Amelia Kyambadde: Munnayuganda era munnabyabufuzi

Amelia Anne Kyambadde munnabyabufuzi mu Uganda.

Yaliko Minisita w’Ebyobusuubuzi, Amakolero n’Ebibiina by’obwegassi mu Gavumenti ya Uganda. Yalondebwa ku bukulu obwo nga 6 Ogwomukaaga 2016. Yaweerezaako nga Minisita w’Ebyobusuubuzi n’Amakolero wakati wa 27 Ogwokutaano 2011 ne nga 6 Ogwomukaaga 2016 .Yalya ekifo kino ng’asikira Kahinda Otafiire, ayali alondeddwa nga Minisita w’ebyamateeka ne Ssemateeka. Amelia Kyambadde yaliko omubaka mu Paalamenti ya Uganda wakati wa 2011 ne 2021 ng'akiikirira abantu b’omu bukiikakkono bw’essaza ly’e Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi.

Amelia Kyambadde
Amelia Kyambadde


Ebyafaayo

Yazaalibwa mu mwezi Gwomukaaga 1955, nga kitaawe ye mugenzi Serwano K. Kulubya ne nnyina ye Mary Kafureka, mu kitundu ekiyitibwa Guildford, Surrey, e Bungereza. Eyo gye yaggyibwa okudda e Uganda, mu 1959, nga wa myaka ena egy’obukulu.

Obuyigirize

Yatandikira okusoma kwe ku Gayaza Primary School mu Disitulikiti y’e Wakiso, Ssekendule yagisomera ku Sacred Heart High School mu Disitulikiti y’e Gulu. Oluvannyuma lwa ssekendule yeegatta ku Aga Khan School of Secretarial Studies e Nairobi- Kenya. Amelia Kyambadde alina ddiguli esooka mu by’okuddukanya ebyenfuna (Bachelor of Business Administration), okuva ku Ssettendekero Makerere ( Makerere University),Ssettendekero asinga obukadde mu Uganda anti yatandika mu mwaka 1922. Amelia alina ne ddiguli ey’eddaala eryokubiri mu byenfuna(Master of Business Administration), gye yafunira ku Ssettendekero wa American InterContinental University e London, mu Bungereza.

Gy’akoledde

Yatandika okuweereza nga omukozi wa gavumenti ya Uganda mu 1979, nga wa myaka amakumi abiri mu ena (24).Yalinnyisibwa eddaala n’afuuka omuwandiisi w’Omukulembeze w’eggwanga ow’ekyama mu mwaka 2010; Oluvannyuma yasalawo n’alekulira ekifo ekyo nga aluubirira okwesimbawo ku kifo ky’omubaka akiikirira abantu b’omu Bukiikakkono bw’essaza ly’e Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi. Mu kulonda kwa Uganda okwa bonna okwaliwo mu 2011, Amelia yawangula ekifo ekyo era nga na kati y’akirimu. Nga ennaku z’omwezi 27 Ogwokusatu 2011, yalondebwa okuweereza eggwanga nga Minisita w’ebyobusuubuzi n’amakolero.Ate nga 6 Ogwomukaaga 2016 yalondebwa okubeera, Minisita w’Ebyobusuubuzi, Amakolero n’ebibiina by’Obwegassi.

Ebimukwatako

Amelia Anne Kyambadde ali mukyala wa Wilson Kyambadde era nga baafumbiriganwa nga 1976. Balina ezzadde lya baana bataano. Ye muyima era omutandisi w’ekitongole ky’obwannakyewa ekiyitibwa Twezimbe Development Foundation (TDF), ekyabangibwawo okukulaakulanya abantu b’ekitundu ky’akiikirira.

Ebijuliziddwamu

Tags:

Amelia Kyambadde EbyafaayoAmelia Kyambadde ObuyigirizeAmelia Kyambadde Gy’akoleddeAmelia Kyambadde EbimukwatakoAmelia Kyambadde EbijuliziddwamuAmelia Kyambadde

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

AngolaEntry InhibitorSylvia OworiIngrid TurinaweENKOKO ENNANSI EREETA AMAGOBACatherine BamugemereireRema NamakulaEntababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)Molly Nawe KamukamaEmpewo eya kiwanukaBoda-bodaBurkina FasoSandra SuubiOlukangaga lw'amalwaliro mu UgandaHanifa NabukeeraGreat BritainEnglish to lugandaCentral African RepublicNolweMariam NajjembaOBWAVU N’OKUNONNYEREZA KU BIBUFAAKO MU BYALO MU’ ENKULAAKULANA EYA NAMADDALAENTOBAZI N’EMIRIMU, N’EMIGASO GYAAZOOLUBUTO OKWESIBABrooks County, GeorgiaSouth AfricaObusannyalazo(Electrons)OmwololaMiria MatembeOkukola ebintu ebipya okuva mu biralaSsekabaka Mutesa IIBacon County, GeorgiaOmusujja gw'ensiriBulgariaThe concepts necessary for Luganda discourse on instincts(Engerekera)Entababimira (vegetation)Eby'obutondeMediterranean SeaDenimaakaNzikiriza y'AbatumeOlutiko (Mashroom)Kibalirampuyibbiri(Integers)KabakaJesca AbabikuBelarusAgnes NandutuGhanaEnjubaRwandaEbyawuziLumonde awusseEmbeera z'Obuntu(Human emotions)Franc KamugyishaMichael Ezra🡆 More