Okuyimba Mu Uganda

Uganda, ekwata kya kusatu mu nsi ezisinga okuyimba n'okusanyusa abantu mu Afrika yonna.

Uganda erimu amawanga 65 agavaamu abantu aboogera ennimi ez'enjawulo, era muno mwe muva ennyimba eziyimbibwa abantu ba nnansangwa. Abaganda, ly'eggwanga erisinga okuvaamu abayimbi ab'amaanyi era ab'ettutumu mu Uganda, batunze nnyo obuwangwa bwabwe n'okubuutikira ekisaawe ky'okuyimba mu Uganda mu byasa ebibiri (2) ebisembyeyo.

Ekika ky'ennyimba ekyasooka okututumuka nga kivaamu ne ssente mu Uganda kye kya Kadongo Kamu nga kyava mu nnyimba ya Baganda ey'eŋŋoma Eŋŋanda. Okuva mu myaka gya 1980 okutuuka mu gya 1990, Kadongo Kamu yabuutikirwa nnyo abayimbi nga Peterson Mutebi, Dan Mugula, Sebadduka Toffa, Fred Ssonko, Livingstone Kasozi, Fred Masagazi, Baligidde, Abuman Mukungu, Gerald Mukasa, Sauda Nakakaawa, Matia Luyima, Herman Basudde, ne Paulo Kafeero. ne bakifuula ekika ky'ennyimba ekyasinga okucaaka mu Uganda. Ng'emyaka gya 1980 giggwaako, omugenzi Philly Lutaaya yafulumya olutambi lwe olwa "Born In Africa' oluvannyuma olw'efuga amayengo g'empewo. Lutaaya yayongerako olutambi olulala lwe yatuuma "Merry Christmas" olwaliko ennyimba 8. Olutambi luno lukyali lwa ttutumu okutuusa leero era ennyimba za Philly Lutaaya teziva ku mimwa gya Bannayuganda abaagazi b'ennyimba.

Ku ntandikwa y'emyaka gya 1990, ekika ky'ennyimba ekirala kyayingirawo nga kiyitibwa Afro ragga oba kye bayita Ekidandali mu Luganda nga kireetebwa abantu okwali: Rasta Rob, Kid Fox, Ras Khan, Messe, Shanks Vivid, Menton Summer, Ragga Dee, Bebe Cool ne Jose Chameleone, Bobi Wine kw'ossa Steve Jean - ng'oluvannyuma ye yafuuka akola ennyimba z'abalala mu sityudiyo. Mu 1997, Emperor Orlandoh ne Menton Summer be baali ku mumwa gwa Bannayuganda abasinga obungi oluvannyuma lw'okufulumya oluyimba lwabwe lwe baatuuma "Sirikawo Baby" olwacaaka mu Uganda yonna.

Mu 1998, Red Banton yajja n'oluyimba lwe olwa "Noonya Money". Yafuuka omuyimbi wa Uganda eyasooka okugenda e Bungereza ng'agendedde ku Visa ya muyimbi (Artist Visa).

Olw'okwagala okutuuka ku mutindo ogw'ensi yonna n'enkyukakyuka yaayo, Uganda nga bwe kiri mu mawanga ga Afrika amalala ezze efuna enkyukakyuka mu ngeri gy'ekolamu ennyimba. Kino kivuddeko Bannayuganda bangi okuyimba ng'Abazungu mu bika nga Dancehall ne Hip Hop.

DJ wa Uganda asinze okutambula mu bitundu by'ensi yonna eby'enjawulo era omu ku ba DJ abasinga nga ye DJ, Erycom era amanyiddwa nga Mutebi Erycom, ye Munnayuganda eyasooka okutondawo omukutu ku Youtube era y'omu ku Bannayuganda ababiri abaasooka okusaasaanya ennyimba za Uganda ku mitimbagano.

DJ Erycom akozesezza okubeerawo kwa yintaneeti okutumbula okuyimba kwa Uganda n'abayimbi ba Uganda, era olw'ensonga eno, ennyimba za Uganda zituuse ku buli nsonda y'ensi yonna awatuuka emitimbagano.

Abayimbi mu Uganda abawerako beegasse ku kibiina ekirwanirira eddembe lyabwe n'okukuuma ebiyiiye byabwe ekya Uganda Performing Rights Society ekitumbudde ennyo ennyimba zaabwe n'okubaganyula nga kikola omulimu gw'okukuuma obwannanyini bwe balina ku nnyimba zaabwe.

Ennyimba ez'obuwangwa obw'enjawulo okusinziira ku bitundu bya Uganda eby'enjawulo

Uganda eyawulwamu ebitundu bina (4) omuli; Amasekkati, Obukiikakkono, Obuvanjuba n'Obugwanjuba. Buli kitundu kirina ennyimba ez'engeri ez'enjawulo okusinziira ku buwangwa obukirimu n'amawanga agasangibwayo.

Ennyimba mu Uganda zisinga kwesigamizibwa nnyo ku mikolo egy'enjawulo era nga kino bwe kiri ne mu mawanga ga Afrika agasinga obungi. Kino kitegeeza nti okuyimba okusinga obunene kulina emikolo egy'enjawulo kwe kugendera okugeza, obufumbo oba embaga, okwalula abaana, emikolo gy'abakulembeze ab'ennono, amakungula, ennyimba ez'omu ntalo n'endala nnyingi.

