyekiyimirirawo mu kifo awandibadde akabonero k’ekiseera –naa-. Eby’okulabirako:

  • Tujja kugenda enkya.
  • Bajja kulima akawungeezi.
  • Ajja kusoma enkya.

Ekiseera ekirijja

Singa omuntu ayagala okwogera ku kikolwa ekiribaawo oluvannyuma lw’essaawa abiri mu nnya n’okweyongerayo akozesa ekiseera ekirijja era ekiseera kino kiragibwa n’akayingo ka -li- kawandiikibwa oluvannyuma lw’okuwandiika nakasigirwa enkozi. Eby’okulabirako:

  • Olimulaba ng’azze.
  • Balisoma ku ssande.
  • Ndigenda naawe.
  • Alibatwala ku mmande.

Ekiseera kino kyo tekirina kikolwa kiyambi.

Ekiseera ekyayise

Kino kibeerawo mu bbanga eriri wakati w’essaawa omukaaga n’ekkumi n’ebbiri okuva ekikolwa we kyakoleddwa. Ekiseera kino kigatta ebintu bibiri, ekiseera ekyayita, kye tulaga n’akawango –a- ate n’ekiyise kye tulaga n’akawango –e-. Awo nno, akawango akalaga ekiseera kino ke kano, -a-e. Okugeza; Asoma ____yasomye

Ekiseera ekyayita

Kino kibeerawo okusukka essaawa abirimu nnya okweyongerayo okuva ekikolwa lwe kyakolebwa era nga kiragibwa n’akabonero aka -a-. Okugeza;

  • Twalya
  • Yakaaba
  • Yafa
  • Baabireeta
  • zadduka

References

A Luganda Grammar by E. O. Ashton, E. M. K. Mulira, E. G. M. Ndawula, A. N. Tucker

Tags:

Ebiseera Ekiseera ekyakayitaekiyiseEbiseera Ekiseera ekiriwoekya bulijjoEbiseera Ekiseera ekinajjaekijjaEbiseera Ekiseera ekirijjaEbiseera Ekiseera ekyayiseEbiseera Ekiseera ekyayitaEbiseera

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

OmuntuEbyobuzibaKalusiyaamu (Calcium)Radio SimbaMbwaLisangá lya Bikólo bya Molɔ́ngɔ́Okufuna olubuto mu myaaka egisobba mu 50Okuggyamu olubutoNakasigirwaYisaaka NetoniBebe CoolKkumiKkumi na bbiriEDAGALA LY'AMANNYI G'EKISAJJA ERYEKINANSIKahinda OtafiireElizabeth EilorPpookinoAmasannyalazeSloveniaNagoyaEkitendero(Plane, Flat shape)Breathitt County, KentuckyBotswanaOlupapula OlusookaMozambiqueGautama BuddhaObukontanyo(Protons)Iganga (disitulikit)Amakumi abiri mu mukaagaWandaVisionNepalObulamu obw'Enjawulo (Biodiversity)VaccineEKIKA KY'EMPEEWOSiriimuHenri Amini CishugiKookolo w’omu lubutoEkyenda ekineneKkumi na nnyaWalifu y'OlugandaLugandaBrusselsEswatiniHalimah NakaayiMoroccoTurkeyVanessa Erogbogbo, omuwandiisi w’ebitaboNamirembe BitamazireNigerParisNational Unity PlatformKUTUKUMUForceBaker County, GeorgiaSsekawooleza DdunguAkataffaaliAgnes AcibuKandidaMichael EzraEntababutondeBupooloNkumi bbiri🡆 More