Franc Kamugyisha

Franc Kamugyisha (yazaalibwa nga 19 Ogwokusatu 1992) munnayuganda ow'abantu omwagazi w'obutonde n'enkyukakyuka mu by'obutonde era omulwanirizi w'abwo.

Ye mutandisi era omukulu w'ekibiina kya EcoPlastile, kampuni esangibwa e Namanve ewa omugaso ku kasasiro, okuzimba n'enkulakula eri ebisoomooza mu nkwasaganya ya kasasiro.

Obuto bwe n'emisomo gye

Franc yazaalibwa era yakulira mu kibuga ky'e Fort Portal mu Bukiikakkono bwa Uganda eri omwami munnabizinensi era omulimi Ephraim Byamugyisha era ne nnyina Paskazia Tushabomwe. Yasomera ku Nyabweya Primary School, mu Disitulikiti y'e Kabarole nga tannegatta ku Pere Ache SS mu Fort Portal, Fort Portal SS ne Kagongo SS mu Ibanda ku misomo gye egya ssekendule. Bweyava eyo, yegatta mu bupatiri ku kigo kya Montfort Missionaries wabula yavaayo oluvanyuma lw'omwezi okukolera ku Yunivasite ya Ibanda University.

Emirimu

Franc yatandika okukola nga ali mu vaaka ya siniya ey'omukaaga. Yatwalibwa okusomesa essomo ly'okubala ne Fizikisi ku ssomero lya Pere Ache SS. Oluvanyuma lw'olusoma olwasooka, yasabibwa okukulembera essomero lya ssekendule n'ebasomesa abalala 15 mu Kyenjojo ku myaka 19.

Naye Kamugyisha omulimu yaguvaako okwegatta ku Yunivasite ya Ibanda nga maneja wa pulojekiti z'okuzimba. Yakuzibwa okuddukanya ekisulu ky'abayizi mu kiseera ky'ekimu nga bw'asoma essomo lya bachelors of business administration in accounting. Oluvanyuma lw'omwaka, bamulinyisa nafuuka okuuma eby'obuggaga bya Yunivasite era nga ye kalabaalaba wa Pulojekiti z'okuzimba. Era yafuna Satifikeeti mu kuzimba eya National Certificate in Building and Construction n'aba UBTEB era natikkirwa ne Satifikeeti ez'obukugu mu kukwasaganya emirimu gya Gavumenti, bizinensi entono n'okuzikulakulanya okuva mu ssomero lya London School of International Business Studies.

Mu 2017, Kamugyisha yalondebwa nga Maneja omujjuvu ow'obyokuzimba era mu 2019 yafuuka Dayilekita mu by'okuzimba, ekifo kyayalekulira. Akyali muyambi wa lekikyala mu Yunivasite y'e Ibanda.

