Yellow Fever Omusuja Gw’enkaka

Obubonero n’enfaanana

Buno bulwadde obuleetebwa akawuka era nga butera okujja n’obubonero okuli: omusujja, obutayagala kulya, okusinduukirirwa emmeeme, okulumizibwa mu nnyingo, omutwe oguluma. Obubonero buno businga kweyolekera mu nnaku ezitasukka ttaano, kyoka mu bantu abamu, mu lunaku obulwadde buno we bweyongera, bafuna omusujja mungi, olubuto oluluma n’okukosa ekibumba kutandika ekireetera olususu okufuuka olwa kyenvu. Kino bwe kibaawo , olwo n’akatyabaga k’okuvaamu omusaayi wamu n’okulwala kwensigo kweyongera.

Ekibuleeta

Obulwadde buno buleetebwa akawuka akayitibwa yellow fever virus era ne kasaasaanyizibwa ensiri enkazi, singa eluma omuntu.Obulwadde buno bukwata bantu,ebisolo ebirala ebigwa mu luse lw’abantu n’ebimu ku bika byensiri.Obulwadde buno bwandiba obuzibu bw’okuzuulirawo, okujjako ng’omuntu amaze kufuna bubonero obwo waggulu, era okubukakasa omulwadde bamala kumujjako omusaayi ne gukeberebwa.

Okugema

Lyo eddagala erigema obulwadde buno gyeriri era mu mawanga agamu kiba kya buwaze eri abatambuze (abalambuzi) okugemebwa. Enkola endala ez’okwewalamu omusujja guno, kuliko okutta ensiri ezibusaasaanya. Yo mu bifo ewali abalwadde abangi ng’ate tewaaliyo kugema, abalwadde bakeberebwa mangu era n’okugema abantu mu bungi kikorebwa okwongera okubuziyiza. Eyo mu bitundu gye buba bukutte ennyo ate abantu ne batafuna bujjanjabi, abalwadde ebitundu ataano ku buli kikumi bafa.

Tags:

Yellow Fever Omusuja Gw’enkaka Obubonero n’enfaananaYellow Fever Omusuja Gw’enkaka EkibuleetaYellow Fever Omusuja Gw’enkaka OkugemaYellow Fever Omusuja Gw’enkaka

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

EnsimbuGodfrey WalusimbiBagandaYugandaGuluOmuntu kalimageziOkukola ebintu ebipya okuva mu biralaEbiryoObulwadde bw’ensigo (Kidney stone disease)BuwengeNamba ez'endagakifoNzikiriza y'AbatumeRwashaNabulagalaEnzikuJens GalschiøtNamba enzibuwavu(Complex numbers)Obulamu obusirikituOlubuguumiriro lw'Enkulungo y'EnsiKabakaJose ChameleoneRomeRobert KayanjaBulungibwansiThe concepts necessary for Luganda discourse on instincts(Engerekera)TanzaniaBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abeddaBetty NamboozeEkibalanguloMuteesa I of BugandaOkuggyamu olubutoSsekabaka Mutesa IIKolera ndwaddeChileEkirwadde ky’ebolaBukiikakkonoMadagascarBettinah TianahCameroonMowzey RadioCroatiaAisa Black AgabaKamuliAkafuba bulwaddeBetty Oyella BigombeAligebbulaEnte ez'amataEkinonoozo (Engineering)Ntungamo (disitulikit)ObubulwaGrania RubomborasTokyoKabambaEbyobufuna bya Buganda Eyedda (the Political economy of precolonial Buganda)NepalEnglish to lugandaOkusogola omwengeOlutiko (Mashroom)Sandra Suubi🡆 More