Ennyambala Y’abaganda

Empisa n’ebintu Abaganda bye bazze nga bakola bibaddenga bikyuka ng’amagezi gaabwe bwe gabadde geeyongera ate era nga n’emirembe bwe gizze nga gikyuka.

Ebyafaayo

Bwe tutunulako ku nnyambala, nayo egenze ekyuka okutuuka ate ku eno gye tulaba ensangi zino.

Amaliba

Mu kusookera ddala, Abaganda baayambalanga maliba. Amaliba ge baayambalanga, baagaggyanga kun solo nga embuzi, ente n’entalaganya. Amaliba bwe gaavaako olwo ate ne badda ku mbugo ate okwo kwe baava ne badda ku makanzu ne gomesi.

Ebyambalo bye twogerako wano, byayambalwanga okusinziira ku kigero omuntu kye yabanga atuuseemu. Omwana omulenzi bwe yabeeranga omuto, nga tayambala. Kigambibwa nti omwana bwe yawezanga ebbanga ery’emyaka omukaaga gye tumanyi leero olwo ne batandika okumuyiiyiza eky’okwambala. Ekyambalo omulenzi kye yasookerangako nga kiyitibwa endoobe. Ku ndoobe kuno yaweerwangako n’akaliba k’embuzi akasobola okumutuuka. Ebyambalo ebyo bye yabeerangamu okutuusa lwe yawezanga emyaka 15.

Ku myaka egyo omulenzi yalabibwanga nga musajja mukulu ddala era ng’ebyambalo ebyo abivaamu ng’aweebwa embugo n’aviira ddala mu maliba.

Newankubadde ng’amaliba omulenzi yagavangamu naye amaliba ago ab’edda baagalongoosanga bulungi ne bagatunga, ne bagagatta wamu era nga luba lugoye lwa bbeeyi. Abantu ab’ebbeeyi, be tuyinza okuyita abakungu be bokka abaasobolanga okwambala amaliba nga bwe tugenda okulaba wammanga.

Omuntu yaddiranga eddiba ly’embuzi n’aliwalako obwoya bwonna ng’akozesa omusenyu okulaba nga lyonna liggweerako ddala obwoya. Ekikolwa ekyo kye kiyitibwa okukunja. Okukunja bwe kwaggwanga ng’eddiba lyanikibwa ne likala bulungi. Bwe lyakalanga nga lisiigibwa omuzigo ne likunyibwa nnyo okulaba nga ligonda bulungi lyonna. Omuntu yayinzanga okutunga awamu amaliba bwe gatyo ag’enjawulo nga gaweza kumpi omutanda mulamba oba kye tuyinza okuyita yaadi oba mmita ng’ebalibwamu engoye ezitungibwa. Amaliba ago gaakomolwanga bulungi era ng’erisembayo waggulu lirekerwako emmambo ezookusumisa. Eddiba eryakolebwanga bwe lityo nga lwe luveera. Lwabanga lwa bbeeyi ddala era nga lwambalwa bakungu. Abakopi oba abaavu bo tebaasobolanga kukunya maliba ago kutuusa ku ssa lya luveera, bo bagambalirangawo n’obwoya bwago. Ekyambalo eky’engeri eyo ekitaakunyibwanga nga kye kiyitibwa ekijagali.

Abasajja oba abaami baayinzanga n’okwambalira amaliba kungulu ku mbugo zaabwe. Kino kyabanga kyambalo kya maanyi era ebyafaayo biraga nti abasajja bonna abaakuumanga abakyala bakabaka nga bambala bwe batyo olw’okuweeza abakyala abo ne Kabaka ekitiibwa.

Ebiti

Ate abaana abawala bo abato baabasookezanga ku kyambalo ekiyitibwa ebiti ebiyitibwa amakono oba amagingo. Ebiti ebyo byaggyibwanga ku muti oguyitibwa ekiwondowondo. Ekiti ekyo kyababulwanga ku muliro okutuusa lwe kyaddugalanga. Olwo ate ne kisalibwamu obutundutundu okwenkana ng’ekiseera ky’engalo. Obuti obwo obwasalibwanga ate bwe bwatungibwanga awamu omuwala n’ayambala. Omuwala bwe yawezanga emyaka nga 12 gye tumanyi leero olwo n’atandisibwa okwamala olubugo era obunene bw’olubugo bwagendanga bwongerwako nga bwe yagendanga akula.

Ekkanzu ne Ggomesi

Wabula ate tulaba nti Buganda bwe yagenda efuna abantu okuva ebweru waayo baagireetera engoye. Olugoye olwasinga ennyo okusanyula n’okwanirizibwa mu Buganda ye Kanzu ne gomesi. Ekkanzu ne gomesi bye bambalo ebitwalibwa ng’ebitongole mu Buganda.

Kyokka era tulaba nti ebyambalo bino kati bisinga nnyo kwambalwa ku mukolo ate emitongole ng’okwanjula. Naye nno abakyala abasing mu byalo eyo bo bakozesa nnyo gomesi ng’ekyambalo kyabwe mu ngeri zonna. Bo abakyala abakozi mu bibuga bettanira nnyo ebyambalo ebiralala ebibanguyira mu mirimu gye bakola. Ennyambala y’Abaganda bw’etyo bw’ezze ng’ekyuka.

References

Kaggwa, Apolo. Empisa z'Abaganda

Tags:

Ennyambala Y’abaganda EbyafaayoEnnyambala Y’abaganda AmalibaEnnyambala Y’abaganda EbitiEnnyambala Y’abaganda Ekkanzu ne GgomesiEnnyambala Y’abaganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Cleopatra KoheirweNnyaEbyobuzimbeBurundiMedellínMalawiKibwankulataJapanEkitangaalaDonald TrumpOmwololaNsanyukira ekigambo kino lyricsMauritiusNnaabagereka Sylvia owa BugandaEssomabuzaaleKizito omuto omujulizi omutuukirivuEssomansiBulaayaENNAKU MU SSABIITIBurkina FasoNakongezakikolwaEsther Mayambala KisaakyeGautama BuddhaBulungibwansiBufalansaObuwangaaliro obw'Obutonde(the natural environment)Enzijanjaba y'OlukusenseJustine NabbosaLumonde owa Kipapaali mulime owonnya obwavuOMUSUObuufu oba Obuyitiro (Mathematical Locus)EndagabwolekeroSheebah KarungiButurukiAbantuMowzey RadioYugandaAdolf HitlerENIMAWAUfaJackie SenyonjoBettinah TianahHanifa KawooyaLumonde awusseMuteesa I of BugandaPhilippa Ngaju MakaboreEntaba-wordsArgentinaAngolaTtiimu ya Vipers SCKampalaWikipediaEthiopiaENTOBAZITanzaniaEnergyZari HassanDokoloOmwesoKenyaWashington County, MissouriJames OnenBaltic SeaEnyanjula y’EntobaziObukwafu n'Obukwafuwavu(Thickness and density)PayisoggolaasiMoses Ndiema KipsiroLaura KahundeOkuwangaala mu Luganda🡆 More