Betty Oyella Bigombe: Munnabyabufuzi Omunnayuganda

 

Betty Oyella Bigombe, era nga batera ku mumannya nga Betty Atuku Bigombe, yazaalibwa nga 21 Ogwekumi mu 1962, nga munabyabufuzi Omunayuganda eyawerezaako nga avunaanyizibwa ku biyinza okumenyeka, obutabanguko wamu n'obutakaanya mu Baaka y'ensi yonna okuva mu 2014 okutuuka mu 2017. Yalondebwa mu kifo kino mu Gwomukaaga mu 2014, yeeyali Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by'ensulo z'amazzi mu Kabineeti ya Uganda. Yaweebwa ekifo kino nga 27 Ogwokutaano mu 2011. Kuno yakola n'okuwereza nga Omubaka wa Paalamenti eyali akiikirira Disitulikiti ya Amuru mu Konsitituweensi y'abakyala. Yalekulira okuva mu bifo bino byombi nga 1 Ogwomukaaga mu 2014.

Obulamu bwe n'okusoma kwe

Betty Bigombe yazaalibwa mu Disitulikiti ye Amuru nga 21 Ogwekumi mu 1952, gyebaali bamannyi nga Disitulikiti ya Acholi. Y'omu kubaana ekuminoomu abaazaalibwa kitaawe eyali omusawo. Asibuka mu ggwanga ly'abachooli. Bigombe yagenda ku Gayaza High School gyeyamalira S4 mu 1968, n'amaliriza S6 ku Trinity College e Nabbingo mu 1970. Yagenda ku Yunivasite ye Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga okubeera enkadde, gyeyatikirwa ne Diguli mu By'enjigiriza ku bikwatagana kumbeera z'abantu, mu 1974. Oluvannyuma yagenda ku Harvard Kennedy School ku Yunivasite ya Harvard e Cambridge mu Massachusetts mu ggwanga lya Amerika gyeyatikirwa ne Diguli ey'okusatu mu kudukanya embeera z'abantu. Okusoma kwe ku Harvard kwali kuvugirirwa ekibiina okuva mu Harvard Institute for International Development.

Emirimu gye

Okuva mu 1981 okutuuka mu 1984, yakolako nga omuwandiisi wa kampuni ya Uganda evunaanyizibwa ku by'okusima eby'obugagga by'omuttaka, kampuni eyali edukanyizibwa gavumenti. Okuva mu 1986 okutuuka mu 1996, yawerezaako mu Paalamenti ya Uganda nga omubaka wa Paalamenti. Mu 1988, yaweebwa ekya Minisita Omubeezi avunaanyizibwa kunsonga z'omubukiika ddyo bwa Uganda, ekyamuwaliriza okufuna ekifo w'ayinza okubeera e Gulu, ekibuga ekisinga obunene mu Bukiika Ddyo bw'ebitundu bya Uganda.Yaweebwa omulimu gw'okumatiza abayekera abaali beegatira mu kibiina kya Lord's Resistance Army (LRA) okuteeka wansi eby'okulwanyisa byabwe, oluvannyuma lw'amagye okulemererwa okubawangula nga bakozesa amaanyi. Bigombe yatekawo endagaano n'abakulembezze babayeekera bano aba LRA eyali amnnyikiddwa nga Joseph Kony mu Gwomukaaga mu 1993. Mu 1993, yaweebwa engule y'okubeera omukyala w'omwaka mu olw'amaanyi geyateekamu okulaba nga akomekereza obutabanguko . Wadde nga yasisinkana Kony mu lukiiko, enteseganya z'agwa butaka mu Gwokubiri mu 1994. Oluvannyuma obuyeekera bweyongera, ng'era tewali kya'ammyi kyonna kyakolebwa mu myaka 10 egyaddako okulaba nga wabeerawo emirembe egitikikako .

Oluvannyuma lw'emyaka 10 ng'ali mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 1986 okutuuka mu 1996, yalemererwa okuwangula entebe ky'okubeera omubaka wa Paalamenti akiikirira munisipaali y'e Gulu mu 1996 era n'alekulira emirimu gya gavumenti. mu 2011, oluvannyuma lw'emyaka 15, yakomawo era n'awangula ekifo ky'okubeera Omubaka wa Paalamenti Omukyala eyali akiikirira Konsitituweensi mu Disitulikiti ya Amuru, ku tikiti ya National Resistance Movement.

Mu 1997, oluvannyuma lw'okutikirwa okuva ku Harvard, yafuna omulimu okuva mu Baanka y'ensi yonna mu Washington DC, nga omukugu ku by'embeera z'abantu ng'ali mu kitongole ky'abakola ku by'obutabanguko. Oluvannyuma, yawereza nga eyali yeebuzibwaako mu baanka mu kitongole kye by'obukuumi n'enkulakulana. Mu 1999 ne 2000, Bigombe yakwasizaako ku by'ekikugu eri aba Carter Center, munkwatagana ya gavumenti ya Uganda n'eye Sudan.

