Ennyanja Wamala

 

Ennyanja Wamala erina amazzi amalungi era nga esangibwa mu ggwanga Uganda. Entobazi z'ennyanja eno zona zijjudde ebika by'ebinyonyi n'ensolo eby'enjawulo nga muno mwe muli enjobe. Ennyanja eno ya nkizo nnyo mu buwangwa n'ennono z'abantu ba Buganda mu masekkati ga Uganda.

Ennyanja Wamala
Ennyanja Wamala

Ekifo w'ensangibwa

Ennyanja eno egabanibwa disitulikiti zino, Mubende, Mityana ne Gomba era nga zonna zisangibwa mu Buganda. Oluguudo oluva e Mityana ne Kalyankoko,ne luyita e Kimuli mu disitulikiti y'e Mityana lwe luli ku lubalama lw'ebuvanjuba bw'ennyanja Wamala nga lukunukkiriza kilometeters 11.Obusange bw'ennyanja Wamala ku maapu y.ensi yona bwe buno; 0°20'44.0"N, 31°53'16.0"E (Latitude:0.345545; Longitude:31.887778).

Ebigikwatako ebitonotono

Ennyanja eno Wamala eri ku bugazi bwa yiika 61776.35 ze mailo 97. Eriko ebizinga bino,eky'eLwanju, eky'eMabo, eky'eBagwe, Kiraza, Kazinga wamu n'ebirala. Emigga giwerako egiyiwa mu nnyanja eno era nga egimu ku gyo gye gyino;ogwa Nyanzi, ktenga, kabasuma, Mpamuguju n'omugga Bbimye. Ennyanja eno evububirizibwa amazzi g'omugga Kibimba agava mu Katonga ate bwe gumala ne guyiwa nnyanja Nalubaale. Ebyembi omugga Kibimba gwo tegutera kubaamu mazzi bulungi. Ennyanja eno ya nkizo nnyo mu by'enfuna n'ebyobuwangwa mu bitundu gy'esangibwa era nga ennyanja eno eddukanyizibwa abakulembeze ba disitulikiti ya Mubende,Mityana,ne Mpigi nga disitulikiti zino zonna zigabana ensalo z'ennyanja eno

Ebyafaayo.

Ennyanja Wmala eno yaliko ekitundu ky'ennyanja Nalubaale emyaka 4,000 egiyise,naye we twogerera ennyanja eno eri ku bwayo yokka.Kiwanuuzibwa nti,ennyanja Wamala yafuna erinnya eryo okuva ku ssekabaka Wamala eyasembayo mu bwakabaka bwa Bachwezi,era ne kiwanuuzibwa nti Ssekabaka ono yabulira mu nnyanja eno ku ludda lw'ennyanja olw'okumwalo gwe lubajja oguyitibwa Nakyegalika era n'emizimu gye giwummulira mu nnyanja eyo.

Ebimera n'ebisolo

Ebimera ebyetoolodde ennyanja Wamala bisinga kuba bitoogo n'ebimera ebirala eby'okumazzi. Ennyanja eno era yeetooloddwa emiti gy'bisansa. Waliwo n'ebika by'ensolo eby'enjawulo nga enjobe,embizzi z'omunsiko,envubu,engabi,enkima enjeru,enkobe,enkofu,n'omujjonkezi byona byeyogalira ku nnyanja eno wamala. mu nnyanja muno era musangibwamu ebika by'ebinnyanja eby'enjawulo nga mwe muli; engege,emmamba,n'enkejje.

Ennyanja Wamala 
Engege eziva mu nnyanja Wamala

Envuba gy'ezze enkyukakyukamu.

Mu gy'enkaaga, ne ku ntandikwa y'emyaka gy'ensanvu,ku nnyanja wamala wasibukangayo eby'ennyanja ebibisi n'ebikalirire nga bitundibwa mu bitundu ebiriraanyeewo ne mu bubuga bwa Buganda obw'enjawulo. Wabula, olw'okulemererwa okufuga n'okukukwasisa amateeka mu nsuubula y'ebyennyanja ku nnyajanja eno, mu makkati g'emyaka gy'ensanvu eby'ennyanja byaggwa mu Wamala. Enkyukakyuka mu mbeera y'obudde nayo ekyanakalanya embeera ku nnyanja eno ekikosa obulamu bw'abavubi wamu n'ab'omumaka gaabwe

See also

Tags:

Ennyanja Wamala Ekifo wensangibwaEnnyanja Wamala Ebigikwatako ebitonotonoEnnyanja Wamala Ebyafaayo.Ennyanja Wamala Ebimera nebisoloEnnyanja Wamala Envuba gyezze enkyukakyukamu.Ennyanja Wamala

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Barbara KaijaKAYAYANAEMMANUEL COLLEGE KAZO, KAMPALAOkukoma okuzaalaOmunyanyaKenyaAmaanyiCameroonKamuliBarbie KyagulanyiEritreaMolly Nawe KamukamaEkibalanguloSt. Anthonys Secondary School KayungaOlukangaga lw'amalwaliro mu UgandaBacon County, GeorgiaGrania RubomborasOsakaNamibiaHenry Oryem OkelloEkkuumiro ly'ebisolo erya BwindiOmuntu kalimageziEnnyanja WamalaErinnya KabakaSandra SuubiObuwakatirwaEby'obutondeKifabakaziAgnes NandutuEvelyn AniteEnnima ey'obutondeMadagascarAligebbulaRwandaEmbu z'AmannyaAkright CitySudaaniAisa Black AgabaMoroccoOkuwugaEkinonoozo (Engineering)Walifu y'OlugandaOmwesoBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abedda(The Great Thinkers of Ancient Buganda)IsilandiParisPikachuAisha SekindiMozambiqueKrakówSierra LeonePhiona MutesiOkuggyamu olubutoKakiraEbyawuziOmutangenta (the tangent function)AmerikaAkafubaSusan NsibirwaOBUTONDE BW’ENSI🡆 More