Edward Rugumayo

Edward Bitanywaine Rugumayo yazaalibwa nga 18 Ogwekkumi n'ebiri munnabyabufuzi, omuteesa, omuwandiisi w'ebitabo era munnabutonde. Yaweerezaako nga Minisita mu bisanja bisatu. Okuva mu 1979 okutuuka mu 1980, Rugumayo yaweerezaako nga Ssentebe wa Uganda Legislative Council. Mu kiseera kino aweereza nga ssenkulu wa Yunivasite za Uganda bbiri. Mukugu mu byebimera era nga mukulumbeze wa bantu ba bulijjo.

Ebyafaayo

Rugumayo yazalibwa mu Kyenjojo District, kati emanyikiddwa nga Essaza lye Mwenge nga 18 Ogwekkumi ne bbiri1934.

Obuyigirize bwe

Okuva mu P.1 okutuuka mu P.4 yasomera ku Mukole Primary School mu Disitulikiti ye Kyenjojo. Oluvanyuma yasomera ku Galihuma Primary School okuva mu P5 okutuuka P6. Ku kya S1 okutuuka mu S3, yasomera ku Kabarole Junior Secondary School, ate S4 okutuuka mu S6, yasomera ku Nyakasura School, mu Fort Portal. Yaweebwa ekifo okusomera mu Yunivasite y'e Makerere mu biseera bya 1950 naye yalekulira oluvanyuma lwa Ssetendekero obutamuwa ssomo lye yali ayagala; Yaweebwa bya bulimi newankubadde yali ayagala bya kutabula ddagala. Yaweebwa sikaala okugenda okusomera mu Amerikanaye yali ammiddwa paasipooti aba Gavumenti yabafuzi b'a matwale Abagereza. wabula mu1958, yaweebwa sikaala okusomera mu Bungereza. Yasoma Dipuloma mu byenjigiriza ku Chester College, era n'oluvanyuma kuUniversity of Liverpool. Oluvanyuma yasomera ku Yunivasite y'e Bungereza gyeyattikirwa Diguli eyobukugu mu byebimera ne mu nkula y'e bisolo.

Emirimu gy'ebyobufuzi

Rugumayo yakomawo mu Uganda mu 1966, yasomesaako katono e Kyambogo nga tanneeyunga ku Yunivasite y'e Makerere ng'akulira ekisulo kya Mitchell Hall. Mu 1971, Idi Amin yakulembera okuwamba Gavumenti ya Obote. Rugumayo yalondebwa nga Minisita ow'ebyenjigiriza ng'ayambibwako mukwano gwe Wanume Kibedi, munnamateeka gwe yali yasomako naye mu Bungereza era nga mukoddomi wa Idi Amin. Kibedi yalondebwa ku BwaMinisita w'e nsonga z'ebweru. Mu Gwokubiri 1973, omwaka gumu n'emyezi munaana ku mulimu, Rugumayo yayabulira olukiiko lwa Amin; era nafuuka Minisita eyasooka okwabulira akakiiko. Yagenda mu buwang'anguse mu Nairobi, Kenya, okutuusa mu 1979, Gavumenti ya Amin's lwe yagyibwako.

Oluvannyuma lw'eggye lya Uganda National Liberation Army (UNLA) ne Uganda National Liberation Front (UNLF) okukwata obuyinza mu Kampala, nga bayambibwako eggye lya Tanzania People's Defence Force (TPDF), Rugumayo yalondebwa ku bwassentebe w'akakiiko ek'ebuuzibwako aka National Consultative Council (NCC), mu Paalamenti ey'ekiseera. Rugumayo yali musaale mu kuggyako Yusuf Lule okuva mu buyinza, Lule bwe yalemererwa okukkiriziganya n'akakiiko ku mitendera emituufu egigobererwa mu kulonda bammemba mu kakiiko ka NCC. Lule yasikizibwa Godfrey Binaisa. Mu Gwokutaano 1980, nga Rugumayo akyali mu Arusha, Tanzania, obukulembeze bwa Binaisa nabwo bwawambibwa. Mu kaseera kano Rugumayo yasigala mu buwang'anguse okutuusa mu 1992. Mu mwaka ogwo, yakomawo mu Uganda ne yeeyunga ku kibiina kya National Resistance Movement obukulembeze bwa Yoweri Museveni.