Ennyimba zino zikubibwa n'okuyimbibwa abakugu abatendeke mu buwangwa obw'enjawulo ne mu bivuga mwe bayimbira ennyimba ezikwata ku buwangwa bwabwe n'amazina gaabwe ag'enjawulo.

Amasekkati

  Abaganda basangibwa mu Bwakabaka bwa Buganda mu kitundu ky'Amasekkati ga Uganda; ly'eggwanga ly'abantu abasinga obungi mu Uganda. Obwakabaka bukulemberwa omukulembeze w'ensikirano ayitibwa Kabaka. Kabaka ye muyima w'ebyokuyimba mu Buganda. Ebimu ku bivuga Abaganda bye bakozesa mu kuyimba mulimu: eŋŋoma nga zikola ettundutundu dddene mu nnyimba z'Abaganda.

Eŋŋoma z'Obwakabaka ze zimu ku ŋŋoma za Buganda ezikubwa mu nnyimba. Engalabi y'emu ku ŋŋoma ez'ettutumu nga y'esinga obuwanvu kyokka eddoboozi lyayo lifulumira mabega nga n'abamu kye bava bagiyita Omusekerannyuma. Eŋŋoma zikozesebwa omulundi gumu n'ebivuga ebirala omuli amadinda, endingidi, emirere, entongooli, n'ebiralala bingi.

Ennyimba zizannyibwa abantu bazizinireko mu ngeri ey'ayimba okusooka ate abamuwagira ne bamwanukula ng'enkola eyo eri nnyo mu mawanga ga ba Bantu era ebaddewo okuva mu myaka gy'ekyasa ekya 19. Abaganda balina amazina ag'enjawulo agagenda n'enkuba z'ebivuga ezikyukana, muno mulimu aga baakisimba agasinga okuzinibwa. Mu malala mulimu aga nankasa n'amaggunju. Amaggunju mazina ga kitiibwa agaatandikira mu lubiri lwa Kabaka. 

Mu Bukiikokkono bwa Uganda mu kitundu kya Acholi waaliyo omuyimbi ow'amaanyi ng'ayitibwa Ojara Eddy we bwatuukira mu ku nkomerero y'emyaka gya 1980.

Mu Buvanjuba

Okusobola okukwawulira ekitundu ky'Obuvanjuba bwa Uganda ku bitundu ebirala. Kino kirimu amawanga ag'enjawulo omuli: Abagwere, Abasoga, Abanyoli, Abagisu, Abajapadhola, Abateeso, Abasabin, Abasamya era buli buwangwa bulina ennyimba yaabwo. Mu myaka gya 1990 amawanga gano gaakolanga ennyimba nga gakozesa bivuga byago byokka bye beekoleranga, okugeza Abagwere baalina ekivuga ekiyitibwa kongo, Abasoga nga balina amadinda ge bayita mbeire, ate Abajapadhola n'Abanyoli nga balina ekya fumbo, Abateeso nga balina adungu era ennyimba zaabwe zaayawukananga nnyo mu nvuga n'engeri gye baaziyiiyangamu. Mu kyasa ekya 20, mangi ku mawanga gano gaagenda gakyusa ennyimba yaago nga gakoppa ennyimba ey'ekizungu kyokka bakyayimbira mu nnimi zaabwe.

Waliyo abayimbi bangi abamanyiddwa mu mawanga ago okugeza, Abagwere balina Waisana, Benenego, Rapper sky dee, Area b, Waikere, Bluzman n'abalala, . Abagisu balina San Sea, Ben, Nutty Neithan n'abalala, Abasoga balina Crazy mc, Racheal Magola, Maro, Yaled, General Megadi n'abalala. Amawanga gano agasinga galina abakulembeze b'ensikirano abayambyeko okutumbula eby'okuyimba byabwe. Omukulembeze w'Abagwere ayitibwa Ikumbania, owa Bugisu ye Omukuka, owa Busoga ayitibwa Kyabazinga, owa Teeso ye Emorimori n'abalala.

Obugwanjuba

Ekitone ky'okuyimba kizze kikula mu kitundu kino okuviira ddala ku bayimbi nga Sister Charity, Chance Kahindo ne Rasta Charz abaddirirwa Ray G, Jolow, Allan Toniks, Seyo, T Bro, Emily Kikazi, Muzz Joe, T Paul, Rachael T, Mat Henry, CJ Champion ne baddirirwa abalala omuli Penny Patra, Amani Amaniga, Carol Kay, Prettie Immaq n'abalala bangi abazze. Oluvannyuma lw'okucaaka kw'oluyimba lwa "Omusheshe" olwayimbibwa Ray G ne Spice Diana, Olunyankole lwayongera okutuuka mu bitundu ebirala ebya Uganda. Abayimbi abava mu Buganda nabo baayongera okukola ennyimba ne bannaabwe okuva e Bugwanjuba ne bayimba ennyimba nga "True man hood" olwa ba Allstars abaayimba ne T Bro, "Tikikushemerire" olwa Gen Geeon ne Jose Chameleon, "Yeele" olwa Geosteady ne Ray G, "Ninkukunda" olwa Ray G ne Voltage music, "Mbarara boy" olwa Mc Kacheche ne John Blaq, "Elevate" olwa Rachael T ne Colifixe, "Sagala" olwa T Paul ne Cosign.