Oluvannyuma lw'okutibwa ky'abantu mu bungi okwali mu Barlonyo, Bigombe yeewumuzaamu okuva mu Baanka y'ensi yonna era n'alinya ennyonyi eyamukomyawo mu Uganda okugezaako okulaba nga addamu ensonga z'okutandikawo eddembe. Okuva mu Gwokusatu mu 2004 okutuuka mu 2005, Bigombe yeeyali akulira abaali mu masekati kw'okunoonya emirimbe n'abayeekera abaali begatira mu Lord's Resistance Army, nga ye nga omuntu yeeyatekamu ngamu ssente mu ngeri gyebyali bidukannyizibwaamu, n'okuleetera ba minista ba gavumenti ya Uganda wamu n'abayekera okubeera awamu. Olukiiko olwasembayo lwaliwo nga 20 Ogwokuna mu 2005, ng'era lwayitamu bulungi. Wabula oluvannyuma lw'okulemererwa kwa Bigombe okubakwataganya, kyalabibwa nga ekyatandikawo omulimu omunene ogw'enjogerezeganya ezaali mu kibuga ky'e Juba mu 2006 ne 2007, nga zino zaali zikubirizibwa gavumenti ya South Sudan. Enteseganya zino zaagwa butaka mu kaseera akasembayo, Joseph Kony bweyagaana okuteeka omukono kundagaano eyali eraga eddembe.

Mu 2006, yaddayo mu ggwanga lya Amerika n'awereza nga omuntu eyali ayize okuva mu bumannyirivu bwe ne byeyali afunye, ng'ali kutendekero lya US Institute of Peace mu Washington, D.C. Oluvannyuma, bweyali ku Woodrow Wilson International Center for Scholars, yaweebwa eky'omufirika eyalina obukugu mu kintu ekimu, nga nebano Washington, D.C. Mu 2007, yafuna engule y'okubeera omulwanirizi w'eddembe ng'akiteeka munkola okuva muba Tanenbaum Center for Interreligious Understanding.

Yaweebwa eky'okubeera ssentebe w'ekitongole ekivinaanyizibwa ku by'ebubaka mu Uganda ne Tekinologiya ekya National Information and Technology Authority in Uganda (NITAU) mu 2009. Mu Gwokutaano mu 2011, Pulezidenti Museveni yamuwa eky'okubeera Minisita Omubeezi ku by'ensulo z'Amazzi, ekifo kyeyalimu okutuuka mu Gwomukaaga mu 2014, n'alekulira okugenda okukolera mu Baanka y'ensi yonna .

Ebirala byeyatekangako essira

Betty Bigombe yali abadde omufumbo nga baawe yeeyali omubaka wa Uganda mu Japan. Yalina abaana babiri okwali; Pauline ne Emmanuel. INga ogyeko oluchooli n'oluzungu, ayogera oluswayiri wamu n'olujapaani.

Laba ne ne bino

Ebijuliziddwaamu

Ewalala w'oyinza okubigya

Tags:

Betty Oyella Bigombe Obulamu bwe nokusoma kweBetty Oyella Bigombe Emirimu gyeBetty Oyella Bigombe Ebirala byeyatekangako essiraBetty Oyella Bigombe Laba ne ne binoBetty Oyella Bigombe EbijuliziddwaamuBetty Oyella Bigombe Ewalala woyinza okubigyaBetty Oyella Bigombe

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Jose ChameleoneAmaanyiEttalo(Septic arthritis)Luganda - Lungeleza dictionaryChadPalabek KalEnzikuRwandaMoroccoOKULUNDA EKOOKO ENANSI NENZIJAJABAAsinisi Fina OpioLangiEkirwadde kya CholeraLiberiyaFreda Mubanda KasseBujuukoOKULUNDA EBYENYANJAEmpalirizo esikira mu makkati(Centripetal force)Muhammad SsegirinyaEkirongoosabirwadde (Surgery)Entaba-wordsOkusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)LuandaAllen KaginaObuwangaaliro( Environment)ENTOBAZIMauritiusEswatiniObulwadde bw'OkwebakaBbuulweObuyuteBulaayaObulungi bw'entangawuziSsekalowooleza KawumpuliOmwoloolaIngrid TurinaweAsiaEndagabwolekeroGloria NansubugaPpookinoEnvaAmabwa agatawonaPhilippa Ngaju MakaboreChileEnkyusabuzuba (Chemicals, Pure susbstances)Kizito omuto omujulizi omutuukirivuOmwololaLaura KahundeCameroonJesu KristoOmusujja gw'ensiriEmbu z'AmannyaDiana NabatanziKizza BesigyeLausanneJoyce BagalaEbijanjaloBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abedda(The Great Thinkers of Ancient Buganda)Kamwenge (disitulikit)Bawala ba Maria, Bannabikira bwanda🡆 More