Nick Nola

  Nicholas Tatambuka yazalibwa mui mwezi ogw'omusanvu mu 1985 , amannyikiddwa nnyo nga Nick Nola ne Nicky Nola ng'amannya gge ag'okusiteegi, munayuganda ayimba enyiba ekika kya R&B n'okuziwandiika eyajja mukumannyikwa ng'omuzinyi eyali mu kibiina ky'abayimbi aba Hip Hop ekiyitibwa Canvas.

Yakola endagaanoi n'aba Platinum Records, ekibiina kyasooka okujja mu kisaawe ky'okuyimba mu 2005 n'oluyimba oluyitibwa "Mother Africa", olwawangula ekirabo kya Best Hip Hop Single. Mu 2010, Nola yatekebwa ku lukalala lwa Ladybrille's olw'abayimbi 15 abaali batutumuse mu mwaka ogwo "15 African Breakout Artists of The Year". Mu 2013, aba HiPipo 5Star baamusengeka ng'omuyimba eyali akwata ekya 34 okubeera ow'etutumu mu buvanjuba bwa Afrika yokka.

Obulamu bwe obwasooka n'engeri gy'atambuddemu mu by'okuyimba

Nola yatandika okwagala eby'okuyimba ng'akyali mwana muto. Yatandika okuyimba ng'akyali musomero lya nasale ng'agegeenya abayimbi beyali asinga okwagala nga Usher, New Edition ne Boyz II Men. IMu siniya yeetba mu mpaka z'okuyimba eza All Kampala Original Song Competition ezaali ku Cine Afrik, n'awangula ekifo ekisooka. Yagenda okutikirwa ku Kitante Hill School, yali yatandika okulabibwa abafulumya ennyimba ab'enjawulo okwetoloola obuvanjuba bwa Afrika yonna.Mu 2004, Shadrack, eyali akulira Platinum Records, yazuula Nola n'amuwa endagaano eyokuyimbira mu kampuni ye efulumya enyimba.

Nola yafuuka omu ku bameba b'ekibiina ekiyitibwa Hip Hop Canvas, nga kyalimu GNL, Lyrical G ne Qute Kaye. Olutaambi lw'ennyimba lwebasooka okufulumya lwaliko ennyimba 14. Nola yalabikako mu nnyimba nga "First Love", "Sitakiwewe", "Hip Hop Party" ne "Mother Africa". Mu mwaka ogwaddako, Hip Hop Canvas yafuna ekirabo kya Best Hip Hop Single olw'oluyimba lwa "Mother Africa", nga baakwataganira wamu n'aba Jungle Beat okulikoodiinga "Yegwe", "Nkaaba" ne "Down Low" nga bali ne Mosh. Ekibiina kyafulumya n'oluyimba oluyitibwa "Brand New Day".

Mu 2009, Nolayafuna endagaano okubeera ng'adukannyizibwa era ng'ayambibwako aba UGPulse.Ytandika okukola ku lutaabi lw'ennyimba lweyayita Honey Moon, nga yali pulojekiti y'ensi yonna eyalimu abafulumya ennyimba nga Swangz Avenue, GoodEnuf, Allan, Washington, Henry Kiwuwa ne Young Pulse. Olutaambi luno lwali lulina okuteebwa okugenda mu katale mu mwaka gwa 2011. Nola yafulumya oluyimba lwebayita "I Love The Way" ne "Marianna", nga zaafuuka za ttutumu Uganda n'ebweru. Nga 24 mu mwezi ogwekuminebiri mu 2010 akatabo ka , Ladybrille Magazine kaamuteeka mu namba 15 kulukalala lw'abayimbi abaali bavuddeyo mu mwaka "15 African Breakout Artists of the Year".

Pulojekiti z'ennyimba

Mu 2012, kyalangirirwa nga Nola bweyali akola n'omuyimbi okuva e Nigeria Slim Burna okuddamu oluyimba lwe oluyitibwa "Oya Na" nga lwali lwakulabikira ku pulojekiti ya Honey Moon project. Oluyimba luno lwafulumizibwa Washington, nerutabulwa Lurssen Mastering era eyalutendeka mu Amerika . Mu mwezi ogw'okutaano nga 23 mu 2013 oluyimba luno lwakubibwako katono sekeendi 90 ku mikutu gya yintaneeti nga bayita DStv.

Ekika ky'ennyimba

Entaambi z'ennyimba mu situdiyo

  • Honey Moon (lugya kufulumizibwa)

Vidiyo z'ennyimba

2010

  • "Marianna"
  • "I Love The Way" (featuring Bella)
  • "Sembera"
  • "Aliwa"

2012

  • "Mufunye"

By'awangudde ne byebamulonzeemu

Zzina Awards

 

Laba ne

 

Tags:

Nick Nola Obulamu bwe obwasooka nengeri gyatambuddemu mu byokuyimbaNick Nola Pulojekiti zennyimbaNick Nola Ekika kyennyimbaNick Nola Byawangudde ne byebamulonzeemuNick Nola Laba neNick Nolaen:R&B

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Empalirizo(Force)Ekirwadde ky’ebolaEndagabwolekeroAsiaMaliRonald ReaganJessica AlupoOkugajambula(Predation)Allen KaginaApollo MakubuyaJohn Chrysestom MuyingoJustine Lumumba KasulePayisoggolaasiJuliana KanyomoziKabakaMode Gakuen Cocoon TowerEssomabwengulaKigaliCaayiNTV UgandaEnsenga yababundabunda KyangwaliAligebbulaKibwankulataAmabwa agatawonaOkuwandiika Baguma MuhendaPalabek KalMukaagaAmazziAlice Komuhangi KhaukhaEnsolo LubbiraBubirigiMariam NaigagaKikanja john baptist/sandboxBernadette OlowoChileOMUGASOEnnambaOKULUNDA EKOOKO ENANSI NENZIJAJABAJames OnenRwandaJose ChameleoneOkulima amayuniOkusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)EnsenkeEkitookeAluminiyamuIrene Ovonji-OdidaAmambuluggaMulalamaEmbu z'AmannyaEmbizziManafwa (disitulikit)BujuukoEndwadde y’omutimaEnkokoStella Nansikombi MakubuyaYei Joint Stars FCRepublic of CongoKookolo w'EkibumbaMasakaNkikimbo🡆 More