Okukula kwa ba 'deejay' kwatandika n'abantu nga DJs Alberto 43, Dj Mats, DJ Sky, Riddim Selecta, Starcent Dj, Jahlive, DJ Emma, DJ Bristol ne ba 'deejay' abali wansi w'ekibinja kya XL Deejayz , Street Deejays, Massive effect Deejays, 43 Effect Deejays n'abalala bangi.

Abatumbula ekisaawe ky'okuyimba. Mu bano mulimu abakolera ku mitimbagano n'abatagiriiko, omuli: Feezah music uganda Alpha Promotions, Bantu Hits, Uganda Djs Online Radio Karen Promotions, D3 Promotions, Lala Promotions, Patra Promotions, JKG Promotions, MOK Alozius Promotions n'abalala; Mu balala mulimu abantu ssekinnoomu okuli: Dely Derick, Mc Katala, Mr vybs live n'abalala bangi

Leediyo ne Terefayina nazo zikoze omulimu gwa maanyi okusitula ebitone. okutandikibwawo kwa leediyo ez'ebitundu nga "Voice of Tooro" , Radio West, Messiah Radio ey'e Kasese, Voice of Kigezi, Endigyito, Voice of Kamwenge, Kasese Guide Radio, Rwenzori FM, BFM, Hits FM, n'endala omuli Crooze FM, Boona FM, K Town Radio, Ngabu FM ne Street Deejays Radio (ey'oku mutimbagano) ziyambyeko nnyo ekisaawe ky'okuyimba okukula mu Bugwanjuba bwa Uganda.

Emikutu gya TV gikuze mu ngeri ya kasoobo mu kitundu kino kyokka okujja kwa TV West, ne Bunyoro TV nakyo kiyambyeko. TV zino zombi zaafuuka ekifo awazannyirwa vidiyo z'ennyimba zaabwe abantu ne baziraba.

Okuyita mu leediyo ne TV abantu abapya baacaaka omuli Mc Kacheche, Kunana MC, Lithan MC, Mr Jay n'abalala. Okukula kw'ebivvulu by'ennyimba naddala mu bbaala z'ebibuga nga Mbarara, Rukungiri, Kabale, Fort Portal, Ishaka, Kasese ne Kamwenge biwa omwagaanya abayimbi abato okufuna we bayimbira abantu ne babategeera.

Ennyimba ezicaase ennyo ne zikola ssente

Olw'embeera y'obutali butebenkevu eyali mu Uganda okuva emabega, tewaaliwo budde bumala kisaawe kya kuyimba kusajjakula okutuusa jjo lya balamu eggwanga lwe lyaddamu emirembe ng'emyaka gya 1980 giggwaako. Mu kiseera ekyo Philly Lutaaya, Afrigo Band, ne Elly Wamala be boogerwako ng'abaavaayo mu kisaawe ky'okuyimba. Jimmy Katumba n'ekibiina kye ekya Ebonies nabo baamanyika nnyo mu biseera ebyo, ng'egya 1990 gitandika.

Abayimbi nga, Carol Nakimera, Kezia Nambi, Fred Maiso, Kads Band, Rasta Rob, Menton Summer ba baaliko mu Uganda wakati wa 1990 ne 1997. Abalala nga, Livingstone Kasozi, Herman Basudde ne Paulo Kafeero nabo baakola kinene okusembeza ennyimba eri abantu n'okukola ebivvulu nga bayimbira ku siteegi.

Okusinziira ku mutunzi w'ennyimba za Uganda nnakinku era amaze ebbanga mu bwa DJ, DJ Erycom, 1998 gwe mwaka ekisaawe ky'okuyimba mu Uganda lwe kyasinga okufuna enkyukakyuka ey'omuggundu. Yeebaza abayimbi nga Red Banton eyaleeta akayimba ka Noonya Money akaabuna Uganda yonna. agamba nti Red Banton yali ku ntikko y'okuyimba mu Uganda okutuuka mu 2000 Jose Chameleone lwe yadda okuva e Kenya n'oluyimba lwa "Mama Mia" kyenkana olwafuuka oluyimba lw'eggwanga mu Uganda ne East Africa okutwaliza awamu.

Mu myaka gya 1990 Uganda yatandika okulaga nga bwe yali enyumirwa ennyimba z'e Jamaica abayimbi ab'enjawulo omwali Shanks Vivi Dee, Ragga Dee, n'abalala bwe bajja n'enkuba ey'ekijamaica nga beefaananyirizaako Shabba Ranks. Baayingiza wano ennyimba ez'ekika kya Ragga mu Uganda nga newankubadde baafuna okuvuganyizibwa n'ebika Ebifirika ebirala nga Soukous okuva e Congo ne Kwaito okuva e South Africa. Embeera eno ye yaliwo okutuusa mu kyasa ekya 21 abayimbi nga Chameleone bwe bajja ne bawamba.

