Jesca Ababiku: Munnabyabufuzi

 

Jesca Ababiku yazaalibwa 17, Ogwomusanvu mu 1975 nga muyigiriza omunayuganda ng'era munabyabufuzi. Y'omu kubabaka ba Paalamenti ya Uganda eyekumiakiikirira Disitulikiti ya Adjumani mu bifo bya Paalamenti ebimu ebyaterekerwa abakyala. Y'omu ku bali mu kibiina ekiri mu buyinza mu Uganda ekya National Resistance Movement (NRM), nga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ye ssentebe waakyo, ate nga ye pulezidenti w'eggwanga lya Uganda. Mu kulonda kwa Uganda okwa bonna mu 2021, Ababiku yediza ekifo kye ekyomubaka wa Paalamenti omukyala owa Disitulikiti ya Adjumani.

Obuto bwe n'okusoma kwe

Ababiku yazaalibwa nga 17 Ogwomusanvu mu 1975. Yakulira mu Disitulikiti ya Adjumani. Yasomera ku Adjumani Girls Primary School, gye yamaliriza P7 mu 1990. Mu 1994 yatuula S4 ku Metu Secondary School, mu 1997 yamaliriza S6 okuva mu Moyo Secondary School mu tawuni ya Moyo, ate mu 1999 yatukirwa okuva kutendekero lya Muni National Teachers College ne dipulooma mu by'enjigiriza. Mu 2006,yafuna diguli mu by'obusomesa okuva ku Yunivasite y'e Makerere,ate oluvannyua n'atikirwa ne diguli ey'okubiri mu busomesa okuva ku Yunivasite y'e Gulu.

Obumannyirivu mu kukola

Ababiku yafuuka omusomesa oluvannyua lw'okutikirwa okuva kutendekero lya Muni National Teachers College. Mu 2000, yatandika okusomesa ku Alere Secondary School, esomero erirabirirwa gavumenti nga lisangibwa mu bitundu bya Adropi mu Disitulikiti ya Adjumani nga lyatandikibwawo mu 1991 nga lyakisulo okuyamba ku baana abanoonyi boobubuddamu okusingira ddala abasibuka mu South Sudan.

Mu 2002, yafuuka omukiise w'abasomesa ku kakiiko akakulu akadukanya esomero lya Alere Secondary School, ekifo kyeyaliko okutuusa mu 2004, era nga y'akulira ekibiina ng'omusomero n'ekitongole ekidukanya emisomo gy'ebyafaayo okuva 2004 okutuuka mu 2006. Yayongerako ekifo ky'okubeera Kansala wa Disitulikiti mu gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ya Adjumani okuva mu 2002 okutuusa mu 2010, ng'ra yali ku kakiiko ka Yunivasite y'e Kyambogo okuva mu 2004 okutuusa mu 2010. Yeeyali omuwandiisi wa Disitulikiti ya Adjumani eyali avunaanyizibwa ku byali bifulumizibwa mu gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ya Adjumani okuva mu 2004 okutuuka mu 2006, and from 2006 to 2010. Yali omu kubaali ku kakiiko k'ekibiina ekigata abantu abalina obulemu mu Uganda.Mu kusooka mu 2002, yali afuliddwa ssentebe w'ekibiina ekigatta abantu abalina obulemu mu Adjumani ekifo kyeyaliko okutuusa mu.

Emirimu gye mu byobufuzi

Mu 2010, yawuula eby'okubeera omusomesa, okubeera Kansala wa Disitulikiti mu gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ya Adjumani, n'emirimu gye egy'okubeera ku kibiina ekigatta abalina obulemu ku ibiri mu Uganda wamu n'ekigatta abalina obulemu ku mibiri ekisinganibwa mu Adjumani okusobola okwesimbawo ku k'omubaka wa Paalamenti ya Uganda. Yeesimbawo nga talina kibiina kya byabufuzi kyagiddemu, nga wadde oluvannyuma yafuuka omu ku ba memba ba National Resistance Movement ku ky'omubaka akiikirira abakyala mu Disitulikiti ya Adjumani era n'awangula. Yafuna obululu 17,037 okuwangula ekifo ekyali kyesimbyeko abantu bana.

Okulonda kwa 2011
Okulonda kwa bonna okwa 2011:Omukyala anaakiikirira Disitulikiti ya Adjumani
Ekibiina Eyesimbyewo Obululu Obutundutundu ku 100
Talina kibiina Jesca Ababiku 17,037 51.38
National Resistance Movement Jesca Osuna Eriya 14,231 42.92
Forum for Democratic Change Hellen Achan 1,145 3.45
Talina kibiina Mamawi Josephine Ujjeo 732 2.21

Mu Paalamenti, Ababiku y'ou kubali ku kakiiko k'abavunaanyizibwa ku by'embalirira y'abantu, wamu n'akavunaanyizibwa ku by'ensonga za Pulezidenti. Y'omu kubali ku kibiina ekigatta abakyala mu Paalamenti ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA), ng'era y'omu ku ba memba b'akakiiko k'ebyemirimu oba akakubiriza eby'enfuna akadukanyizibwa Agnes Kunihira.

Obulamu bwe

Jesca Ababiku simufumbo. Asinga kwagala kuwuliriza muziki wamu n'okusoma.

Laba nebino

Ewalala w'oyinza okubigya

Ebijuliriziddwamu

Tags:

Jesca Ababiku Obuto bwe nokusoma kweJesca Ababiku Obumannyirivu mu kukolaJesca Ababiku Emirimu gye mu byobufuziJesca Ababiku Obulamu bweJesca Ababiku Laba nebinoJesca Ababiku Ewalala woyinza okubigyaJesca Ababiku EbijuliriziddwamuJesca Ababiku

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

AmaanyiNelson MandelaMichael EzraRepublic of CongoEnnyingo OkuzimbaIvory CoastBulaayaEquatorial GuineaEnnima ey'obutondeBoda-bodaKookolo w'EkibumbaKampalaEkirwadde kya CholeraEbiseeraJudy Obitre–GamaImmaculate AkelloSpice DianaAmambuluggaSafina NamukwayaStephen KissaSenegalLydneviMauritaniaSarah KiguliDonald TrumpJoanita KawalyaBebe CoolSwiidenOlukoongoNamuziga n'Ekikono(Wheel and Axle)TogoEssomabiramuKiruhuraCleopatra KoheirweComorosKatali kabeKAYAYANABupooloCuritibaDorcus AcenDobraEMPEEKERA NNAKONGEZAKIKOLWAOkwongera ku mmere gyolyaEleguAssani BajopeJulie Mukoda ZabweSiriimuMercer County, KentuckyNational Unity PlatformKololiiniEnsenkeFrancis ZaakeAkaziba ka ayidologyeni (hydrogen atom)BubirigiAbantuArgentinaJohn Ssenseko KulubyaMbwaObuwangaaliro( Environment)Okutta omukagoAlubbaati AnsitayiniHo Chi Minh CityKilimanjaro🡆 More