Desire Luzinda

   Desire Luzinda muyimbi wa Uganda abeera mu Amerika akwata ennyimba, omuyimbi, omuzirakisa, era omutandisi wa Desire Luzinda Foundation International (DLFI) eyatandikibwawo nga June 5, 2021.

Nga yegomba abayimbi nga [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Mariah_Carey Mariah Carey] ne [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Whitney_Houston Whitney Houston], Desire Luzinda kye kifaananyi ekisikiriza mu bantu ennaku zino. Luzinda ayimba mu Luganda, Olungereza, [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Swahili_language n'oluswayiri] .

Obulamu obuto

Yazaalibwa Racheal Desire Luzinda nga 15 August 1980 mu ddwaaliro e Mulago Referral [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Hospital Hospital], Desire Luzinda yakuzibwa bazadde be omwami n'omukyala Luzinda mu Uganda..Taata wa Desire Luzinda yasoma era yali Minisita wa Kabineti ku mulembe gwa Amin era nga yali memba wa Legislature mu makkati g’emyaka gya 90.

Okusoma

Desire Luzinda yasoma Pulayimale ku Buganda Road okuva ku kibiina ekisooka okutuuka mu ky'omusanvu. Oluvannyuma yeegatta ku Omega College ne Makerere High School okusoma A-level.

Desire Luzinda yeewandiisa mu diguli ey’enfuna n'eby’enkulaakulana mu yunivasite y’e Makerere n’akoma mu mwaka ogwokubiri oluvannyuma lwebiseera bye ebisinga okutwalibwa omulimu gwe ogw'okuyimba.

Mu 2020, Desire Luzinda yatikkirwa ng’omuyambi w’abasawo mu ssomero ly’abakulu erya San Leandro Adult School mu California.

Omulimu gwa leediyo ne ttivvi

Desire Luzinda yakola nga omuwereza ku WBS TV okuva 2005 okutuuka 2007.

Oluvannyuma Desire yeegatta ku Dembe FM gye yakolera pulogulaamu y’okuvuga akawungeezi ne Kasuku, Mayende, ne Orlando okuva February paka October 2011 mu Uganda Kampala.

Desire Luzinda maama w’omwana omu, ‘Michelle Heather Kaddu’ eyazaalibwa nga 1 July 2004. Michelle yazaalibwa Uganda era abeera [./Https://en.wikipedia.org/wiki/California California], Amerika era gy’asomera.

Desire Luzinda yateeka omulimu gwe ogw’okuyimba ku nninga asobole okuwa muwala we ebirowoozo bye byonna n’okussa essira ku kukula kwe.

Omulimu gw’okuyimba

Olugendo lwa Desire Luzinda olw'okuyimba Afrobeat Pop lwatandika nga amaliriza siniya. Yagenda ku Fenon events n’akwata oluyimba lwe olwasooka ‘Nakowa Emikwano’ mu 2006.

Ku Lwokutaano nga 13 June 2008, Desire Luzinda yatongoza EP ya Nkomyewo eyasooka ku Hotel Africana wamu n'abayimbi nga K-Lyinn (Tanzania), Juliana Kanyomozi, Bebe Cool, Bobi Wine, Blu*3, Jose Chameleone, Sarah Zawedde, Obsessions, ne Qute Kaye .

Munyimba ze endaala ze yasooka okufulumya mulimu Mubite, Nyumirwa Nyo, Anything For You, Ddobo, Buliwendi, Sigala Nange (Ft. D-BLACK), Lwaki, Tononya (Ft. Radio & Weasel ) , Nkyomyewo, Nina Omwami, Equation, Fitting ( Ft. Radio & Weasel ) ne Kitone .

Nga 9 October 2013, Desire yayimba mu Berlin, Germany, Holland (Netherlands), n'amawanga amalala ag'omuliraano mu bivvulu by'ameefuga wamu ne Coco Finger.

