Agnes Nandutu: Munnayuganda munnamawulire era munnabyabufuzi

 

Agnes Nandutu munamawulire Omunayuganda, munabyabufuzi eyabadde Minisita avunaanyizibwa ku Karamoja ekifo ekyamugiddwaako Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni n'akikwasa Florence Namboozo Wamala Omubaka wa Disitulikiti ya Sironko omukyala. Mu 2020 yeenyigira mu kamyufu k'ekibiina kya National Resistance Movement n'awangulwa eyali mu kifo kino Omubaka omukyala Justin Khainza, nga mu kulululu ka bonna aka 2021, n'avuganya nga talina kibiina kyeyali agiddemu, nalondebwa nga Omubaka Omukyala eyali akiikirira Disitulikiti ya Bududa.

Obulamu bwe n'okusoma kwe

Nandutu yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Bududa mu Uganda nga asibuka mu ggwanga ly'abantu Abagisu. Nandutu yasomera ku Bumwali primary school gyeyatandikira, oluvannyuma yeegata ku Bbulo girls secondary gyeyava okugenda ku Blucheke secondary school

Emirimu gye

Mu 1997, yeegata ku mukutu gwa Radio Uganda ng'akola nga omusasi w'amawulire.Oluvannyuma, n'agenda okusoma Dipulooma mu Mawulire kutendekero lya Uganda Institute of Journalism and Media studies. Yakolako mu lupapula lwa Daily Monitor ng'omusasi w'amawulire. Wakati wa 2002 ne 2008, Nandutu yakolako ku mukutu gwa leediyo ya Impact FaMa nga omusasi w'amawulire nga tanaba kwegata ku mukutu gwa ttivi ogwa NTV Uganda. Yali kafulu u kusaka amawulire g'ebyobufuzi ku mukutu gwa ttivi ya NTV Uganda. Nandutu yeeyali akumakuma n'okubeera omwogezi ku pulogulaamu ya NTV citizen debate eyali ayitibwa "The People’s Parliament." Yawereza nga pulezidenti w'ekibiina ekigatta Banamawulire mu Paalamenti okuva mu 2011 okutuuka mu 2016. Y'awandika n'okutaanya pulogulaamu emannyikiddwa ennyo ku mukutu gwa ttivi ya NTV Uganda eyitibwa Point Blank. Mu 2011, yafuna ekirabo kya ssekukulu okuva mu lupapula lwa The Observer olwa pulogulamu ye ku kumukutu gwa NTV eyitibwa, Point Blank.

Obutabanguko

Mu 2017, Nandutu akulira ekitongole ky'ebyempuliziganya yagaana okumuwa ebiwandiiko ebyali bimukiriza okusaka amawulire okuva mu Paalamenti ya Uganda.

Mu 2020, mukaseera k'okukola kakuyege wa Paalamenti, Nandutu yaweebwa omulimu gwokulaga bbaawe, ekintu ekyamulema okukola wabula n'asaba akakiiko k'ebyokulonda ng'ali ku leediyo okumufunira omusajja amusaana n'abasaba esira okuliteeka ku by'okukiikirira mu kifo ky'obufumbo. Ensonga y'obufumbo yaletawo obutabanguko mu bantu. Nandutu yategeeza nga bw'alina abaana musanvu nga wadde yagamba nga bw'atayinza kwongera ku by'ogerako ab'olupapula lwa The Observer bwelwali lumusoya ebibuuzo.

Ebijuliziddwaamu

Tags:

Agnes Nandutu Obulamu bwe nokusoma kweAgnes Nandutu Emirimu gyeAgnes Nandutu ObutabangukoAgnes Nandutu EbijuliziddwaamuAgnes Nandutu

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

MalawiNtauliraFranc KamugyishaOBWAVU N’OKUNONNYEREZA KU BIBUFAAKO MU BYALO MU’ ENKULAAKULANA EYA NAMADDALAMiria MatembeSenzito(Metric Tons)Sarah Nabukalu KiyimbaNamibiaYengaBacon County, GeorgiaEgyptJinjaAmerikaLibyaOkukoma okuzaalaJoel SsenyonyiButurukiEthiopiaAisha SekindiEkirwadde kya CholeraUgandaEppetoAbed BwanikaYisaaka NetoniObulamu obusirikituOlutiko (Mashroom)LesothoOmutangenta (the tangent function)Ensikiso (Pulleys)BagandaNzikiriza ey'eNiceaJapanKAYAYANAEbiryoSouth AfricaJesca AbabikuEbirogologoEbyobufuna bya Buganda Eyedda (the Political economy of precolonial Buganda)Mercyline ChelangatMetcalfe County, KentuckyENNAKU MU SSABIITIJackie ChandiruOmutwe ogulumira oludda olumuOmusujja gw'ensiriKakiriOkuggyamu olubutoGhanaKabaka wa BugandaKabakaCatherine BamugemereireEnglish to lugandaBurundiFort PortalSembuya Christopher ColumbusEkibanduso (A Primer of Change)AmazziGreat BritainENTOBAZI N’EMIRIMU, N’EMIGASO GYAAZO🡆 More