Mulago National Specialised Hospital

Template:Infobox hospital Mulago National Specialised Hospital, era limanyikiddwa nga Mulago National Referral Hospital, nga kitundu ku Mulago Hospital Complex, tendekero ly'okusomesa erya Makerere University College of Health Sciences.

Ly'eddwaliro ly'olukale erisinga obunene mu Uganda.

Lisangibwa

Eddwaliro liri ku kasozi ka Mulago mu bukiika kkono bw'ekibuga Kampala,amangu ddala ebuvanjuba bwa Makerere University College of Health Sciences. Mu kuteebereza liri kilomita 5 (3 mi), ku kkubo, Obuvanjuba bw'obukiika kkono okuva mu makkati g'ekibuga Kampala. Ennamba z'obupime bw'ekifo okuli eddwaliro ziri 0°20'16.0"N, 32°34'32.0"E (Latitude:0.337786; Longitude:32.575550).

Ebirabwa ebyawamu

Eddwaliro lino wamu n'amalwaliro agaliraanyewo, amalwaliro agalina obukwatane n'amatendekero gakola Mulago Hospital Complex, ettendekero lya Makerere University College of Health Sciences. Eddwaliro likola ku bujjanjabi obusinga n'ekitundu ky'obukugu mu kulongoosa nga kwogasse obusawo bw'amanyo, okujjanjaba abayi, obujjanjabi bw'endwadde z'abaana n'abalwadde abayi ennyo.

Ebyafaayo

Eddwaliro lya Mulago omukadde lyazimbibwa mu 1913 omwami Albert Ruskin Cook. Eddwaliro lya Mulago omupya lyamalirizibwa mu 1962. Eddwaliro liyina obusobozi bwa bitanda 1,790 ebitongole, newankubadde ng'emirundi egisinga liyingiza abalwadde 3,000. Mu 2012, embalirira y'eddwaliro ey'omwaka yali Sh33.2 billion.Mu kaseera kano Mulago okuddukanyizibwa obulungi yeetaaga embalirira ekubisaamu emirundi esatu ku eno eriwo."

Mulago Hospital Complex

Mulago Hospital Complex kigambo ekikozesebwa okujuliza amalwaliro agali ku kasozi Mulago n'amatendekero g'ekisawo agali okumpi era agakwatagana agakola ng'amasomerezi ga Makerere University college of Health science. Mu mwezi gwa kafumulampawu 2020,complex eno yalina ebitanda by'eddwaliro ebiteeberezebwa okuba 1,800. Obutundutundu buno obwa complex buzingiramu bino wammanga.:

Note 1*: Infectious Diseases Institute y'emu ku bitundu bya Makerere University.

Note 2**: Uganda Cancer Institute ne Uganda Heart Institute bitongole eby'emalirirra era ebyeyawulidde ku ddwaliro lya Mulago.

Ezimu ku nsibuko ezesigika zikkaatiriza ekigambo ku bukwatane obwawamu wakati wa (a) Old Mulago Hospital (b) Mulago Women's Referral Hospital and (c) Mulago National Specialized Hospital.

Okuddaabiriza

Mu gw'ekkumi 2014, Emirimu gy'okuddaabiriza okw'amaanyi n'okuzza obugya kwatandika ku ddwaliro, major renovations and rehabilitation works commenced at the hospital, ng'ensonga yali ya kuleetawo kulongoosa mu nfaanana n'obuweereza.Gino emirimu egyateeberezebwa okumala emyezi 24, gy'emirimu gy'okuddaabiriza egikyasinze obunene bukya ekizimbe ky'eddwaliro ekya Mulago omupya (Lower Mulago) kimalirizibwa emyaka 52 egiyise.