Nga 6 June 2014, Desire yategeka ekivvulu kye eky’okuyimba ekya VIP ekyasooka ku Kampala Serena Hotel ekyatuumibwa ‘Black and White’ [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Concert konsati] . Ekitundu ku nsimbi ezaava mu kivulu zawebwayo mu kuwagira bamalayika abato mu Ibanda Babies Home . Yakolagana ne kkampuni za KFM, NBS TV, Power Horse, Face TV, Silk Events, ne Dembe FM okulaba nga kino kituuse ku buwanguzi.

Nga 13 September 2014, Desire yayimba mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Convention_(meeting) lukuŋŋaana olunene] [./Https://en.wikipedia.org/wiki/United_Kingdom olwali mu Bungereza] (United Kingdom convention). Ekivvulu kino ekyatuumibwa ‘UK-Ugandan Affair’ kyalimu abayimbi abanayuganda abalala nga Judith Babirye ne Ronald Mayinja ku Troxy Arena e [./Https://en.wikipedia.org/wiki/London London] .

Mu November 2014, Desire Luzinda yakyazibwa ku pulogulaamu ya Sporah [./Https://en.wikipedia.org/wiki/TV_show TV show] . Emboozi eno yatabulizibwa ku kuzaala kwa kwa Desire Luzinda, emiziki, n'ebivvulu mu nsi yonna.

Nga 10 March 2015, Desire Luzinda yayimba mu Congo Brazzaville gye yatambulira ne bbandi ye eya assemble okusanyusa abawagizi be abaava mu mawanga ag'enjjawulo nga basinziira mu Congo.

Nga 3 September 2016, Desire Luzinda yayimbira abawagizi be ab'e South Afrika mu mpaka z'okugaba engule za Starqt Awards ez'omulundi ogw'okusatu ezaali ku Legislature City Hall mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Johannesburg Johannesburg] South Africa .

Nga 8 December 2017 Desire yayimba ng’omu ku bakulu mu mpaka za The Abryanz Style and Fashion Awards 2017 ku Kampala Serena Hotel nga omulamwa gwatumibwa Fashion Takeover, okujjaguza bizinensi n'obusobozi bw’okutandikawo emirimu mu misono jyokwambala mu Afrika . Omukolo guno gwategekebwa Nana Akua era gwafulumizibwa omuyimbi wa South Afrika [./Https://en.wikipedia.org/wiki/David_Tlale David Tlale] wamu n’abayimbi [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Mafikizolo Mafikizolo], Eddy Kenzo, ne Sheebah Karungi .

Nga 3 August 2018, Desire Luzinda yategeka omukolo gw'okutongoza Transition Album Launch ku Sky Lounge mu Kampala . Desire Luzinda yagamba nti mu kaweefube w’okukyusa obulamu bwe, kyamutwalira emyaka esatu okusalawo okufuuka [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Christian Omukiriza] eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri .

'Transition' yali 17 [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Music_track track] ya LP eyaliko enyimba nga Onkolela,Stood In The Gap, Lwakisa, Maanyi Gamukyala, Kale, Love Yo, Kimala, What a Man, Kiwujjo, Nyo Nyo Dala, Be There, Ziba Ziba, Ondeka, Never Let You Go, Nkwasaganya, Damn (Ft Choozen Blood) ne Pocket Money . ‘Transition’ esangibwa ku mikutu nga [./Https://en.wikipedia.org/wiki/ITunes iTunes], [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Apple_Music Apple Music], [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Amazon_(company) Amazon], [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Spotify Spotify], Shazam, [./Https://en.wikipedia.org/wiki/YouTube YouTube], [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Deezer Deezer], [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Napster Napster], ne BoomPlay Music.

Nga 5 June 2021 mu kutongoza [./Https://en.wikipedia.org/wiki/NGO ekibiina kye eky’obwannakyewa,] Desire Luzinda yayimba ne bbandi ya 6 piece. Yali amaze emyaka mingi nga tayimbira bawagizi be abanansi. Omukolo guno gwategekebwa era ne gulangibwa ekitongole kya Bryan Morel Publications. Ekikivulu kino kyakolebwa aba [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Fenon_events Fenon events] era akawungeezi ka [./Https://en.wikipedia.org/wiki/VIP VIP] ak'egombebwa kaletera abagenyi okwewuunya amataala [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Sound n’amaloboozi] ekyaleretera omukolo guno okuwulikika nga [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Corporate ogwebeeyi] (corporate) .