We bwatuukira mu 2007, waaliwo abayimbi abapya bangi abaali bazze nga bayimba ebika by'ennyimba eby'enjawulo olwo ng'ennyimba z'e Bulaaya, ez'e Congo ne South Africa zaali tezikyavuga mu Uganda. Leero, abayimbi nga Iryn Namubiru ne King Saha be bamu ku b'oyinza okwogerako, abalala nga Radio & Weasel aba Goodlyfe Crew, nabo baali ba maanyi nnyo nga Radio tannafa, nga baavuganyaako ne mu mpaka za za ssemazinga wa Afrika yonna eza MTV Base awards mu 2010 n'eza BET awards mu 2013. Mu Gwomukaaga 2015, Eddy Kenzo yawangula awaadi y'omuyimbi omupya asinga mu nsi yonna eya "Best new international artist" mu mpaka za 2015 BET music awards.

Kadongo Kamu

  Ekigambo "Kadongo Kamu" kigambo kya Luganda ekitegeeza "endongo emu". Ennyimba ez'engeri eno zaaweebwa erinnya eryo olw'omulimu omukulu ogukolebwa jjita ey'eddoboozi eddene eya bass guitar, ng'olumu yokka gye bababakuba nga bayimba. Kirowoozebwa nti omuyimbi eyasooka okumanyika n'okucaaka ye Fred Masagazi eyo mu myaka gya 1960.

Omugenzi Elly Wamala naye yakola kinene mu kukyusa mu kadongo kamu n'amwongerako omutindo era ennyimba ze zaawulirwanga nga za njawulomu. Christopher Sebadduka yatutumusa nnyo kadongokamu nga y'ensonga alwaki bangi bamuyita Jjajja wa Kadongo kamu. Ennyimba za Wamala ez'imulembe zaamuleeera okufuna abawagizi bangi era y'omu ku baafuna omukisa okuyimba ku bijaguzo by'ameefuga ga Uganda mu 1962. Bano baagobererwa abayimbi abalala bangi.

Herman Basudde yali muyimbi wa kadongo kamu eyacaaka ennyo wakati w'emyaka gya 1980 ne 1990. Kino bwe kyali ne ku Bernard Kabanda ne Dan Mugula ono ye ng'akyaliwo. Fred Sebatta ne Paulo Kafeero baali ba maanyi nnyo mu myaka gya 1990. We butuukidde olwaleero nga Kadongokamu yakendeera amaanyi olw'ebika by'ennyimba ebirala ebivuganya ku mutendera gw'ensi yonna kyokka akyatwalibwa nga sitayiro y'ennyimba ey'ekitiibwa, erimu okuwuliriza obubaka, okubuulirira n'okusanyusa abakulembeze mu Buganda.

Ennyimba 50 ezikyasinze amaanyi mu Uganda okuvamu 1990

  Okusinziira ku DJ Erycom, luno lwe lukalala lw'ennyimba ezikyasinze amaanyi mu Uganda.

Born In Africa olwa Philly Lutaaya, Land of Anaka olwa Geoffrey Oryema, Bus Dunia olwa Herman Basudde, Sirikawo Baby olwa Menton Summer ne Emperor Orlando, Wipolo olwa Pastor George Okudi, Noonya Money olwa Red Banton, Mama Mia olwa Jose Chameleone, Mbawe olwa Ragga Dee, Tindatine olwa Lady Mariam, Kapapaala olwa David Lutalo, Bamidomo, Midomo olwa Da Twinz, Mu Ggulu Teriyo Mwenge olwa Menton Kronno & Gen Mega Dee, Mic Ya Ziggy Dee, Badda lwa Bobi Wine, Jamila olwa Jose Chameleone, Ani Akumanyi olwa Grace & Gatimo, Swimming Pool olwa Abdu Mulaasi, Angela olwa Sizza Man, Dippo Nazigala olwa Paulo Kafeero, Nakudata olwa Radio & Weasel, Ekinaigeria olwa Harriet Kisaakye, Siggwe Ansimira olwa Mesach Semakula, Mwana Muwala Nga Walaba olwa Mega Dee, Stamina olwa Eddy Kenzo, Wendi olwa Bobi Wine, Kasepiki olwa Bebe Cool, Nabikoowa olwa Juliana Kanyomozi, Mbakwekule olwa Sheebah, Ndigida olwa Ragga Dee, Champion olwa AK47, Maria Roza olwa Eddy Kenzo, Ginkeese olwa Qute Kaye, Oli Wange olwa Rema, Tuli Kubunkenke olwa Ronald Mayinja, Mazongoto olwa Dr Hilderman, Bread & Butter olwa Radio & Weasel, Jangu olwa Obsessions, Nakatudde olwa Madox Semanda Ssematimba, Maama Brenda olwa Sweet Kid, Neera Neera olwa Mowzey Radio, Omusono Gwa Mungu olwa Abdu Mulaasi, Obangaina olwa Racheal Magoola, Juicy olwa Radio & Weasel, Manzi Wa Nani olwa Clever J, Sikulimba olwa Afrigo Band, Nkuumira Omukwano olwa Aziz Azion, Omusheshe olwa Chance Nalubega, Bbaala olwa Daxx Kartel, Ekimbeewo olwa Halimah Namakula, Basiima Ogenze olwa Jose Chameleone, Ddole Y'omwana olwa Fred Sebatta, Sweet Wange olwa Phoebe Nassolo, Kyarenga olwa Bobi Wine, Beera Nange olwa Judith Babirye, Kani olwa Pastor Wilson Bugembe, Amaaso olwa Pallaso, Radio & Weasel, Walumbe Remix olwa Gravity Omutujju, Muliranwa olwa King Saha, Sitya Loss olwa Eddy Kenzo, Ngenda Kusiba Farm olwa Abdu Mulaasi, Badilisha olwa Jose Chameleone, Bogolako olwa Bebe Cool, Maama Mbire olwa Bobi Wine & Juliana ne Mbiro Mbiro olwa Eddy Kenzo.

