Jimmy Katumba (Yazaalibwa mu 1955 n'afa nga 13 Ogwomunaana 2006) .
Yali muyimbi omututumufu ng'era Munnayuganda. Yatandika ng'omuyimbi w'ennyimba z'eddiini kyokka n'acaaka nnyo mu nnyimba z'ensi ng'emyaka egya 1970 giggwaako okutuuka mu gy'ekyenda(1990). Jimmy Katumba yayamba nnyo okusima omusingi gw'ennyimba ezikyaka mu Uganda era atwalibwa ng'omu ku bayimbi abakyasinze okucaaka mu Uganda. Bbandi ye eya, The Ebonies, yabuutikira nnyo endala zonna mu Uganda eyo mu myaka gya 1980 n'egya 1990.
Katumba yazaalibwa Reverend Blasio Katumba ne Alice Nakyagaba mukyala we. Okuyimba kwe kwatandikira mu kkwaaya z'Ekkanisa ez'enjawulo mwe yayimbiranga. Yasomera mu masomero munaana omuli n'erya Makerere College School ne Lubiri Secondary School.
Katumba okuyimba yakutandika wa myaka munaana mu kkanisa emu ey'e Mukono kitaawe mwe yali Omwawule Wansi w'Ekkanisa ya Uganda (Anglican). Mu 1977, yatandikawo ekibiina kye yatuuma Light Bearers, oluvannyuma kye yakyuusa n'akituuma Jimmy Katumba and the Ebonies. Yasinga kumanyibwa olw'eddoboozi lye eddene ateesseeneekerevu eritali lya bulijjo. Katumba yacaaka nnyo olw'ennyimba ze omuli: "Twalina Omukwano," "Drums of Africa" ne "Fa Ku ky'olina." Oluvannyuma yafuluma Uganda n'agenda mu Bungereza mu 1990. Oluvannyuma yeeyongerayo mu Amerika mu 1992 n'akomawo e Uganda mu 1995.
This article uses material from the Wikipedia Luganda article Jimmy Katumba, which is released under the Creative Commons Attribution-ShareAlike 3.0 license ("CC BY-SA 3.0"); additional terms may apply (view authors). Content is available under CC BY-SA 4.0 unless otherwise noted. Images, videos and audio are available under their respective licenses.
®Wikipedia is a registered trademark of the Wiki Foundation, Inc. Wiki Luganda (DUHOCTRUNGQUOC.VN) is an independent company and has no affiliation with Wiki Foundation.