Anne Kabagambe

  Anne Namara Kabagambe Munnayuganda omukugu mu by'enfuna ate era mukungu eyali Ssenkulu wa International Bank for Reconstruction and Development Group ye Bank y'ensi yonna eyasooka mu Africa.

Obudde buno akola nga mmemba ku ku lukiiko olufuzi olwa Barrick Gold Corporation.

Obulamu bwe n'ebyensoma

Kabagambe yazaalibwa Kisoro, mu ttawuni esangibwa mu bukiika ddyo w'obugwanjuba mu Uganda okuliraana ensalo ya Rwanda ne Democratic Republic of Congo, nga ye mwana ow'omunaana ku baana 12 eri omukungu wa Gavumenti eri maama ow'awaka. Yamaliriza Siniya mu Uganda nga tannagenda mu ggwanga lya America eyo gye yafunira ddiguli ye eyasooka okuva mu University of California at San Diego. Yafuna ddiguli ey'okubiri mu nkolagana y'amawanga okuva mu Columbia University ne mu nkologana y'abantu okuva mu George Washington University. Era yafuna Dipulooma ez'enjawulo mu nkogana y'amakampuni okuva mu ssomero lya John F. Kennedy School of Government ku Ssettendekero wa Harvard, n'eyobukulembeze mu Cranfield School of Management.

Emirimu

Emirimu egyasooka ne African Development Bank

Kabagambe yatandika emirimu gye ng'akiikirira ekibuga New York ku by'okusuubulaziganya n'enkulakulana mu China, India ne Middle East. Yakolako n'ekitongole ky'amawanga amagatte wamu n'ekitongole ky'amawanga amankuseere mu kibuga New York. mu 1989, Kabagambe yeegatta ku African Development Bank, eyo gye yafuukira omukulembeze ow'okuntikko. Yakola ne ttiimu eyakola ennyo okukwanaganya enteekateeka empanvu ezaakola ennyo okutembekenza akatyabaga k'ebyenfuna mu 2007-2008 wamu n'amawanga g'obugwanjuba bwa Africa okulwanyisa obulwadde bwa Ebola. Mu mwezi ogusooka 2016, yeegatta ku lukiiko olukulu olwa Africa-America Institute.

Bank Y'ensi yonna

Mu gwekkuminogumu 2018, Kabagambe yalondebwa nga Ssenkulu wa World Bank Group mu Africa ng'akiikirira Botswana, Burundi, Eritrea, Eswatini, Ethiopia, Gambia, Kenya, Lesotho, Liberia, Malawi, Mozambique, Namibia, Rwanda, Seychelles, Sierra Leone, Somalia, South Sudan, Sudan, Tanzania, Uganda, Zambia and Zimbabwe—oluvannyuma lw'okukola ssenkulu w'ettunduttundu lino. Yafuuka omukyala ow'okubiri okutwala ekifo kino oluvannyuma munna Ethiopia Kabagambe era akola nga ssentebe w'olukiiko lwa Bank y'ensi yonna akola ku by'embeera z'obuntu. era mmemba ku lukiiko oluvanaanyizibwa ku by'enteekerateekera y'ebyensimbi olukulaakulanya abantu.

Obulamu bwe

Kabagambe alina omutabani, William Teli Muhumuza Keita Kabagambe. Amanyi bulungi nnyo okwogera Olungereza ne Olufaransa.

Ebijuliziddwa

Template:S-start Template:S-dip Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-inc Template:S-end

Tags:

Anne Kabagambe Obulamu bwe nebyensomaAnne Kabagambe EmirimuAnne Kabagambe Obulamu bweAnne Kabagambe EbijuliziddwaAnne Kabagambeen:World Bank Group

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Susan NsibirwaMercyline ChelangatKisubi kya kyaayiEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiOkulambika ebirowoozo(Inductive reasoning)MauritaniaObulwadde bw’ekiwangaLawrence MulindwaEnglish to lugandaCuritibaEssomero lya Rubaga CommunityArmeniaSierra LeoneOmwesoMr LengsMadagascarDEEDArgentinaEkyekebejjo (Empiricism)Mabira ForestEnsinga (Mode)Franc KamugyishaJose ChameleoneMoroccoEntry InhibitorObuwangaaliro( Environment)Ingrid TurinaweBufalansaOtema AllimadiCayinaThe mithEnjubaWalifu y'OlugandaRema NamakulaBwizibweraMolingaOmutwe ogulumira oludda olumuAgnes NandutuAmelia KyambaddeAmasannyalazeOmumbejja Elizabeth ow'e TooroOmusingi gw'Ebyenfuna(The Economic Base)Ziria Tibalwa WaakoKampalaNatasha Shirazi, omuwandiisi w’ebitaboNigeriaUgandaAbim (disitulikit)Allen KaginaObulemu ku maasoMozambiqueBukiikakkonoEnergyBbolomayini (Bromine)MooskoOkusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)Ekirwadde kya CholeraLugandaNakasigirwaKkumi na ssatuSusan Nalugwa KiguliZari Hassan🡆 More