Kidandali

  Ennyimba ez'ekika ky'Ekidandali ze zisinze okuwamba mu Uganda ensangi zino. Kyokka erinnya "kidandali" terikkaanyizibwako buli omu ng'abamu bagamba nti ennyimba ez'ekika kino zandibadde ziyitibwa ''ennyimba za bbandi'', ate abalala bateesanti ekika kino kiyitibwe Afrobeat. Ennyiba ez'engeri eno ensibuko yaazo yava mu bbandi ezaasookawo mu Uganda nga yaakafuna obwetwaze mu 1962.

Bbandi ya Cranes Band, oluvannyuma eyasattulukuka n'evaamu eya Afrigo Band, eyogerwako nga bbandi eyasooka okuvaamu ennyimba ez'engeri eno. Mu kusooka ennyimba zaabwe zaali zaagala okufaanaganamu ez'ekika kya Soukous n'ez'abayimbi b'e congo nga Franco ezaaliko mu budde obwo. Baakubanga nnyo n'ebivuga ebikola ennyimba za Jazz. Ebiseera bwe byagenda bitambula, waabalukawo bbandi endala nga Rwenzori Band, Big Five Band ne Simba Ngoma Band. Naye Afrigo Band ye yasinga okumanyika n'okubuutikira endala naddala mu kiseera ky'obutabanguko n'obutali butebenkevu obwaliwo mu myaka gya 1970 okutuuka mu gya 1990.

We bwatuukira mu makkati g'emyaka gya 1990, Afrigo Band yali ekyayimba ennyimba eziva mu kika kya Soukous music, eyali ow'ettutumu ennyo mu Afrika yonna.

Abayimbi nga Joanita Kawalya ne Rachael Magoola baali kitundu ku Afrigo Band era be baatandikirwako ekika ky'ennyimba kati eziyitibwa Kidandali, kw'ossa bbandi endala nga Kaads Band.

Kyokka enkyukakyuka ssinziggu yaggyawo bwe waatondebwawo ekibiina ekiralala ekyatuumibwa Eagles Production ekyaleeta abayimbi nga Mesach Semakula, Geoffrey Lutaaya, Ronald Mayinja , Haruna Mubiru n'abalala bangi. Bano baatwala ekya Afrigo Band ne bakyongeramu ebirungo wamma ne gujabagira.

Mu myaka gya 2000, enika ky'ennyimba kino kyasinga kumanyika ku bbandi ya Eagles Production. Bano baayongera okusitula ebitone ebipya omwali: Roy Kapale, Maureen Nantume, Phionah Mukasa, Mariam Mulinde, Queen Florence, omugenzi Harriet Kisaakye Cathy Kusasira, Irene Namatovu ne Stecia Mayanja.

Ate entaanya endala yaliwo mu 2008 omuyimbi David Lutalo lwe yajja n'akayimba ka Kapapaala n'ateekawo essuula empya okuva ku nnyimba za bbandi ezaali zimanyiddwa omwali Eagles Production, Diamond Production, Kads Band, Backeys Band, Kats Production, The Hommies n'endala nnyingi.

Mu 2003, Uganda yafunda omuyimbi omupya eyawamba ekisaawe ky'okuyimba, Abdu Mulaasi. Ono eyajja n'oluyimbba lwe olwabuna eggwanga lyonna olwa "Omusono Gwa Mungu", Abdu Mulaasi yayogerwangako kyenkana mu buli nju n'atwalibwa okuba omu ku bayimbi ab'amaanyi mu Uganda. Abdu Mulaasi yeeyongera okufulumya ennyimba ezaacaaka nga: Swimming Pool, Njagal Ebbere, Ekyaapa, Obuffumbo Bwa Liizi, Ngenda Kusiba Farm ne Omuchaina. Enkulu Tenywa lwe lumu ku nnyimba ezaasinga okukwatayo era ne lumu kuumira ku ntikko. We bwatuukira mu 2010, Abdu Mulaasi yali akyusizza enkuba ya KadongoKamu ng'afuuse Kadongo kamu omulongooseemu oba abamu gwe bayita Urban Kadongo Kamu.

DJ Erycom, y'omu ku ba DJ abaasooka abaasooka okuzannya, okubunyisa n'okutumbula ennyimba za Kadongokamu mu bbaala, ne mu bifo ebirala ebisanyukirwamu mu Uganda n'ebweru.

