Bethlehem Tilahun Alemu

  Bethlehem Tilahun Alemu (yazaalibwa 1980) mukyala musuubuzi okuva mu ggwanga lya Ethiopia , ye nannyini wa soleRebels, kkampuni y'engatto ekulira ku musinde ogwa waggulu mu Afrika .

Bethlehem afunye engule n'ebirabo olw'obusobozi bwe okukulakulanya kkampuni wamu n'okukyusa ebyogerwa ku Afrika okuba enjavu okudda ku mwoyo gw'bantu abaagala okutandiika bizinensi , abantu abalina obusobozi obw'enjawulo n'okwesobola mu by'ensimbi . Bethlehem yatongoza "The Republic of Leather", nga ekola emisono gy'amaliba emigundiivu , ne "ennimiro ya kkaawa" yassaawo amaduuka okutumbula emmwanyi mu Ethopia ..

OBUTO BWE

Bethlehem yazaalibwa Zenebework mu Addis Ababa. Bazadde be baakolanga mu ddwaliro lya kyalo . Alemu yasomera mu masomero ga gavumenti ku mutendera gwa pulayimale ne siniya oluvannyuma nasoma eby'okubalirira ebitabo mu Unity University,era naatikkirwa mu 2004.

Bethlehem ye munnabizinensi omukyala okuva mu Afrika eyasooka okusisinkana Clinton Global Initiative era yawangula okubeera omukyala Omufirika omusuubuzi asinze mu African Business Awards mu 2011.[1]

BIZINENSI Z'AKOZEEKO

Mu ntandiikwa ya 2005, Bethlehem yatandiika soleRebels okuwa abantu b'omukitundu kye emirimu egivaamu ensimbi wamu n'ebintu ebibalinanye . Okulaba nga abakugu mu mu by'emikono mu kitundu kya Zenebework abasinga tebaalinirako ddala mirimu ,yayagala ayolese obukugu bwabwe nga awa ab'omu kitundu kye emirimu.


Sole z'engato ze yazikolanga mu mipiira gya mmotoka emikadde .Leero , engatoze zirina sitoowa okwetoolola ensi okugeza mu mawanga nga Ethiopia, Singapore, Switzerland and Taiwan.

Bethlehem yeenyumiriza mu busobozibwe okuba nga yasobola okukola erinnya mu nsi yonna erya soleRebels ne Garden of Coffee.

EBYAFAAYO

Kkampuni yatandiika nga ekkolero etonotono ku ttaka eryali erya jjaja wa Bethlehem mu Zenebework.

SoleRebels etutumuse , n'abakozi abawera 300 mu Ethiopia, nga egabira ensi 30 ,era eguza market kingmakers Whole Foods, Urban Outfitters ne Amazon. Sitoowa z'obwanannyini ezitunda engatoze zaali ziteekebwateekebwa okuggulibwawo mu Austria, Switzerland, Taiwan, ne UK. Bethlehem yayagalanga nnyo okutondawo emirimu egikulakulanya talanta n'obukugu bw'abantu mu by'emikono n'obugagga obw'ensibo mu Ethiopia. Okulonda engato nga ekyamaguzi kya kkampuni kyajja luvannyuma . Bethlehem yeegombanga seleate oba barabasso, soole y'engatto ennansi ekolebwa mu mupiira omukadde ekoleddwa mu Ethopia era engato n'ezifuuka omulamwa kkampuni kweyasalawo okutambulira . .

Mu 2016 kkampuni yatunda emigogo gy'engato 125,000 n'emirimu 1,200 jobs.

Mu 2014, Bethlehem yalangirira bizinensi empya , The Republic of Leather, ng'ayita ku mukutu gwa soleRebels . Bethlehem yazuula eby'amaguzi eby'ebbeeyi ebikoleddwa mu ddiba ebyali ku mutendera gwe gumu ne SoleRebels n'engato . The Republic of Leather etambulira ku musono omuguzi gwayagala nga ebitundu 5 % ku ssente ze basasula bigenda mu buyambi .

Mu 2017, "Garden of Coffee" yagattibwa ku zimu ku kampunize . Yatandiikika n'amaduuka mu Addis Ababa.

Philosophy

Bethlehem yagenderera okusoomoza ebyogerwa ku Afrika naddala , Ethiopia, "ng'awakanya ebigereesebwa nti Afrika n'Abafrika tebamanyi kutondawo kkubo libatuusa ku ku nkulakulana ." Bethlehem akkiriza nti bannansi ba Ethiopia balina okugoberera endowooza zaabwe "abantu n'abayivu balina ebirubiirirwa mu kusoosowaza Ethiopia nga " eyeetaaga obuyambi" naddala okwagala "okuyamba" kye basobola okukola , nga Bethlehem bweyannyonnyola bwe yali abuuzibwa ebibuuzo ne The Next Woman. Obuwanguzi bwa kkampuni mu nsi yonna nga soleRebels kiyamba okumalawo ebigereesebwa ekintu ekisobozesa bannansi ba Ethiopia okutereeza ekifaananyi kyeggwanga okwetoolola ensi .

