Nancy Kalembe

Nancy Linda Kalembe (yazaalibwa mu 1980) munnabyabufuzi wa Uganda.

Yavuganya ku bwa Pulezidenti nga talina kibiina ky'agiddeko mu kulonda kw'eggwanga okwa 2021, era ye mukyala yekka eyali yesimbyeewo, naye yawangulwa Pulezidenti Yoweri Museveni eyali mu buyinza.

Obulamu bwe obwasooka n'okusoma

Nancy Kalembe yazaalibwa mu 1980 era yakulira mu disitulikiti y'e Iganga mu kitundu ky'e Busoga mu Uganda. Yali omu ku baana 18. Kalembe yazaalibwa George Patrick Bageya, eyaliko Ssentebe wa disitulikiti eye Iganga, ne Aida Cissy Kubaaza. Yasomera ku Mount Saint Mary's College Namagunga okufuna Uganda Certificate of Education ne Mariam High School ku Uganda Advanced Certificate of education. Mu 2007, yafuna diguli esooka mu kunoonyereza ku bantu okuva mu Makerere University.

Era yali muyizi nga muddusi mu Makerere, era yavuganya mu 2004 Summer Olympics ng'omuddusi,omubuusi era akasuka, naye, okusinziira ku bigambo bye, gavumenti teyasobola kuleeta abaddusi abaalina busobozi mu Athens.

Emirimu

Ebitongole eby'obwannannyini

Nga tanayingira byabufuzi, Kalembe yasomako ku mawulire ku Uganda Broadcasting Corporation ne bbanka ne kkampuni z'amafuta mu Nigeria ne Uganda.

Mu 2003, yavuganya mu mpaka za Nnalulungi asinga mu Uganda oluvannyuma lw'okusoomoozebwanga mikwano gye, abamuyitanga kyakulassajjamu bulamu bwe bwonna. Yatuuka abataano abasinga naye teyawangula; wabula, yalondebwa okuba omukyala omugezi ekyamuvrako okufuna omulimu ku leediyo eya Sanyu FM.

Kalembe era yakola emirimu egya firimu ne ttivvi, era yalabikira mu firimu ya The Apprentice Africa mu 2008.

Okuvuganya ku bwa Pulezidenti

Mu Ogw'omusanvu 2020, Kalembe yalangirira nga bwe yali agenda kwetaba mu kulonda kwa pulezidenti mu Uganda mu 2021. Yatongoza kampeyini ze mu Jinja mu Ogw'ekkumi nagumu 2020, ng'a tagenda kugira ku kaadi ey'ekibiina kyonna.

Ye mukyala yekka eyesimbawo okuvuganya ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga mu kulonda okwa 2021, era nga wakuna okwesimba ku kifo ekyo mu byafaayo by'eggwanga. Aba kuba nga yawangula kampeyini ze ez'ekiseera ekiwanvu, yeyandibadde omukyala asoose okufuuka pulezidenti owa Uganda.

Essira yasinga kuliteeka ku pulogulaamu ez'okulwanyisa obwavu n'ebbula ly'emirimu awamu eby'obulamu n'ebyokuzimba enguudo,amakolero,amalwaliro. Yayogeranga ku José Mujica Pulezidenti wa Uruguay nga omuntu gweyali yegomba mu by'obufuzi.

Kampeyini za Kalembe zamukaluubiriza ol'wbbeula ly'ensimbi. Yafuna obululu 38,772, oba 0.37 ku buli kikumi ku bungi bw'abantu bonna, mu kulonda, okwavaamu obutategeeragana wakati wa Pulezidenti Yoweri Museveni n'eyali amuvuganya enyo Bobi Wine eyawakanya ebyaava mu kulonda.

Obulamu bwe

Kalembe yafumbirwa mu 2007, naye oluvannyuma baayawukana n'omwami we. Alina abaana babiri okuva mu bufumbo obwo. Mu kukubaganya ebirowoozo n'ekitongole ekimu eky'amawulire mu Uganda, mu kampeyini ye ey'obwa pulezidenti, yagamba nti, "Afirika yerabidde nti bakyala abafirika balina amaaanyi oba balina abaami oba nedda....netaaga Katonda sossi mwami okufuna ekifo".

Ebyawandiikibwa

Tags:

Nancy Kalembe Obulamu bwe obwasooka nokusomaNancy Kalembe EmirimuNancy Kalembe Obulamu bweNancy Kalembe EbyawandiikibwaNancy Kalembe

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

OKULUNDA EBYENYANJAUfaBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abedda(The Great Thinkers of Ancient Buganda)CameroonMasakaNtauliraBusingye Peninah KabinganiEryokanga n’etonyaIgangaMoroccoComorosMolly Nawe KamukamaENTOBAZI N’EMIRIMU, N’EMIGASO GYAAZORonald ReaganAmerikaRobert KayanjaKibalirampuyibbiri(Integers)EritreaTekinologiya w'Abaganda Abedda(Technology used by the ancient Baganda)Nzikiriza ey'eNiceaEbirwaza(Diseases)91.3 Capital FMEkimuliEnsenkeOLWEZAOkukuuma obutonde bw'ensiOkudibaga okwakolebwa abafuzi b'amatwale(the distortions of colonialism)Namba ez'endagakifoLugandaDemocratic Republic of CongoNolweSouth SudanMauritaniaEkkuumiro ly'ebisolo erya BwindiObulamu obusirikituRomeOLUBUTO OKWESIBAMiria MatembeBoda-bodaBarbara KaijaEmpewo eya kiwanukaEvelyn AniteOkulima ebitooke ebyomulembeENIIMUAmelia KyambaddeEnsiYengaSiriimuObufo,Obusangiro, Obwolekero (Position, Location, and Direction)NakongezalinnyaVladimir PutinEmbeera z'Obuntu(Human emotions)Obukontanyo(Protons)GabungaNakongezakikolwaKatongaPeace ButeraJesca Ababiku🡆 More