Mu kiseera ekyo tekinologiya ow'entambi yali ayongedde okukula ng'ennyimba zikolebwa byuma ebiri mu kompyuta si si bino bye bakubirawo nga kino kyali kyatuuka dda ne mu nnyimba eza bbandi.Situdio ezikola ennyimba ezaaliko mu kiseera ekyo kuliko: Kann, Dream Studios, Mozart n'eya Paddyman. Abayimbi abalala bangi bazze bayimba ennyimba z'ekidandali omuli Dr Tee, Martin Angume ne Chameleone yennyini. Abayimbi b'ennyimba zino abapya mulimu Papa Cidy, ne Chris Evans ng'ono oluusi ayimbirako n'ez'ekika kya Dancehall era muyimbi mututumufu mu Uganda.

Ennyimba za Dancehall

Ennyimba za Dancehall mu Uganda zaagala okwefaananyirizaako ezo eza Dancehall w'e Jamaica. Y'emu ku kika ky'ennyimba ekirina ekifo eky'oku mwanjo mu kisaawe ky'okuyimba mu Uganda. Ebirala byonna bifaanagana n'eby'Abajamaica ekyawukana kyokka lwe lulimi nga Bannayuganda bayimba nnyi mu nnimi zaabwe ennansi. Newankubadde bayimba mu nnimi zaabwe, okugeza Luganda, era waliwo obugambo bwe bakoppa mu Lujamaica nga bagoberera engeri gye baatulamu Olujamaica. Kinajjukirwa nti ku ntandikwa y'emyaka gya 1990 ne mu makkati gaagyo, ennyimba z'ebweru ezaasinga okunyumira Bannayuganda z'ezo ez'e Jamaica ezaayitibwanga Raggamuffin music mu biseera eby. Abayimbi nga Shabba Ranks ne Buju Banton baafuuka ekyokulabirako eri abayimbi b'e Uganda nga Shanks Vivi D, Ragga Dee, Menton Sama ne Rasta Rob. Ekidongo abayibi b'e Uganda kye baasinga okuyiiyizaamu ennyimba ky'eky'oluyimba lwaDem Bow olwayimbibwa Shabba Ranks oluvannyuma ne kiddirirwa ekidongo kya Reggaeton. Ng'emyaka gya 1990 giggwaako abayimbi abapya baasituka mu Uganda omwali Mega Dee ne Emperor Orlando nga bakuba ennyimba ez'ekika kino.

Ekyasa ekya 20 we kyaggweerako, ng'ennyimba za dancehall oba ezitera okuyitibwa ragga zaali zisaasaanye ne mu nkuba endala. Abayimbi abapya nga Chameleone, Bebe Cool ne Bobi Wine baayingirawo era ne bawamba ekisaawe ky'okuyimba nga bakuba ennyimba ez'ekika kino. Kyokka tebalina nnyo kye baayongera ku kika kya nnyimba eno naddala mu kwongera ku mutindo gw'envuga oba okwongeramu ebivuga ebirala wabula baasigala ku nvuga ey'ekidongo kya Dem Bow kwe baazimbiranga ennyimba zaabwe. Kyokka ebiseera bwe byeyongera omutindo gwagenda gukyukamu era Chameleone ye yasooka okuba omuyimbi wa dancehall eyagattamu envuga endala omuli eya Soukous ne Kadongo Kamu. We bwatuukira mu 2006, abayimbi bangi baali bakoze ekintu kye kimu.

Mu kiseera kino enkuba y'Ekijamaica yali ekyuseemu okuva ku nkadde eya "ragga" nga wazzeewo emypa eyaleetebwa ba DJ ba dancehall omwali Vybz Kartel ne Busy Signal. Abayimbi nga Dr Hilderman bajja n'ennyimba empya nga Double bed Mazongoto ne zivuga okumala ebbanga. Kyokka oluvannyuma Uganda yafuna abayimbi omujiji omupya nga Rabadaba, Sizza Man ne Fidempa abaakola ennyimba za dancehall omulongooseemu. Abayimbi ba Uganda aba dancehall bangi bamufunyeemu era kati bagagga abali mu bulamu obw'okwejalabya.

Ennyimba za Hip Hop ne R&B

Ennyimba za Hip Hop mu Uganda zeefaananyirizaako ezo eza Hip Hop w'omu Amerika abamu ze bayita ez'okutontoma. Olw'okukula kwa tekinologiya, ne Bannayuganda ennyimba za Hip Hop ze bakola nnengooseemu nga teziri wala nnyo n'ezikolebwa mu Amerika. Enjawulo ennene eriwo eri nti mu Uganda, nga bwe kiri ne mu mawanga ga Afrika amalala, okusinga abayimbi bayimba mu nnimi nnansi/nzaaliranwa. Okusingira ddala bayimba mu Luganda ng'ab'ennyimba zino baafunayo n'ekigambo ekiralala ekya "Lugaflow" kye bakozesa okutegeeza ennyimba eno efaananako ey'okutontoma mu Uganda.

Ennyimba eya Hip hop y'emu ku zikyali empya mu Uganda nga yatandika n'ebibinja by'abayimbi bibiri (2) omuli ekya Klear Kut ne Bataka Squad ebyatandika eyo ku nkomerero y'emyaka gya 1990 naye nga mu kiseera ekyo Bannayuganda baali tebannazitegeera. Mu bayimbi abalala abajja nga bayimba ennyimba ez'ekika kino mulimu Navio (rapper), Babaluku, Sylvester ne Abramz ,'abalala bangi.