Desire Luzinda yayimba ennyimba ezitendereza mukama nga Imela olwa Nathaniel Basset ne Enitan Adaba, Never Give Up olwa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Tasha_Cobbs Tasha Cobbs] Leonard, Because He Lives olwa Gaither Vocal Band, ne Guy Penrod, Grace/ Call me Favor olwa Deborah Lukalu.

Abamu kubaliwo ku mukolo guno mwalimu Omutume Grace Lubega owa Phaneroo Ministries, Owek. Amelia Kyambadde, Owek. Miria Matembe, Omusumba Edwin Musiime, Owek. Nyeko Derick, mu bantu abalala ab’amaanyi.

Okusoomoozebwa

Nga 11 November 2014, Desire Luzinda yabuuzibwa omusasi wa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/BBC BBC] omunayuganda, Catherine Byaruhanga oluvannyuma lw’emivuyo ejjabalukawo nga eyali muganzi wa Desire Luzinda afulumiza ebifaananyi bye eby’ekyama. Kyali kiseera kya kugezesa. Engeri Desire Luzinda gye yakuumira omutwe gwe waggulu n’asobola okuyita mumbeera eno ky’amufuula eky'okulabirako eri bangi. Desire Luzinda yakakasizza ku BBC nti bannamateeka be baali batunula mu nkola z’amateeka mu kiseera ekyo.

Ebituukiddwaako

Desire Luzinda alina engule, satifikeeti, n’okusiimibwa okuzingiramu okuyimba n’obuzirakisa omuli; • HiPipo Music Awards Best Reggae song 2014 NOD • Engule y’omuyimbi w’omwaka mu mpaka za African Crown Music Awards 2016 mu Sweden. • Engule za Abryanz Style and Fashion Awards - Omuyimbi Omukyala Asinga Omusono 2016 • Engule za PAM - Omuyimbi Omupya Asinga 2007 • Engule za PAM - Omuyimbi Omukyala Asinga 2007 • Engule za PAM - Omuyimbi Asinga [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Afrobeat Afrobeat] Single (Nyumirwa Nyo) 2008 • Oluyimba lwa Desire Luzinda olwa Kitone lwatuumibwa mu ngule za [./Https://en.wikipedia.org/wiki/MTN_Uganda MTN] CallerTunez 2017 Yasasulwa olw’emirimu gye, omuli oluyimba olukyasinze okuwanulibwa ku mutimbagano gwa MTN.

Obuzirakisa n’emirimu gy’obulamu

Desire Luzinda ali mu kulwanirira obwenkanyanya n'eddembe. Y’omu ku bayimbi abakyala abatono ababadde balwanirira mu lwatu eddembe ly’abakyala n’obulamu bw’omu nsonga.

Yatandika emirimu gye egy’obwannakyewa mu 2013 ng’ayambako abaana abataliiko mwasirizi ku Uplift A child mu Lungujja Kampala, Ibanda Babies Home, n’emirimu emirala mingi gye yategekera okukung’aanya n’okuwaayo ebintu ng’ebikozesebwa mu masomero, ebitanda n’emmere mu kifo kino ekya bamulekwa.

Abawala, ebiruubirirwa n'okutulugunyizibwa ku mikutu gya yintaneeti

Okusinzira kubywafaayo Desire Luzinda byeyalina n'okutulugunyizibwa ku mikutu gya yintaneeti ng'omuntu omututunufu, yatandika okukozesa olugero lwe okuyamba abavubuka okusalawo obulungi nga bagoberera ebilooto byabwe.Yayita mu kampeyini ya Girls and Goals jyeyakulembera mu 2018 okulwanisa obukyaayi n'obunakuwavu obuva mu puleesa za bawala okwenyumiririzaamu.

Kati ng’asinziira mu California mu Amerika, Desire Luzinda akozesa ettutumu n’obuwanguzi bwe okugaziya omusingi gwe ogw’obuzirakisa n’obw’ekitiibwa. Ku Lwomukaaga nga 5 June 2021 Desire Luzinda yalinnya ennyonyi n’adda mu Uganda n’atongoza ekibiina kye eky’obwannakyewa ekya Desire Luzinda Foundation International (DLFI) mu kijjulo kyaba VIP ku Kampala Serena Hotel ekyaliko abagenyi abasoba mu 500.