ENGULE N'EBIRABO BYAFUNYE

  • Mu 2011 Bethlehem yalondebwa World Economic Forum nga omuwala omuto akulembedde mu nsi .
  • Bethlehem yawandiikibwako mu katabo ka Forbes omu ku bakyala abato 20 abasinga amanyi mu Afrika mu 2011
  • Mu 2012 Alemu yawandiikibwa Forbes 'Abantu 100 abasinga amaanyi ' n'awandiikibwako nga " Omukyala ow'okulabwa ."
  • Mu 2012 Bethlehem yawandiikibwako mu Business Insider ng'omu ku "Bakyala bannabizinensi 5 abasinga mu Afrika."
    • Mu 2012 Bethlehem yalongebwa Mayor Bloomberg mu NYC Venture Fellow by .
  • Mu 2012 Bethlehem yalondebwa Arise Magazine's " Abakyala 100 ab'enkyukakyuka ," abatereeza Afrika.
  • Mu 2013 Bethlehem yawandiikibwako nga #62 mu Fast Company's "Abantu 100 abasinga obuyiiya mu bizinensi 2013."
  • Mu 2013 Bethlehem yali abudabuda emitima mu mwaka ogwo mu One Young World Summit.
  • Mu 2013 Bethlehem yawandiikibwako mu Madame Figaro's "Abakyala 15 abafrika abasinga amaanyi."
  • Mu 2013 Bethlehem yalondebwa okwegatta ku kakiiko aka Green Industry Platform, akategekeddwa United Nations Industrial Development Organization ne UN Environment Program.
  • Mu 2013 Bethlehem yalondebwa abasomi ba The Guardian nga "Omukyala omufrika asinze okufuna mu bizinensi ye."
  • Mu 2014 Bethlehem yawandiikibwako ku CNN ng'omu ku bakyala bannabizinensi 12 abakyusizza engeri y'okukolamu bizinensi ."

EBIJULIZIDDWAMU

Tags:

Bethlehem Tilahun Alemu OBUTO BWEBethlehem Tilahun Alemu BIZINENSI ZAKOZEEKOBethlehem Tilahun Alemu EBYAFAAYOBethlehem Tilahun Alemu PhilosophyBethlehem Tilahun Alemu ENGULE NEBIRABO BYAFUNYEBethlehem Tilahun Alemu EBIJULIZIDDWAMUBethlehem Tilahun Alemuen:Africaen:Bethlehem Tilahun Alemuen:Businesswomanen:Ethiopiansen:Footwear

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

ENKOKO ENNANSI EREETA AMAGOBALesothoComorosFrancis ZaakeOmusujja gw'EnkakaOmusoosowazabyanfuna(Materialist)ENNAKU MU SSABIITIBrasilBukiikakkonoEnsikiso (Pulleys)Obusannyalazo(Electrons)Nabulya Theopista SsentongoCayinaEntababimira (vegetation)NigeriaWikipediaOKUMEZESA ENDOKWA Z'EMITI N'OKUZIRABIRIRAOmskKibalirampuyibbiri(Integers)Peace ButeraEkirwadde kya CholeraEthiopiaMoroccoOlutiko (Mashroom)EnsimbuAmelia KyambaddeKisubi kya kyaayiKkalwe (Iron)NakongezakikolwaEssomampuyisatu (Trigonometry)Equatorial GuineaBetty NamboozeOmusingi gw'Ebyenfuna(The Economic Base)Okulambika ebirowoozo(Inductive reasoning)Joel SsenyonyiEbyobufuna bya Buganda Eyedda (the Political economy of precolonial Buganda)Evelyn AniteJackie ChandiruYengaNnyaEkigulumiro (Prism)ObubulwaSusan Nalugwa KiguliObulwadde bw’ensigo (Kidney stone disease)Amakumi asatu mu nnyaEnsenkeKilimanjaroAmerikaOmulangiriziMbazziBurundiNamba ez'endagakifoAnnette NkaluboJose ChameleoneCatherine BamugemereireIgangaOBWAVU N’OKUNONNYEREZA KU BIBUFAAKO MU BYALO MU’ ENKULAAKULANA EYA NAMADDALAIsilandi🡆 More