Okulondebwa kwe n'engule

  • EcoPlastile yalondebwa ku kya Green Innovation Fund, ekya tegekebwa Minisitule y'ekikula ky'abantu n'enkulakulana mu Uganda.
  • Yali emu kkumi ezatuuka ku kamalirizo mu kyali kituumiddwa Earth Tech challenge 2020 okuva mu ttiimu ezisoba mu 850 okwetoloola ensi yonna, era ow'okusatu mu Ggwanga lya Australia.
  • Omuwanguzi w'engule ya TEF Entrepreneur Awards eyategekebwa Tony Elumelu Foundation mu Ggwokusatu 2019.
  • Omuwanguzi w'engule ya Carbon SEED Awards; enkola ey'amawanga amagatte eya United Nations Environment Program ne UNDP, Ogwomwenda 2019, Munich Germany.
  • Yaweebwa engule ya autumn school for sustainable entrepreneurship fellowship eyategekebwa aba Engagement Global mu Ggwekkuminogumu 2019, Accra, Ghana.
  • Awarded the YALI EA Fellowship November, 2019 and emerged with the most climate mitigation and adaption solution, Nairobi Kenya.
  • Omuwanguzi w'empaka za Climate Launchpad ez'ategekebwa aba KIC mu Uganda ne Renewable Energy Business Incubator (REBI), ne mu mpaka za Africa Regional Finals mu Nairobi Kenya, Ogwekkuminogumu 10, 2019.
  • Yalondebwa mu mpaka z'akamalirizo ez'obutonde bw'ensi, mu Amsterdam ekya Netherlands, Ogwekkuminogumu 15, 2019.[1]
  • Yakirizibwa ng'omutandisi wa bizinesi omunyinyitivu ebyategekebwa aba ALTIS, Essomero ery'ebya Bizinensi, ne Yunivasite ya Sacred Heart University eya Milan ne Uganda Martyrs University mu 2018.
  • Omuwanguzi wa AfriTech, UK-Africa Virtual Accelerator 2019 mu Bizinensi za African mu Gwekkuminebiri 2019.
  • EcoPlastile yalondebwa aba UNDP Africa Regional Youth Seminar olw'obukugu mu bukulembeze mu kyaasa ekya 21, eby'enkulakulana, n'emirimu egyenjawulo mu kugaziya eby'enfuna n'ekulakulana mu by'obugagga eby'omuttaka mu Kampala, Ogwekkuminebiri 2019.[2]
  • Yalondebwa aba UNDP Accelerator Lab wansi w'ekibiina kya “Solutions for Rapid Deforestation and Degradation mu Uganda”, Ogwekkuminebiri 2019.[3]
  • Yalondebwa okwetaba mu mpaka za XPOSURE Startup Track mu Istanbul Turkey, 2020.
  • EcoPlastile yawangula ekya Young Sustainable Impact (YSI) program19, Solutions for COVID-19 mu Norway olw'obukookolo obwakolebwa.[4]
  • Yawangula ekya common wealth Young person ow'omwaka gwa 2022[5]

Eby'obulamu bwe

Franc abeera Ntinda- Najeera mu Kampala, Uganda era asinga kunyumirwa okuwuga, okutambula n'emizannyo gw'omweso.

Ebijuliziddwamu ebye bweru

Ebijuliziddwa

Tags:

Franc Kamugyisha Obuto bwe nemisomo gyeFranc Kamugyisha EmirimuFranc Kamugyisha Okulondebwa kwe nengule[7]Franc Kamugyisha Ebyobulamu bweFranc Kamugyisha Ebijuliziddwamu ebye bweruFranc Kamugyisha EbijuliziddwaFranc Kamugyishaen:Activismen:Climate changeen:Namanveen:Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

AsiaSiriimuLiberiyaDemocratic Republic of CongoLatviaEbirwaza(Diseases)Montgomery County, GeorgiaAlina embugo bbiriEDDAGALA LY’ENVA N’EBIBALANnalubaaleAlubbaati AnsitayiniSung Jae-giDenimaakaAmazzi mu mubiri (water in the Body)Logan County, OhioEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiOlupapula OlusookaOkulima green paperEby'obutondeEddagala erigema endwadde ya kkoleraMadagascar (firimu)Okusiriiza entamuJane KiggunduMpanga Central Forest ReserveEDAGALA LY'AMANNYI G'EKISAJJA ERYEKINANSIOkusoosowaza ebyenfuna (materialism)Prince Wasajja KiwanukaOkusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)Okutta omukagoObuwakatirwaEkimuliLuganda - Lungeleza dictionaryBufalansaNzikiriza y'AbatumeObuwangaaliro( Environment)OKubalirira (Arithmetic)Kalagi, MukonoGodfrey BinaisaAmakumi abiri mu nnyaFred RwigyemaBlack SeaHumanMadagascarFinilandiSeychellesMukenenyaEMMYEZINakasigirwaEryokanga n’etonyaIbandaEnsibukulaDonald TrumpKandidaSyda BbumbaEbyobuwangwa (Culture)🡆 More