Abayimbi abalala beeyalula okuva mu 2005 omwali Rocky Giant ne GNL Zamba eyajja 2008 ennyimba za Hip Hop ne zisensera Bannayuganda. Abayimbi abalala bajja nga bagoberera GNL omuli Jay-P, keko, Gravity Omutujju, Victor Kamenyo, Felister de Superstar, Fresh Kid, MunG n'abalala bangi ababunyizza ennyimba eno mu Bannayuganda ne batuuka ne ku mikutu egy'amaanyi nga MTV.

Nga bwe kiri ku Hip Hop, ennyimba za R&B mu Uganda nazo zigoberera ezo eza R&B okuva mu Amerika. Zino tezirina nnyo byafaayo mu Uganda kyokka nga zaasooka kuyimbibwa Steve Jean mu Uganda ng'emyaka gya 1990 giggwaako. Yaddirirwa Michael Ross eyajja mu 2002 n'ennyimba nga How Do You Love ne Sinorita. Kyokka mu 2008, abayimbi bangi beeyongera okuyimba R&B omwali Myco Chris ne Baby Joe abawangaalira mu mawanga g'ebweru. Mu balala mulimu aba Blu3, ne Aziz Azion. Baagobererwa abalala nga Nick Nola, Richy, Pallaso, Woodz ne Yoyo abaayongera ennyimba eno mu maaso.

Ennyimba z'eddiini/ez'okusinza n'okutendereza Katonda

Ennyimba z'okusinza n'okutendereza mu Uganda zaatandika na kkwaya za mu makanisa ne Eklezia kw'ossa bbandi ez'enjawulo. Zino zaali nnyo mu b'enzikiriza y'Ekirokole /Abalokole.

Abayimbi nga Fiona Mukasa eyajja mu makkati g'emyaka gya 1990 y'omu ku baasooka okukuba ennyimba z'eddiini okuzifulumya amasinzizo ne zituuka ku bantu bonna. Ennyimba zino zaalimu nnyo enkuba ey'ennyimba z'e Congo eya Soukous eyaliko mu budde obwo. Waaliwo n'ekibinja kya Limit X ekyacaaka ennyo mu budde obwo.

Oluvannyuma ennyimba za 'Gospel' zaakyukamu oluvannyuma lw'okujja kw'ebibinja nga Sauti, n'eya First Love. Abalala nga George Okudi ne Father Musaala baakuba ennyimba ezaakwatayo.

Kyokka ennyimba za Gospel, zaatandika okwegazaanya mu kisaawe ky'okuyimba mu Uganda, Judith Babirye bwe yayingirawo mu 2007. Babirye, eyayimbanga mu ngeri y'emu n'eya Mukasa, kyokka ye yafulumyanga ennyimba ez'okumukumu ate nga zonna zikwatayo omwali ne "Beera Nange".

Omulala eyadda ku Babirye ye Wilson Bugembe nga naye ennyimba ze zaasiimibwa abantu n'ayatiikirira.

Bono bazze beegattibwako abayimbi abalala nga Levixone eyayimba olwa "mbeera" ne Grace Morgan olwali olwamaanyi mu 2021.

Ennyimba za Classical

Ennyimba ez'engeri eno ntono nnyo mu Uganda,era abazitegeera okusinga bali mu kibuga ekikulu Kampala. Amatendekero g'ebyennyimba mu Kampala kuliko: Kampala Music School, MusiConnexions Uganda and Esom Music School. Newankubadde amatendekero gano tegaliimu bivuga byonna ebyetaagisa olwa ssente entono, gatendeka abantu mu by'okuyimba ebisookerwako.

Waliko okuyimba okw'Ekizungu okwayigirizibwa Bannayuganda Abaminsane we bajjira mu Uganda. Kino tekitegeeza nti nga tebajjaggya tewaaliwo kuyimba naye balina bye baayongereza ku ebyo bye baasangawo. Era ennyimba za Classical music zigenda zikula mpolampola.

Embeera y'ekisaawe ky'okuyimba

Okuyimba mu Uganda kye kimu ku bisaawe ebisinga okuba eby'omugaso mu mbeera z'abantu eza bulijjo n'okukyusa ebyenfuna by'abo abakwetabamu. Abayimbi be basinga okubeera bassereebu mu Uganda, era n'ebyo ebifulumira mu mawulire nga bikwata ku byamasanyu bisinga kubeera ku nnyimba ne ku bayimbi. Ebikwata ku bayimbi bigobererwa nnyo abaamawulire era bikola nnyo amawulire mu Uganda. Ebivvulu by'ennyimba oba okutongoa entambi z'ennyimba kye kimu ku biwagirwa ennyo Bannayuganda. Kkampuni nnyingi ziteeka ssente mu bivvulu bino okubitegeka n'okubiranga ku leediyo ne TV.

Abayimbi bakola nnyo ebivvulu kubanga batono ku bo abatunda antambi/ennyimba zaabwe ne zivaamu ssente, nga basigalira ku kya kutegeka bivvulu ne bavunamu ku ssente ze basolooza okubiyingira. Tewaliiwo kkampuni zikola nnyimba entongole era ezitera okuyitibwa kkampuni ezikola ennyimba zibeera zikulembera bayimbi kye kyokka. Eno y'ensonga lwaki abayimbi basanga obuzibu mu kufuna ssente mu nnyimba zaabwe n'okukaluubirizibwa okukola ennyimba eziri ku mutindo.

