Sarah Babirye Kityo yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 27, mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 1986, nga munayuganda ow'eby'obufuzi, eyaliko omulonde eyai akiikirira abavubuka mu bitundu by'amasekati g'eggwanga mu palamenti ey'e 10 eya Uganda.
Y'omu kubali oba ba memba bw'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement, nga ku bendera yabwe kweyagira mu kulonda kwabonna okwaliwo mu mwak gwa 2016 gyeyawangulira Arthur Katongole,eyali yeesimbyeyo nga talina kibiina kweyali agidde. Ye pulezidenti w'ekibiina ekidukanya omuzannyio gw'okubaka mu ggwanga ekya ''Uganda Netball Federation'', ekifo kyeyafuna mu mwaka gwa 2021 ng'alin aokuwereza okutuusa mu mwaka gwa 2025
Sarah Babirye Kityo | |
---|---|
Gyeyzaalibwa | Yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 27, mu mwezi ogwekumineebiri, mu mwaka gwa 1986, ng'alina emyaka 36. W'e Mukono, mu Uganda |
Eggwanga lye | Ugandan |
Obutuuze | Uganda |
Eby'emisomo | SDA Primary School Mulusa Academy |
Gyeyasomera | Etendekero lya Uganda Christian University (Mukuwereza abantu n'okudukanya emirimu |
Omulimu gwe | Munabyabufuzi |
Emyaka ng'akola | Okuva mu mwaka gwa 2011 okutuusa kati |
Kyebasinga okumumannnyako | Munabyabufuzi |
Ekitiibwa kye | Mubaka wa palamenti |
Ekibiina ky'eby'obufuzi | National Resistance Movement |
Abaana b'alina | 2 |
Sarah Babirye yasomera ku Luweero SDA Primary School gyeyava mu mwaka gwa 1995. Oluvannyuma yasomera ku Mulusa Academy, erisinganibwa e Wobulenzi, ng'eo gyeyatuulira S.4(UCE) ne S.6 (UACE) gyava mu mwaka gwa 1999. Mu mwaka gwa 2015, yatikirwa ne diguli ye ey'okuweereza abantu n'okudukanya emirimu gyeyayitira mu daala erisooka, ng'eno yagifunira kutendekero lya Uganda Christian University.
Ebikwata ku biseera byeyamala ng'ali mu by'obufuzi biri bwebiti:
Mu mwaka gwa 2016, ng'ali wamu n'abakiikirira abavubuka mu palamenti abalala 4, Sarah Babirye yakiikirira Uganda mulukungaana lw'abavubuka olw'ensi yonna olwali luyitibwa ''International Young Leaders Assembly'' (IYLA) ku kitebe ekikulu eky'ekitongole ky'amawanga amagate ekisingaanibwa mu kibuga kya New York.
Mu mwaka gwa 2017, Sarah Babirye yakiikirira Uganda ng'eyali omwogezi omukulu mu pulogulaamu y'abavubuka eyali yeetabibwamu ababaka abaali bava mu mawanga agaali mu lusa olumu ne Bungereza oba lebaali bayita Commonwealth Parliamentary Association Youth Program (CPA) olwa;o olw'okujagulizaako olunaku wl'amawanga agaaliko mu luse olumu n'eggwanga lya Bungereza nga luno batera kuluyita Commonwealth Day olwaliwo mu mwaka gwa 2017 mu kibuga London.
Muntandikwa y'omwaka gwa 2016, ikyali kigambibwa nti gweyali avuganya mu kulonda yali awaabye omusango mu kooti, ng'asaba okulayira kwa Babirye kulemesebwe, ng'agamba nti yali asusa mu myaka egyali gyetagisibwa okwesimabwo. Oluvannyuma mu mwaka ogwo, kyali kigambibwa nti ekooti enkulu ey'omu disitulikiti y'e Masaka yali etandise okuwuliriza omusango guno ogwali guwawabiddwa Sarah Babirye nga basinziira ku by'okulimba emyaka ekyamufuula okubeera nga yali tagwanidde kubeera mubaka wa palamenti eyali akiikirira abavubuka, ekintu ekyagobwa ekooti enkulu ey'e Masaka mu mwaka gwa 2019.
Sarah Babirye Kityo, avuganya ku kifo ky'omubaka wa Bukoto East mu kulonda kwa palamenti okw'omwaka gwa 2021 2021, mufumbo ng'era maama w'abaana babiri.
Yeetabye mu mu mizannyo gyonna egyetabibwamu ababaka b'omu palamenti z'amawanga g'omubuvanjuba bwa Afrika eziyitibwa East African Community (EAC) Inter-Parliamentary Games tournaments wakati w'omwaka gwa 2016 ne 2019, nga yayambako ne ttiimu y'abakyala eya palamenti okuwangula ebirabo ebiwerako. Naye alina ebirabo eby'enajwulo ebiwerako okuviira ddala bweyawatandika mu mwaka gwa 2016.
This article uses material from the Wikipedia Luganda article Breeze Sarah Babirye Kityo, which is released under the Creative Commons Attribution-ShareAlike 3.0 license ("CC BY-SA 3.0"); additional terms may apply (view authors). Content is available under CC BY-SA 4.0 unless otherwise noted. Images, videos and audio are available under their respective licenses.
®Wikipedia is a registered trademark of the Wiki Foundation, Inc. Wiki Luganda (DUHOCTRUNGQUOC.VN) is an independent company and has no affiliation with Wiki Foundation.