Desire yakiffula kyanono okujjyaguza amazaalibwa ge nabo abataliiko bwasirizi. Nga 16 August 2021, Desire Luzinda, ngayita mu DLFI yakolagana ne Hairby Zziwa Salon ne Academy okubalasa enviiri wamu nokulya ekyemisana okujjaguza omwaka omulala ogwa Desire Luzinda omukulembeze waabwe.

Ekigendererwa ky’omusingi guno kwe kusikiriza ensimbi ezisobola okuwangaala, eziteeberezebwa, okwanguyiza enkola y’okukkiriza obuyambi obw’obuzirakisa okuva mu mikwano, ab’omu maka, n’abaagala ebirungi okwetoloola ensi yonna. Omusingi guno gukolagana n’ebitundu ebirala nga guyita mu pulojekiti z'eby’enjigiriza, okweyimirizaawo, ebyobulimi, n’okuwanyisiganya eby’obuwangwa.

Emikutu gy’amawulire egy’ensi yonna okufaayo

Nga 10 June 2021, Desire Luzinda yabuulira ebizibu by'eyayitamu n'obuseegu obw'okwesasuza ku BBC World Service, omukutu gwa gavumenti ogusinga mu nsi yonna omuli BBC News Africa, [./Https://en.wikipedia.org/wiki/BBC_One BBC One] omukutu ogusinga okulabibwa mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/UK Bungereza], n'empeereza y'abavubuka eyasooka ku yintaneeti yokka, [./Https://en.wikipedia.org/wiki/BBC_Three BBC Three] .

Ng'alabikira ku BBC News Africa World Service's The Comb, Desire Luzinda yayogera n'omuwereza wa BBC omuswayili, Isaac Mumena era namutegeeza entuuko ye empya nga bweyava mu bisomozebwa okungi kw'eyayitamu, <<

Ebiwandiiko ebikozesebwa

Tags:

Desire Luzinda Obulamu obutoDesire Luzinda OkusomaDesire Luzinda Omulimu gwa leediyo ne ttivviDesire Luzinda Omulimu gw’okuyimbaDesire Luzinda OkusoomoozebwaDesire Luzinda EbituukiddwaakoDesire Luzinda Obuzirakisa n’emirimu gy’obulamuDesire Luzinda Abawala, ebiruubirirwa nokutulugunyizibwa ku mikutu gya yintaneetiDesire Luzinda Emikutu gy’amawulire egy’ensi yonna okufaayoDesire Luzinda Ebiwandiiko ebikozesebwaDesire Luzinda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Gavi (footballer)Entababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)Ennima ey'obutondeAmelia KyambaddeGhanaAchia RemegioForceBuliisa (disitulikit)Irene Ovonji-OdidaObuufu oba Obuyitiro (Mathematical Locus)Engozo n'Engolo(Cams and Cranks)EkimuliMaliPowell County, KentuckyJames OnenAluminiyamuEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?PeruNakongezakikolwaEmbu z'AmannyaAmasoboza ag'amasannyalazeMuwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaEkirwadde ky’ebolaRosemary SenindeKibwankulataConcepciónJoan KageziDonald TrumpENIMAWALuandaTororo (disitulikit)Democratic Republic of CongoLugajambula (Predator)OmuyembeFrancis ZaakeChileMulyangogumuTtiimu ya Vipers SCJuliana KanyomoziOmwoloolaOkulamusaEddagala erigema olukusenseLiberiyaCzechiaEMMYEZILwaki Tukuuma Obuwangaaliro bwaffe(Why we should Protetct our Emvironment)LithueeniaOMUGASOAmakumi ataanoAmerikaManafwa (disitulikit)Kazannyirizi(Character)SiriimuObulwadde bw'Obutalaba biri walaKayunga (disitulikit)EnkokoKookolo w’omu lubutoPalabek KalMasakaBelarusParisAlice Komuhangi KhaukhaOkukola obulimiro obutono🡆 More