Wabaddewo ne kaweefube w'okutereeza ekisaawe ky'okuyimba okuyita mu bitongole nga ekya Uganda Performing Rights Society (UPRS), Bryan Morel Publications n'ekya Uganda Musicians Association ekizze kitegeka awaadi z'abayimbi ez'enjawulo omuli AFRIMA Awards, PAM Awards ne HiPipo Music Awards. Okufuba kw'ebibiina bino okuyambako abayimbi okufuna mu nnyimba zaabwe nga basitula etteeka ly'obwannannyini ku biyiiye omuli n'ennyimba erya copyright law kuzze kugwa butaka. Kino kikyali kimu ku bizibu abayimbi bye basanga mu nsi yonna.

Okutunda n'okutumbula ennyimba za Uganda

Okusinziira ku muwandiisi Jones, A.M (1954),ennyimba ennansi ekyali ya maanyi mu bantu ba bulijjo naddala mu byalo era agamba nti Uganda erina ebivuga ebitasangikasangika ebizze bikozesebwa ne mu nnyimba ezikolebwa ennaku zino. Kampuni ennene ezitwala abayimbi n'okubakolera ennyimba omuli eya Black Market Records n'ebitongole by'ensi yonna omuli n'ekya Singing Wells ne Selam okuva e UK nazo ziyambyeko okutumbula ennyimba za Uganda. Mu ntandikwa zaalina ekigendererwa ky'okutumbula ennyimba za hip-hop mu Uganda ne zizzaako okutendeka abakola ennyimba n'okusomesa ku tteeka lya copyright Law) okuyita mu buyambi obuva mu kitongole kya Swedish International Development Cooperation Agency (SIDA). Bano bagenderera n'okutumbula ebika by'ennyimba omuli Larakaraka okuva e Gulu, Bukusu nga kino ekika kiyimbibwa Mbale kw'ossa Kandongo Kamu nga bizze bigattibwamu enkuba ya reggae ne ragga.

Abayimbi ba Uganda okusinga bakozesezza leediyo ne TV okutumbula ennyimba zaabwe. Bangi bategese ebivvulu ate abalala bayimba ku mikolo ng'okwanjula, embaga n'obubaga obulala.

Abalala bakozesa emikutu gya yintaneeti omuli n'egya Social Media okutumbula ennyimba zaabwe era bafunyeemu ssente. Kyokka abayimbi bangi mu Uganda tebannatandika kukozesa bulungi mikitu gino okugiganyulwamu ng'abagikozesa baasinga kuzuukukira mu kiseera kya ky'omuggalo gwa Covid-19. Abayimbi nga Desire Luzinda, Navio, Iryn Namubiru, Bobi Wine, Gabriel K, Jose Chameleone n'abategesi b'ebivvulu nga Bryan Morel Publications, Promoter Musa Ivan Jay Music Promoter ne Fezah baakyusa entegeka y'ebivvulu nga baakolako n'ebyoku mutimbagano (online concerts) oluvannyuma ebyasaasaaniranga ku mikutu gya TV.

Laba na bino

Ebijuliziddwamu

Tags:

Okuyimba Mu Uganda Ennyimba ezobuwangwa obwenjawulo okusinziira ku bitundu bya Uganda ebyenjawuloOkuyimba Mu Uganda Ennyimba ezicaase ennyo ne zikola ssenteOkuyimba Mu Uganda Ennyimba za ClassicalOkuyimba Mu Uganda Embeera yekisaawe kyokuyimbaOkuyimba Mu Uganda Okutunda nokutumbula ennyimba za UgandaOkuyimba Mu Uganda Laba na binoOkuyimba Mu Uganda EbijuliziddwamuOkuyimba Mu UgandaBagandaen:Tribes

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Anita AmongEkirwadde ky’ebolaKatali kabeNakasigirwaIngrid TurinaweKookolo w’omu lubutoSophie GombyaOkuddukana n’OkusesemaSouth AfricaEbinanuuko(things that are elastic)TogoOlupapula OlusookaSayansi omwekebezzi(Imperical science)SudanPrince Wasajja KiwanukaOkuggyamu olubutoNamunigina (units)EbyamalimiroPhilly Bongole LutaayaObuwangaaliro( Environment)Jessica EjjembeGuineaNaome BagendaOlivia Aya NakitandaEbyawuziUruguayJapanOKUMEZESA ENDOKWA Z'EMITI N'OKUZIRABIRIRAWinnie KiizaKALITUNSIDorcus AcenLatviaEbirwaza(Diseases)Sheebah KarungiEkkuumiro ly'ebisoro erya Murchison FallsGirimaneEgyptLucy AkelloNsanvuOmutwe ogulumira oludda olumuEthiopiaVirgil van DijkMozambiqueAmakumi ana mu bbiriAmaanyiEkibalanguloEmbu z'EbigamboMargaret Baba DiriKasawoWinnie ByanyimaNsanyukira ekigambo kino lyricsSea of AzovEkyekebejjo (Empiricism)Spice DianaAsiaENNAKU MU SSABIITINakapiripirit (disitulikit)Jane Nabulindo Kwoba🡆 More