Nakongezakikolwa

Nakongezakikolwa kye kigambo ekyongera okunnyonnyola ku ekikolwa ekikolebwa/ekyongera amakulu ku kikolwa ekiri mu mboozi oba sentensi.

Ekikolwa ekiri mu sentensi kisobola okwongera okunnyonnyolwa mu ngeri zino wammanga:

  1. Engeri gye kikolebwamu
  2. Embeera gye kikoleddwamu
  3. Emirundi gye kikolebwa
  4. Ekifo we kikolerwa n’engeri endala.
  5. Ekiseera mwe kikoleddwa

Mu ngeri ezo waggulu wamu n’endala ezitakooneddwako mwe muva ebika bya nnakongezakikolwa eby’enjawulo era nga mulimu bino wammanga:

Nakongezalinnya Ez’ebiseera (Adverb of time)

Zino ziraga obudde oba ekiseera ekikolwa we kikoleddwa. Mu biseera eby’enjawulo omuyinza okukolerwamu ekikolwa mulimu bino wammanga:

  • Kawungeezi
  • Ku makya
  • Matumbi
  • Ggulolimu
  • Ttuntu
  • Nnazzikuno n’ebirala.

Okugeza:

  • Nnazzikuno omuwala okwejaajaamya nga tannafumbirwa kyabeeranga kivve.
  • Omusajja yajja mu ttuntu.
  • Taata asambula kawungeezi.
  • Twamuwulira ng’ayita eyo mu ttumbi.

Nakongekikolwa Ez’empisa (Adverb of manner)

Zino ziraga engeri omuntu gye yeeyisaamu ng’akola ekikolwa. Okugeza:

  • Mpola
  • Kasoobo
  • Lulembe
  • Ssimbo
  • kyejo

Eby’okulabirako;

  • omwana oyo alya mpola.
  • Nalule atambuza ssimbo.
  • Nassiwa emmere agiwaasa lulembe.
  • Omuggalanda abeera n’ekyejo.

Nakongezakikolwa Ez’ebifo (Adverb of place)

Zino ziraga wa ekikolwa we kikolerwa. Okugeza:

  • Waggulu
  • Wansi
  • Munda
  • Wabweru
  • Wamberi
  • Nkoto n’ebirala.

Eby’okulabirako:

  • Omuyembe guwanike waggulu.
  • Omwana agudde wansi
  • Ebibbo bitwale munda.
  • Amaliba gafulumye wabweru.

Nakongezakikolwa Eziggumiza (Adverbs of degree)

Zino zibeera ziraga amaanyi, essira oba eddaala ekikolwa kwe kikolerwa. Okugeza:

  • Nnyo
  • Nnyo nnyini
  • Nnyini
  • Nnyo nnyini ddala.

Eby’okulabirako;

  • Bakutumidde nnyo.
  • Akwagala nnyo nnyini.
  • Tusiimye nnyo nnyini ddala.

Tags:

Nakongezakikolwa Nakongezalinnya Ez’ebiseera (Adverb of time)Nakongezakikolwa Nakongekikolwa Ez’empisa (Adverb of manner)Nakongezakikolwa Ez’ebifo (Adverb of place)Nakongezakikolwa Eziggumiza (Adverbs of degree)Nakongezakikolwa

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

SsebwanaEby'obutondeObulamu obw'Enjawulo (Biodiversity)LugandaEkimuliMooskoJoel SsenyonyiEddagala eriyitibwa EkigajiBurundiDenimaakaIdi AminObulwadde bwa HerniaKatunguru, YugandaOkulya emyunguKAYAYANAAmazzi mu mubiri (water in the Body)Jessamine County, KentuckyAmakulu g'emiramwa(Lexical Semantics)Republic of CongoEmeere bugaggaBuyonaaniDoodoFulton County, OhioAdonia KatungisaKatumba WamalaMbazziBaltic SeaOLWEZAObuzimbe(Structure)Madagascar (firimu)ENNAKU MU SSABIITIBrusselsDiana NkesigaMilton OboteAga KhanEkkuumiro ly'ebisolo erya Lake MburoLogan County, OhioBako Christine AbiaMityana (disitulikit)NakasigirwaGabonBufalansaSyda BbumbaKabarole (disitulikit)NakongezalinnyaSenegalEbyobuwangwa (Culture)Endagamuwendo (digits)SeychellesAmasannyalazeLangiEbifa ku ‘amazzi mu byalo mu’ enkulaakulana eya namaddalaOkukola obulimiro obutonoEnsiEkiyondoYoweri MuseveniSouth AmericaPeru🡆 More