Nicholas Wadada

Nicholas Wadada Wakiro yazaalibwa nga 27, mu Gwomusanvu mu 1994 nga munayuganda zannya omupiira gw'ensiimbi ng'omuzibizi ku ludda lwa ddyo mu Azam F.C.

Nicholas Wadada
colspan="4" class="duhoc-lg infobox-header" style="background-color:
  1. b0c4de; line-height: 1.5em" |Ebimukwatako
Amannya ge mu bujuvu

Nicholas Wadada Wakiro

Enaku z'omwezi zeyazaalibwamu Nga 27 Ogwomusanvu, mu 1994 (ng'alina emyaka 29)
Ekifo gyeyazaalibwa Lugazi, Mu Uganda
Obuwanvu bwe

1.64 m (5 ft 5 in)

Ekifo ky'azannya Ng'omuzibizi ku ludda lwa ddyo
colspan="4" class="duhoc-lg infobox-header" style="background-color:
  1. b0c4de; line-height: 1.5em" |Ebikwata ku ttiimu
Ttiimu gy'amu kati

Azam

Enamba gy'ayambala

14

colspan="4" class="duhoc-lg infobox-header" style="background-color:
  1. b0c4de; line-height: 1.5em" |Ku ttiimu enkulu
Omwaka Ttiimu Emiriundu gy'abazannyidde Ggoolo z'ateebye
2010–2013

Bunamwaya FC

2013–2018

Vipers SC

2018–

Azam

colspan="4" class="duhoc-lg infobox-header" style="background-color:
  1. b0c4de; line-height: 1.5em" |Ku ttiimu y'eggwanga
2013–

Uganda

36

(4)

2013

Uganda U23

2

(0)

2012

Uganda U20

6

(0)

2012–

Uganda

51

(1)

Emipiira gy'azannye ne ggoolo z'ateebye mu kiraabu mu liigi y'eggwanga.

Emipiira gy'azannyidde ttiimu y'eggwanga ne ggoolo z'ateebye, zikungaaniziddwa okuva nga 10:20 nga 15 Ogwomunaana mu 2019 (UTC)

Emirimu mu kiraabu

Ng'atandika emirimu gye

Wadada yatandika okusamba omupiira ng'azannya omupiira gw'avubuka ng'alina emyaka 13 ne Lukuli United mu 2007. Oluvannyuma yeegata ku St. Mary's Kitende mu 2010 nga mu mwaka gwegumu, yeegata ku kiraabu ya supera liigi ya Uganda Bunamwaya FC (kati eyitibwa Vipers SC).

Kiraabu ya Bunamwaya FC

Wadada yeegata ku Bunamwaya FC mu 2010, nga ku myaka 16 years, yeeyali omusambi eyali ayambako mu kuzibira mu kifo ky'oludda lwa ddyo mu mipiira emitono tono mu sizoni eyo

IMu sizoni ya 2011–12 Wadada yafuuka omusambi eyasamba buli mupiira, ng'era yali omu ku ttiimu eyakwata eky'okubiri mu liigi ya Uganda eyababinywera eya 2011–12.

Mu 2012–13 Wadada yazannya emipiira 20 egya liigi nga Bunamwaya emalira mu kifo eky'okusatu mu liigi ya Uganda eyababinywera.

Kiraabu ya Vipers SC

Mu sizoni ya 2013–14 kiraabu ye Bunamwaya FC yakyusa erinya neyitibwa Vipers SC. Wadada yakuuma ekifo kye eky'okutandika mu ttiimu, nga wadde Vipers SC fyamalira mu kifo kya kuna. Yatandika u mipiira 32 ng'ateebye ggoolo 3.

Mu 2014–15 Wadada ng'alina emyaka 20 gyokka, yafuuka omusambi eyeesigamwako, nga yazannya omulimu munene nnyo nga bawangula liigi ya Uagnda eyababinywera.Yazannya emipiira 30, n'ateeberamu ggoolo 4.

Mu 2015–16, Wadada yafuuka kapiteeni wa Vipers SC, n'awangula Uganda Cup mu sizoni eyo oluvannyuma lw'okuwangula Onduparaka FC mu fayinolo. Yazannya emipiira 34 ng'ateebye ggoolo 2.

Mu 2016–17, Wadada yeeyali kapiteeni wa ttiimu ya Vipers SC eyazannya CAF Confederation Cup nga battunka ne Platinum Stars ey'e South Afrika. Kiraabu ye yamalira mu kyakusatu mu liigi y'ababinywera. Yazannya emipiira 35,ng'ateebye ggoolo 2.

Mu 2017–18, Wadada yasitula ekikopo kya liigi yababinywera ne Vipers SC,ekikopo kye eky'okubiri nga kapiteeni. Yazannya emipiira 36, baamaliriza mu kifo kya kubiri mu Uganda Cup.