Omulimu gwabalirirwa okumalawo obukadde bwa ddoola US$29 n'ebikozesebwa byabalirirwa okumalawo obukadde bwa ddoola US$20 (Omugatte gwa bukadde bwa ddoola US$49), ezaafunibwa okuva mu kwewola mu African Development Bank. Gavumenti ya Uganda yalina okukwatirako mu kuwaayo obukadde bwa ddoola US$9.5, ekyaweza omugatte ogw'obukadde bwa ddoola US$54.5. Ng'ekimu ku nkyukakyuka ezateekebwateekebwa, intensive care unit yagaziyizibwa okuva ku bitanda musanvu 7 okudda bitanda 41, Nga ku ebyo 27 bitanda by'abakulu 14 by'abato. Eggwanika lyagaziyizibwa okuva masa 16 okudda ku masa 160; n'omuwendo gw'obusenge omulongosezebwa ne gwongerwako okuva ku 7 okudda ku 22. Enkyukakyuka endala zizingiramu okukendeeza kw'omugatte gw'ebitanda okuva ku 1,500 okudda ku 1,000. Ku ebyo, ebitanda 900 bya lukale, ebitanda 6 byabo abeesobola, 45 bya bagagga, ne 49 bisenge bya bakungu. Wajja kubaawo okusasulira kw'empeereza, There will be a fee for service, enfaanana n'omuwendo bijja kusalibwawo akakiiko.

Mu mwezi ogw'okuttaano 2019, Akakiiko ka Uganda kakkiriza okuta obuwumbi bwa Uganda USh35.5 (obukadde bwa ddoola US$9.5) okumaliriza omulimu gw'okuddabiriza eddwaliro. Nga ku lunaku olwo, omulimu ogutannaggwa, guteeberezebwa okuba ebitundu 8 ku buli kikumi ez'omugatte. Gwazingiramu amadirisa amapya, ebyuma bya netiwaaka ebya ICT, tanka enene 6, n'okugaziya kw'enguudo mu butundutundu obukola eddwaliro. Ensimbi bwe zinaaba ziteereddwa, omulimu gusuubirwa okumala emyezi ettaano okumalibwa. Okumalibwa kusuubirwa gye bujja mu 2020

Naawe birabe.

Ebijulirwa

Emikutu egy'ebbali

Tags:

Mulago National Specialised Hospital LisangibwaMulago National Specialised Hospital Ebirabwa ebyawamuMulago National Specialised Hospital EbyafaayoMulago National Specialised Hospital Mulago Hospital ComplexMulago National Specialised Hospital OkuddaabirizaMulago National Specialised Hospital Naawe birabe.Mulago National Specialised Hospital EbijulirwaMulago National Specialised Hospital Emikutu egyebbaliMulago National Specialised HospitalYuganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Grania RubomborasLeni ShidaBarbara KaijaAmasannyalazeEryokanga n’etonyaNzikiriza ey'eNiceaKAYAYANANtungamo (disitulikit)Jesu KristoEssomampimo (Geometry)Obwongo (the Brain)MaliAngolaObubulwaAligebbulaAmaanyi g’EnjubaLumonde awusseAMALAGALAMbazziEttalo(Septic arthritis)BulgariaBelarusAmazziOBWAVU N’OKUNONNYEREZA KU BIBUFAAKO MU BYALO MU’ ENKULAAKULANA EYA NAMADDALAVilla Maria, YugandaOmulangiriziJose ChameleoneLugandaFinola HughesBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abeddaArgentinaEnsinga (Mode)Aisha SekindiKkopa (Copper)Donald TrumpKakuutoSembuya Christopher ColumbusJinjaNabulagalaEnnandaHamis KiizaJapanBwizibweraOlukangaga lw'amalwaliro mu UgandaBarbie KyagulanyiSusan Nalugwa KiguliButurukiLibyaEnsenkeTekinologiya w'Abaganda Abedda(Technology used by the ancient Baganda)Ennyanja WamalaEnsimbuMediterranean SeaEbikolwaNnamusunaLutikko ya RubagaMoroccoKampalaNigeriaBrasilEby'obutondeBukwa (disitulikit)🡆 More