Sam Bagenda: Munnayuganda omuzannyi wa katemba

  Sam Bagenda, nga amanyikiddwa ennyo nga Dr.

Bbosa, (yazaalibwa nga 31 Ogwokusatu 1965), Munnayuganda nakinku mu kuzannya emizannyo era muyimbi. Yatandika emirimu gye ng'omuyimbi, oluvanyuma Bagenda yafuuka omuzannyi omumanyifu, nga yasinga okumanyika mu filimu ya Malayalam Movie Escape from Uganda ne filimu ya That's Life Mwattu. Bagenda yalondebwa nga omuzannyi wa Uganda ow'ekyasa mu 2000.

Ebimukwatako

Yazaalibwa nga 31 Ogwokusatu 1965, mu Mukono, Uganda, mu famire y'abaana bana. Kitaawe Dr. Sam Bakiranze yali musawo ne nnyina Margaret Bakiranze yali musomesa. Emisomo gye yagitandikira mu Auntie Clare and City Nursery schools. Oluvanyuma yegatta ku Kitante Primary school era n'amaliriza emisomo gye egya siniya ku Lubiri Secondary School, Kampala ne Caltek Academy Makerere. Oluvanyuma yattikirwa Diguli ey'okubiri mu by'obusuubuzi eya Bachelor of Commerce n'obwagazi mu kunoonyereza okuva mu Ssettendekero wa Makerere University. Ku luuyi olulala, yamaliriza emisomo gye egy'obubalirizi bw'ebitabo eya (CPA) okuva ku mu Kolegi ya Graffins College Kenya. Yakolako nga omubalirizi w'ebitabo emyaka emitonotono nga tannayingira mu kuzannya katemba.

Emirimu gye

Bagenda yatandika okuyimba mu Kkanisa ya Church Choir eya St. Pauls church e Mulago mu myaka gye egy'obuvubuka. Wabula oluvanyuma lw'omusuumba w'ekkanisa eyo okumugoba, yegatibwako ba mmemba abalala okuva mu kkanisa eyo n'ebasalawo okutandikawo ekibiina ky'abayimbi ekiyimba ennyimba z'eddiini ekya Sun Rose-85 mu 1985. Mu Gwekkuminebiri 1986, y'asooka kwegatta ku kibiina kya The Ebonies era neyeyongerayo n'okuyimba ng'omuyimbi w'eddoboozi eddene ng'ayambibwako omugenzi Jimmy Katumba, bayimba mu bikujjuko eby'enjawulo era oluvannyuma bafulumya oluyimba lwaabwe olw'ali oluwoomu olwa Twalina omukwano neguf. Okuyimba kwe okwali okw'amaanyi kw'ali mu Gusooka 1987 ku mukolo omukulu ogw'okuggulawo ekifo kya Bat Valley theatre.

Yakola okuzannya kwe okwasooka nga yazannya nga 'omusumba' mu muzannyo gw'okusiteegi ogwa The Dollar. Wayali atuuse ku ntikko y'okumanyika ng'omuyimbi, yasisinkana omuwandiisi era Dayilekita w'emizannyo J.W.K Ssembajwe. Mu 1993, y'azannya ekifo kya 'Dr. Sam Bbosa' mu muzannyo ogulagibwa ku Telefayina ya Uganda ogwa That's Life Mwattu. Yafuuka w'amaanyi mu mawulire oluvanyuma lw'omuzannyo ogwo gw'eyamanyika ennyo nga 'Dr. Bbosa' naddala mu bantu babulijjo.

Filimu ze yazannya

Omwaka Filimu Ekifo ky'eyazannyamu Genre Ref.
1993 That's Life Mwattu Dr. Sam Bbosa film
2013 Escape from Uganda The Mayor Malayalam Movie
Agony and Ecstasy
The Boss
Land Friends
Daisy
The Dollar
Dilemma
Bibaawo
OMG
Kyekyo

Ebijuliziddwamu

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

Tags:

Sam Bagenda EbimukwatakoSam Bagenda Emirimu gyeSam Bagenda Filimu ze yazannyaSam Bagenda EbijuliziddwamuSam Bagenda Ebijuliziddwamu ebyebweru wa WikipediyaSam BagendaYuganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

São Tomé and PríncipeSomaliaEssomampisaAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaYoweri MuseveniRwashaKampalaEMMYEZIKira, YugandaMusa EcweruYokohamaBazilio Olara-OkelloDorcus AjokKrasnoyarskDorothy HyuhaParisNakasigirwaBarbara KimenyeCatherine Odora HoppersMexicoAbu KawenjaGhanaBufalansaMowzey RadioMunnassomabibuuzo(Omufirosoofa)CayinaEKIFUMUFUMUObulwadde bw'AkafubaOKULUNDA EBYENYANJAWinnie KiizaOkuwugaEnvaOmujaajaOkubeera olubutoYei Joint Stars FCEmpewo eya kiwanukaNapooleon BonapatUganda National Cultural CentreNolweOMULULUUZAOLWEZANzikiriza ey'eNiceaJohn BlaqSamson KisekkaFarouk MiyaKandidaEthiopiaKabaka wa BugandaObulwadde bw’ekiwangaOsakaBoda-bodaCentral African RepublicObubulwaEsigalyakagoloEbyobuzimbeEKIBWANKULATAEkitookeOkuwangaala mu LugandaChristian County, KentuckyVladimir PutinAmazziLatviaKabakaEmisuwa egikalubaKadimiyaamu(Cadmium)DdaazaDemocratic Republic of CongoKisaawe ki ekisinga obunene mu Afrika?🡆 More