Edith Sempala

  Edith Grace Sempala abasinga gwebatera okuyita Edith Bafakulera, munayuganda akola obwa yinginiya, mukoze wa gavumenti, mukungu ng'ate munabyabufuzi alwanirira eddembe ly'abantu, ng'awereza ng'akulira era omuwi w'amagezi mu baanka y'ensi yonna okuva mu mwaka gwa 2008.

Abadde awereza ng'akiikirira Uganda mu mawanga ag'obuzinga obusingaanibwa mubukiika ddyo bw'ensi okuli Denmark, Finland, Iceland, Norway ne Sweden, nga kuno kw'oteeka amalala gy'abadde nga Amerika, ekibiina ekigata amawanga g'okulukalo lwa Afrika, Ethiopia ne Djibouti.

Ebimukwatako ng'eby'enjigiriza

Yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 28 mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 1953 mu Namutamba, ng'enaku zino gyebayita disitulikiti y'e Mityana mu bitundu by'amasekati gw'eggwanga lya Uganda.Yasomera Namutamba Demonstration School mu by'emisomo gye ebyasooka oba egya pulayimale. Yagenda ku Gayaza High School, ng'eno gyeyatuulira S.4 , gyeyava okugenda ku Nabumali High School gyeyamalira S.6.Mu mwaka gwa 1973, yagenda kutendekero lya she entered Peoples' Friendship University mu ggwanga lya Russia, ng'ebiseera eby' baali bagiyita yunivasite ya Lumumba, ng'eno gyeyatikirwa ne diguli mu bya saayaansi, ne diguli ey'okubiri eya saayaansi mu bya yinginiya, ng'emisomo gye yagimaliriza mu mwaka gwa 1979.

Emirimu gye

Oluvannyuma lw'emisomo gye mu biseera ebyo gyebaayita nga Soviet Union yamala emyaka musanvu (1979 to 1986), mu ggwanga lya Sweden, ng'omunoonyi w'obubuddamu. Mu mwaka gwa 1986, oluvannyuma lw'enkyuka kyuka mu gavumenti mu Kampala, yatuumibwa omubaka wa Uganda mu mawanga g'ebizinga ebiri mu bukiika ddyo bw'ensi, ng'asinziira mu kibuga Copenhagen, eky'eggwanga lya Denmark,gyeyaweerereza okumala emyaka 10. Mu mwaka gwa 1996, yatuumibwa omubaka wa Uganda mu ggwanga lya Ameriak, ng'asinziira mu Washington DC. Yawereza eyo okumala emyaka 10. Mu mwaka gwa 2006, yatuumibwa okubeera omubaka wa Uganda mu kibiina ekigata amawanga ga semazinga wa Afrika, ng'amakanda agatadde mu kibuga Addis Ababa,eky'eggwanga lya Ethiopia. Yali aweereza ng'omubaka wa Ethiopia ne Djibouti. Yaweerza mu kifo kino okuva mu mwaka gwa 2006, okutuusa ogwa 2008. Mu mwaka gwa 2008, yeegata ku baanka y'ensi yonna ng'eyali akulira eby'emirimu, ng'era eyali atwala abawi b'amagezi, ensonga z'ensi yonna, ofiisi ya baanka y'ensi yonna ey'omumyuka wa pulezidenti avunaanyizibwa ku by'ensonga z'ebweru w'eggwanga. Mu mwaka gwa 2015, yatuumibwa omuwandiisi ow'ekitongole ky'amawanga amagate, okuwereza ku kibiinja ky'abawi b'amagezi abeekaanya enzimba ey'emirembe.

Obulamu bwe ng'omuntu

Edith Grace Sempala yafumbirwa Patrick Ssempala, nga wadde babadde baayawukana okuva mu mwaka gwa 1996, ng'abadde ayagala baawukane mu mateeka. Edith maama era ng'alina abaana basatu.

Laba ne bino

Tags:

Edith Sempala Ebimukwatako ngebyenjigirizaEdith Sempala Emirimu gyeEdith Sempala Obulamu bwe ngomuntuEdith Sempala Laba ne binoEdith Sempalaen:African Unionen:Civil engineeren:Civil servanten:Diplomaten:Djiboutien:Ethiopiaen:Nordic countriesen:Political activisten:United Statesen:World Bank

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Amelia KyambaddeAsia NakibuukaIbrahim Ssemujju NgandaKokeyiniEmbu z'AmannyaEnzikuEkikyusatomu (atomic reaction)KikagatiEthiopiaBebe CoolAkeyeeyoSpecioza KazibweNegatiivu (negative)OlujjuliroEsigalyakagoloKisaawe ki ekisinga obunene mu Afrika?SpainOmuntuVatomu(ion)Fernando AlonsoRadio MuhaburaObulwa bw’Akalulwe (Pancreatitis)BuyonaaniKalooli Ddawano (Charles Darwin )EbyamalimiroShamim BangiEMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIREPichilemuEmiramwa egisookerwako mu Luganda Olwa SayansiChina KeitetsiLithuaniaRadio West (Uganda)North AmericaAngela KaluleChristine OndoaSierra LeoneWadelaiAmambuluggaKikumiOMUGASOYisaaka NetoniLutikko ya RubagaRio de JaneiroDenimaakaEnnyanja MwitanzigeNicholas WadadaYuganda2Kkanisa ya Yeso EyannamaddalaEssomampimo (Geometry)Spencer NakacwaEssomampisaWinnie NanyondoYitaleGaetano KagwaSuam, YugandaObunyukufu(Literacy)David OttiOmusuja gw’enkaka (Yellow fever)🡆 More