Iron Kkalwe

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Akaziba ka Kkalwe era kayitibwa Atomu ya Kkalwe (iron atom) mu Luganda.

Kkalwe (Iron):

•akabonero : Fe

•namba y'akaziba: 26

•Kiva mu kya lulattini ferrum (iron)


Enjuba omulangaatira emmyufu bw’ekyusa keriyamu wayo yenna okufuuka kaboni ne okisegyeni, etandika okukyusa kaboni ne okisigyeni okuzifuula atomu za kkalwe (iron).

Kkalwe (iron) k'akaziba ak'ekika ekisingayo obuzito enjuba ky’eyinza okukola, ekitegeeza nti enjuba bw’eba ekoze Kkalwe okuva mu kaboni ne okisigyeni wayo asinga obungi, efuuka semufu (supanova) n’eyabika (n’etulika).

Semufu bw’etulika efulumya obuziba bwa kaboni, okisigyeni ne kkalwe mu bwengula, oluvanyuma essikirizo (gravity) ne lisikira awamu obuziba buno okukola ebitole by’enkulungo (planets) ng’enkulungo y’ensi.

Obutafaanana atomu ndala, kkalwe ayinza okuyingiramu empalirizo za magineeti. Kino kibaawo kubanga atomu za kkalwe zirina omuze okwesengeka mu lunyirii nga zonna zitunudde oludda lwe lumu okusinga atomu endala.

Amakkati g'Ensi (earth’s core) galabika okuba nga gasingamu kkalwe (iron) okusinga mu kikunsi (earth’s crust). Ekikunsi ky’ekikuta ky’ensi ekiri wansi wo kungulu kwe tubeera. Kkalwe ali mu buziba bw’ensi ali nga 10%.

Ebiramu byonna ebimera n’ensolo nabyo birimu kkalwe. Ebimera bikozesa kkalwe okubiyamba okusika amasoboza (energy) okuva mu musana okuyita mu bikoola byabyo ate ensolo zikozesa kkalwe okutambuza okisigyeni mu mibiri gyazo n’okutuusa amasoboza mu butaffaali bwabyo.

Kubanga kkalwe alina obusannyalazo bubiri bwokka mu kire ekisembayo ku ngulu, obusannyalazo buno obuli bwokka bwegatta mangu ne atomu za okisegyeni. Kkalwe atulabikira ng’omuddugavu ng’ali yekka ate alabika nga omumyufu nga yegattiddwako okisegyeni.

Eno y’ensonga lwaki omusaayi gulaabika okuba omumyufu kubanga gulimu kkalwe ne okisigyeni ate nga ensonga y’emu lwaki kkalwe atalazze alimu olumyufu. Entalaggo (rust) aba kkalwe eyegasse ne okisigyeni okuva mu mpewo oba amazzi.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Amakumi abiri mu nnyaLuganda - Lungeleza dictionaryBugandaBukiikakkonoEnjubaEmisingi gya NambaMityana (disitulikit)Agnes NandutuEmuMontgomery County, GeorgiaSyda BbumbaENGERO ZA BUGANDAFlavia TumusiimeEbiseeraSekazziEleanor NabwisoFinilandiEssomabiramuBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abeddaChileOmujaajaZzaabuNapooleon BonapatEntababutondeRose AkolKalagi, MukonoKolera ndwaddeEnjobeFred RwigyemaAmakulu g'emiramwa(Lexical Semantics)WikipediaOLWEZAIbandaEkkuumiro ly'ebisolo erya Lake MburoEddagala eriyitibwa Mwambala zitonyaEkikataObwakalimageziSamuel Wako WambuziMalawiBurundiBelarusEkkuumiro ly'ebisolo erya BwindiAsiaEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?TanzaniaLugandaNational Unity PlatformKifabakaziOkukola obulimiro obutonoKabarole (disitulikit)MbazziBryan County, GeorgiaDenis Obua (omukubi w'omupiira)Ho Chi Minh CitySafina NamukwayaOlukalala lw'abayimbi abakyala mu UgandaEbyobuwangwa (Culture)Okusiriiza entamuKkopa (Copper)Endwadde y'okusiiyibwa amaaso🡆 More