Obuweereza bwe mu byenjigiriza ne mu byobufuzi

Abaddeko mu bifo binno wammanga mu Gavumenti ya Uganda , ebitongole byensi yonna ssaako Yunivasite ez'enjawulo:

  • Nga kaliisoliiso omukulu ow'ebyasaayansi mu masomero nga bwasomesa mu tendekero ly'abasomesa erya Institute of Teacher Education, Kyambogo; nga kati kitundu ku Kyambogo Yunivasite okuva mu 1968 okutuuka mu 1969
  • Nga akulira ekisulo kya Mitchell Hall, era musomesa mu kitongole ekitendeka abasomesa, Makerere Yunivasite, okuva mu 1970 okutuuka mu1971.
  • Nga Minisita w'ebyenjigiriza okuva nu Gwomukaaga 1971 okutuuka mu Gwokubiri 1973 wansi wa Idi Amin Nga omusomesa omukulu, oluvanyuma n'afuuka Associate Professor era Diini wa School of Education mu University of Zambia, wakati wa 1973 ne 1979.
  • Nga ssentebe w'akakiiko akawabuzi aka National Consultative Council okuva mu Gwokuna, 1979 okutuusa mu Gwokutaano,1980.
  • Nga omukugu eyeebuuzibwako mu ssomo ly'obutonde bw'ensi; Okutendeka n'okuteekawo pulojekiti ya UNEP, UNDP, UNESCO, World Bank n'ebitongole eby'obwannakyewa ng'asinziira mu kibuga Nairobi.
  • As Visiting Professor of Environment at Oklahoma State University ne mu Moscow State University
  • As Chairperson of a 12-person team of consultants hired to establish the School of Environmental Studies at Moi University in Kenya, in 1989.
  • Yaweerezaako nga Visiting UNDP/UNEP Professor ow'obutonde bw'ensi mu Moi University.
  • Nga eyakulemberamu pulogulaamu ya Environment Liaison Centre International, omukago ogutaba ebitongole by'obwannakyewa mu kibuga Nairobi, okuva mu Gwomukaaga,1992 okutuuka mu Gwokutaano,1995.
  • Nga Omuwi w'amagezi omukugu ku butonde bw'ensi eri Gavumenti ya Lesotho, okuva mu Gwomusanvu, 1995 okutuuka mu Gwomusanvu, 1996, ng'omulimu guno gwamuweebwa aba United Nations Development Programme (UNDP).
  • Ye ambasada wa Uganda mu South Africa eyasooka okuva mu 1996 okutuuka mu 1999.
  • Nga Minisita w'ensonga ez'omunda okuva mu 199 okutuuka mu 2000.
  • Nga Minisita w'ebyobulambuzi, ebyobusuubuzi n'amakolero, okuva mu 2000 okutuusa mu 2005.

Mu 2005, mu kulondebwa kw'akakiiko akapya, Rugumayo yalondebwa nga ambasada wa Uganda e Bufalansa kyokka ekifo n'akigaana.

Ebirala

Rugumayo yatandikawo ekifo kya Tooro Botanical Gardens, ekitudde ku yiika 40, ekibira eky'emiti ginnansangwa. Eno ye botanical gardens yokka mu Uganda, ng'oggyeeko eya Gavumenti eya Entebbe Botanical Gardens esangibwa Entebbe, ku mbalama z'ennyanja Nalubaale. Era alina ne ffaamu omuli ente ez'amata n'ebimera eya yiika 49 ng'eno alundirayo n'enjuki.

Laba na bino

Ebijuliziddwa

Endagiriro ey'e wabweru

Tags:

Edward Rugumayo EbyafaayoEdward Rugumayo Obuyigirize bweEdward Rugumayo Emirimu gyebyobufuziEdward Rugumayo Obuweereza bwe mu byenjigiriza ne mu byobufuziEdward Rugumayo EbiralaEdward Rugumayo Laba na binoEdward Rugumayo EbijuliziddwaEdward Rugumayo Endagiriro eye wabweruEdward Rugumayo

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

OsakaEnsikiso (Pulleys)Okukoma okuzaalaAdolf HitlerJames Nsaba ButuroArgentinaBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abedda(The Great Thinkers of Ancient Buganda)TonyaZiria Tibalwa WaakoKilimanjaroEbyawuziDjiboutiRobert KayanjaSiriimuEnsibukulaOkulima ebitooke ebyomulembePallasoErinnya KabakaNakongezakikolwaOkudibaga okwakolebwa abafuzi b'amatwale(the distortions of colonialism)RomeEkirwadde kya CholeraKakiriOKULUNDA EBYENYANJAAmelia KyambaddeKakiraMooskoCatherine BamugemereireEnnima ey'obutondeKololiini91.3 Capital FMSenzito(Metric Tons)EssomabuzaaleThe mithCayinaObuwangaaliro( Environment)OLUBUTO OKWESIBAWinnie KiizaOkulambika ebirowoozo(Inductive reasoning)SenegalSwiidenImmaculate AkelloOmunyanyaAkafubaEkyekebejjo (Empiricism)Alfonse Owiny-DolloOmusujja gw'ensiriVladimir PutinJovanice TwinobusingyeBukiikakkonoBeninYoweri MuseveniMusanvuMolly Nawe KamukamaBobi WineWalifu y'OlugandaEnkokoBarbie KyagulanyiSão Tomé and Príncipe🡆 More