Kiraabu ya Azam

Mu 2018 Ogwomukaaga, Wadada yateeka omukono kundagaano ne kiraabu y'e Tanzania Azam F.C.

Emirimu gye ku ttiimu y'eggwanga

Ng'akyali muvubuka

Nicolas Wadada yayitibwa omulundi ogwali gusooka ku ttiimu ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 20 eyitibwa ''The Hippos'' mu 2012 mu z'okusunsula ttiimu z'amawanga ga Afrika ez'abali wansi w'emyaka 20. Yazannya emipiira ebbiri nga battunka ne Mozambique. Mu mpaka zezimu yazannya nemugwebaakuba Ghana 3-1 mu Kampala mu luzannya olwali lusooka. Yatandika ne mugw'okudingana mu Ghana.

Mu 2013, yazannya emipiira ebbiri ku ttiimu ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 23.

Ku ttiimu enkulu

Wadada yayfuna okuyitibwakwe okwali kusooka ku ttiimu enkulu okuva ewa Bobby Williamson eyli omutendesi wa Cranes mu 2013. Yali omu kubasambi abaali ku ttiimu ya Cranes eyawangula ekikopo ekyetabibwamu amawanga okuva mu Buvanjuba ne mu masekati ga Afrika mu 2013.

Wadada yali omu kubasambi 23 abaasobola okugenda mu ezeetabibwamu amawanga okuva kulukalo lwa Afrika mu 2017 mu Gabon. Yatandika omupiira gunu, ng'ogwa Misiri yava ku katebe.

Yazannya emipiira gyonna omukaaga mu 2018 mu z'okusunsula Habaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna nga battunka ne Misiri, Ghana ne Republic of the Congo.

Wadada yateeba mu mupiira nga battunka ne Niger nga 2 Ogwomukaaga mu 2018 webaali mu mpaka ez'etabibwamu amawanga 3 (Three Nation Tournament) mu Niamey.

Ebibalo bye ku ttiimu gy'azze azannyira

Template:Updated

Emirundi gy'azannyidde ttiimu y'eggwanga ne ggoolo z'ateebye wamu n'omwaka
Ttiimu y'eggwanga Omwaka Emirundi gy'azannye Ggoolo z'ateebye
Uganda 2012 3 0
2013 9 0
2014 4 0
2015 0 0
2016 6 0
2017 15 1
2018 11 0
2019 3 0
Omugatte 51 1

Engule z'awangudde

Mu kiraabu ya Vipers SC

Ku ttiimu ya Uganda

  • Ekikopo ky'empaka eziwakanirwamu amawanga okuva mu Buvanjuba ne mu masekati ga Afrika mu 2013 ne 2016

Ebijuliriziddwa

Ewalala gy'oyinza okubigya

Template:Uganda squad 2017 Africa Cup of Nations

Tags:

Nicholas Wadada Emirimu mu kiraabuNicholas Wadada Emirimu gye ku ttiimu yeggwangaNicholas Wadada Ebibalo bye ku ttiimu gyazze azannyiraNicholas Wadada Engule zawanguddeNicholas Wadada EbijuliriziddwaNicholas Wadada Ewalala gyoyinza okubigyaNicholas Wadadaen:Association footballen:Azam F.C.en:Right-backen:Uganda national football team

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Obulwadde bw’ekiwangaOkunywaObukontanyo(Protons)BbuulweMunnassomabusirikitu(Microbiologist)Essomero lya Rubaga CommunityKololiiniNamba ez'endagakifoEthiopiaIngrid TurinaweBukwa (disitulikit)Lumonde awusseMuteesa I of BugandaObubulwaNakasigirwaMilton OboteKabambaOmskGabungaTekinologiya w'Abaganda Abedda(Technology used by the ancient Baganda)Allen KaginaJoel SsenyonyiMolly Nawe KamukamaOkusogola omwengeEkigulumiro (Prism)Busingye Peninah KabinganiAlgeriaEmpewo eya kiwanukaOkusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)Katunguru, YugandaWikipediaPallasoDEEDEkitangaalaNzikiriza y'AbatumeVladimir PutinPolotozoowa(Protozoa)OlujjuliroBagandaBulgariaParisGambiaNamibiaAgnes Atim ApeaOmusingi gw'Ebyenfuna(The Economic Base)KakiraAbed BwanikaLibyaKkumi na ssatuSouth AfricaOmutangenta (the tangent function)Ebitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiSusan Nalugwa KiguliSenegalObufo,Obusangiro, Obwolekero (Position, Location, and Direction)ENIIMUKenyaKalungu, YugandaZimbabwe🡆 More