Lutikko Ya Rubaga

 

Lutikko Ya Rubaga
Side view of Rubaga cathedral

Saint Mary's Cathedral Rubaga, asinga okuyitibwa Rubaga Cathedral, ye Lutikko enkulu ey'Essaza Ekkulu erya Eklezia Katolika erya Kampala ( Roman Catholic Archdiocese of Kampala), era essaza erisinga obukulu mu Uganda. Kino era kye kigo ekikulu ekya Ssaabasumba w'essaza Ekkulu ery'eKampala.

W'esangibwa

Lutikko eno eri ku Kasozi Lubaga, mu Ggombolola y'eLubaga, mu Bugwanjuba bw'ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene, Kampala. Lubaga kisangibwa kkirommita nga 3 (ye mailo 1.9), ng'odda mu bugwanjuba bw'ekibuga ky'ebyobusuubuzi, Kampala. Endagiriro kw'oyinza okunoonyeza Lutikko ya Rubaga eri:0°18'09.0"N, 32°33'08.0"E (Latitude:0.302500; Longitude:32.552222).

Ebyafaayo

Kabaka Mutesa I Mukaabya Walugembe, eyali Kabaka wa Buganda owa 30, nga yafuga okuva mu 1856 okutuuka mu 1884, yalinako Olubiri lwe ku kasozi Lubaga. Omuliro bwe gwakwata olubiri lwe, Muteesa yasalawo okuva ku kasozi kano n'agenda ku lusozi Mengo. Mu 1889, mutabani we, Kabaka Mwanga II, yagaba ettaka ly'e Lubaga n'aliwa Abaminsane Abakatoliki okuva e Bufalansa aba White Fathers abaali mu kaweefube w'okutandikawo Eklezia Katolika mu Uganda, mu budde obwo. Mu 1914, Abaminsane baatandika okuzimba Klezia kati eyafuuka Lutikko ya Rubaga. Okuzimba kwaggwa mu 1925 n'etuumibwa St. Mary's Cathedral Rubaga nga 31 Ogwekkumineebiri 1925.

Ebirala

Omubiri gw'omugenzi Ssaabasumba Joseph Kiwanka (Eyazaalibwa mu Gwomukaaga 25, 1899 — n'afa mu Gwokubiri 22, 1966), nga ye yali Omusumba wa Ekereziya Katolika Omufrika era ye yali Ssaabasumba Omufirika eyasooka okuba Ssaabasumba w'Essaza Ekkulu erya Kampala, gwaziikibwa mu Lutikko eno.

Ne Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga yaziikibwa mu Lutikko y'emu mu 2021.

Laba na bino

Ebijuliziddwa

Ebijuliziddwa ebye bweru

Tags:

Lutikko Ya Rubaga WesangibwaLutikko Ya Rubaga EbyafaayoLutikko Ya Rubaga EbiralaLutikko Ya Rubaga Laba na binoLutikko Ya Rubaga EbijuliziddwaLutikko Ya Rubaga Ebijuliziddwa ebye bweruLutikko Ya Rubaga

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Eddagala lya ulcers ez'omulubutoMaltaBeti Kamya-TurwomweAlice AumaNorth MacedoniaPaidhaRussiaAmerekaDavid ObuaIrene MuloniBurundiNetherlandsKololiiniOLukalala lw'Emiramwa egy'Ekibalangulo(a List of Luganda mathematical terms)SuamOkutabula emmere y'embizziBobi WineFundamentalism (Okwesukulumya)AmuruLithuaniaSerbiaCharles Peter MayigaOkucaafuwaza AmazziNorwayGrace Kesande BataringayaJean Baptiste OkelloWaterBaltic SeaLawrence MulindwaDobraKurowVaticanJesu KristoJessica AlupoBweyogerereDenimaakaEmisuwa egikalubaNandagire Christine NdiwalanaEssomansiEkigoberero kya AkimeediziBukwo (disitulikit)James WapakhabuloShamim BangiRwandaOmwenkanonkanoKapchorwaNzikiriza ey'eNiceaSiriimuOlufungiEkiwangaaliro (Habitat)BbuulweNamirembe BitamazireAlice AlasoAbayita AbabiriAsia NakibuukaOMUNTU OMUBAKAKimwanyiEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?Vatone ( Negative ion)NnyaNigeriaHadija NamandaAmaanyi g’EnjubaObutaffaali bw'Omubiri (Body cells)PeruOkulowooza(thinking)🡆 More