Aisha Sekindi: Omubaka wa Palamenti ya Uganda

Aisha Sekindi (yazaalibwa 4 December 1970 ) musomesa era omubaka wa Palamenti mu Uganda.

Mu February 2022, yakola nga Minisita omubeezi ow’eby'amazzi era nga ye mubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Kalungu mu palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu . Yadda mu bigere bya Hon. Ronald Kibuule eyamukwasa ofiisi eno mu July wa 2021. Yalina ekifo kye kimu mu palamenti ya Uganda ey'ekkumi . Mu byobufuzi, ali mu kibiina kya National Resistance Movement nga yesimbira ku tikiti yaakyo mukuvuganya mu kulonda kwa bonna okwa 2016, olwo n'awangula Aisha Naluyati Waligo owa Democratic Party Uganda (DP).

GYenvudde n’Okusoma

Aisha Sekindi yasomera mu ssomero lya Kyato Muslim Primary School lye yavaamu mu 1984 neyeegatta ku Kadugala Secondary School okusoma O Levels ( Uganda Certificate of Education ), gye yafuna mu 1988. Oluvannyuma mu 1995, yafuna satifikeeti y’abasomesa okuva mu ttendekero e Kibuli Teacher Training College.

Emirimu

Wadde Aisha Sekindi yatandika ng’omumyuka w’akulira essomero lya Saint Kizito Primary School, Lwengo (1997 okutuuka 2001), yagenda mu maaso n’afuuka kansala ku we Lwabenge ku disitulikiti era Omuwandiisi w'ekikula ky'abantu ne gavumenti z'ebitundu mu disitulikiti eye Masaka wakati wa 2001 ne 2007

Nga tannafuuka mubaka wa palamenti, Aisha Sekindi yaliko omumyuka w;omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Lira wakati wa 2013 ne 2014. Ekyo nga tekinnatuuka, yali aweereza mu kifo kye kimu mu Disitulikiti y’e Tororo (2011 okutuuka 2013) ne Disitulikiti y’e Kamuli (2007 okutuuka 2011). Wakati wa 2010 ne 2011, yali mubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Buyende .

Ng’omubaka omukyala mu palamenti ya Uganda ey’ekkumi, yali wa kibiina kya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) era y'omu mmemba w’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obulimi .

Obutakwatagana

Waliggo Aisha Nuluyati owa DP yagguddewo omusango ku Aisha Sekindi mu kkooti enkulu ku bigambibwa nti Sekindi teyalina bisaanyizo by'okusoma byetaagisa ku kifo ky’omubaka wa Palamenti omukyala (MP) kye yalondebwa. Wadde nga bino byogerwako, Sekindi yalangirirwa ng’omubaka omutuufu omukyala owa Disitulikiti y’e Kalungu oluvannyuma lw’okulonda kwa 2016. Mu March 2023, erinnya lya Aisha Sekindi era lyafulumizibwa nga lyekuusa mu mabaati ge Karamoja agabibbwa, ng'omu ku babaka 30 aba Palamenti (ababaka ba Palamenti) abaali bakwatibwako. Emivuyo gino gyabaddemu ebigambibwa nti ensimbi ezaali zigendereddwamu okugula n’okugabira abantu abawejjere mu bitundu by’e Karamoja mu Uganda.

Laba ne

Ebijulizidwa

Ebiyungo eby’ebweru

Tags:

Aisha Sekindi GYenvudde n’OkusomaAisha Sekindi EmirimuAisha Sekindi ObutakwataganaAisha Sekindi Laba neAisha Sekindi EbijulizidwaAisha Sekindi Ebiyungo eby’ebweruAisha SekindiEkibiina kya Democratic Party(Uganda)Kalungu (disitulikit)National Resistance MovementOlukalala lw'abakiise b'olukiiko lw'eggwanga olw'ekkumi n'olumu olw'e Ugandaen:2016 Ugandan general electionen:Educatoren:Legislatoren:List of members of the tenth Parliament of Ugandaen:Ronald Kibuule

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

AngolaBudduKkumi na nnyaMuntunsolo ya byanfuna(homo economicus)Porto-NovoOkutanaEnsiEnvaKabakaCredonia MwerindeOkugunja ebigambo(Conceptualisation)Rio de JaneiroEsigalyakagoloOkusesemaAmakumi asatu mu bbiriOmulangiriziEssomabwengulaSamson KisekkaKrasnoyarskYulaniyaamu (Uranium)Eddagala ly'Okulumwa OmutweMexico1Sarah Achieng OpendiEKIBWANKULATAOkuwangaala mu LugandaKampalaNorth AmericaRigaMonica Azuba NtegeOlupapula OlusookaEttalo(Septic arthritis)KapchorwaHamza MuwongeTogoEssomampuyisatu (Trigonometry)EnnambaEMPEEKERA NNAKONGEZAKIKOLWAVladimir PutinSomaliaEbyobufuna bya Buganda eyedda(the Political economy of precolonial Uganda)Dorothy HyuhaAbu KawenjaBubirigiEbyenfuna mu Buganda EyeddaEmizannyo gy'AbagandaBelarusArgentinaRose MwebazaEKIFUMUFUMUMichael EzraNooweCayinaDerrick NyekoKataleya ne KandleGeorge Cosmas AdyeboEddiini ya BugandaAlubbaati AnsitayiniJapanCatherine Odora HoppersEZISUSIBWA ENVA ZE ZINOEntababutondeYokohamaKisoroEbigengeBuyonaaniObulwadde bw'Akafuba🡆 More