Naira Ali

Nabattu Naira Ali (yazaalibwa 5 Ogw'ekkuminebiri 1988) munayuganda omuyimbi era musanyusa.

Obulamu bwe n’Okusoma

Nabattu yazaalibwa nga 5 Ogwekkuminebiri 1988 bazadde ye Ssesanga Ali ne Ssesanga Hawa, Ava mu kika kya Enjovu (ekitegeeza Enjovu) mu Buganda .

Pulayimale yagisomera mu ssomero erya Muslim Girls Primary School. Yaweebwa satifikeeti ye eya Ordinary level mu 2004 ku East High School. Yali mmemba mu kibiina ky'amasanyu ekya East High School ekyali kimanyiddwa nga "Da Bliss Club".

Mu 2006, yafuna satifikeeti ye ey’omutendera gwa A ku ssomero lya Kibibi Secondary School era nga muno mwe yakolera n’okukulira eby’amasanyu.

Mu 2012 yatikkirwa diguli eyookubiri mu by’amakolero n’ebyemikono ng’asoma ebifaananyi n’okukola emisono okuva mu Margaret Trowell School of Industrial and Fine Arts (MTSIFA) mu yunivasite y’e Makerere.

Maama, Nabattu yasengukira mu Amerika mu 2019.

Emirimu

Omulimu gw’okuyimba

Yawandiika n’okukwata oluyimba lwe olwasooka ne Dove MC ku myaka 14 mu situdiyo z’emizabbibu entuufu era nga yafulumizibwa Didi mu 2001. Yassibwako omukono okuva mu kkampuni y'abayimbi eya Purple Chord Africa mu 2015.

Mu 2019 yayimba mu ttabamiruka w’ekibiina kya Uganda North American Association ( UNAA) ekyagendereddwamu okutumbula enjawulo mu buwangwa n’okutumbula ebyenfuna ng’ayita mu kutondawo ekibiina ky’abagwira eky’amaanyi. Omukolo guno gwabadde ku wooteeri ya Hyatt Regency mu kibuga Chicago ng'ali wamu n'abayimbi abalala okwabadde Kenneth Mugabi, Jose Chameleon ne John Blaq .

Ennyimba ze enkakafu

Album z'ennyimba

  • "Amaloboozi ga Naira Ali"
  • "Iam Naira Ali" yafulumizibwa mu 2018
  • "Naira Ali" yafulumizibwa mu 2020

Ze yayimba yekka

ezimu ku nnyimba zeyayimba ng'ali yekka kuliko;

  • Okikola Otya nga eno ye yali break through single ye
  • Binyuma
  • Masala
  • Omuwala alina ensonyi feat. Bafana
  • Nakupenda
  • Sikyalinda
  • Omutemu ow'omuddiring'anwa

Awaadi n'okusiimibwa

  • Mu 2009, yali mu 10 abasinga okutuuka ku fayinolo mu mpaka za Tusker Project Fame .
  • Mu 2009, ye yali omuyimbi asinga mu masekkati n’obugwanjuba okuva mu mpaka za Diva Music Awards.

Emirimu emirala n’eby'atuseeko

Bulijjo Naira abadde awagira abaana ba Music For Life Africa (MULIA) Foundation Children. MULIA etegeka ebivvulu by’abazirakisa buli mwaka wansi w’emiramwa egy’enjawulo kwe basonda ssente okuwagira abaana abataliiko mwasirizi abalina ebitone era n’ettendekero ly’ebyobuwangwa erya Mulia.

Ye nnannyini Global Datacard nga eno kkampuni ekola ebifaananyi n’okukuba ebitabo.

Obutakwatagana

Nabattu yazaalibwa mu famire y'Abasiraamu eya Mw. Ssesanga Ali eyamwegaana n'amuzaalukuka olw'okuyimba oluyimba olwatuumibwa "Sinze". Kino yakiddamu ng'akakasa nti "akkiririza mu Katonda."

Mu 2019, Naira Ali ng’ali wamu n’abayimbi abalala okwali Fille Mutoni, John Blaq ne Geosteady kigambibwa nti baagaanibwa viza za Amerika okuyimba mu ttabamiruka w’ekibiina kya UNAA kubanga tebaalina lukusa lwa kuyimba.

Laba ne

Ebijuliziddwa

Tags:

Naira Ali Obulamu bwe n’OkusomaNaira Ali EmirimuNaira Ali Ennyimba ze enkakafuNaira Ali Awaadi nokusiimibwaNaira Ali Emirimu emirala n’ebyatuseekoNaira Ali ObutakwataganaNaira Ali Laba neNaira Ali EbijuliziddwaNaira Ali

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

BobiEkigoberero kya AkimeediziEssomabiramuBudduMalawiVilniusEmpeekeraEkyekebejjo (Empiricism)NTV UgandaPeruVeronica Namaganda NanyondoOkucaafuwaza AmazziOmulimi Owedda n'owaleeroCayinaObukontanyo(Protons)KatakwiEnglish - Luganda thematic dictionaryEkkuumiro ly'ebisolo erya Kidepo ValleyRomeOkulambika ebirowoozo(Inductive reasoning)NolweEmbizziAmambuluggaKira, YugandaKalungu (disitulikit)ChadBrian AheebwaBulaayaLilongweEdith Mary BataringayaMusanvuEbyobufuna bya Buganda Eyedda (the Political economy of precolonial Buganda)AmuriaBukiikaddyoEndagabwolekeroRwashaKilembe, YugandaEkitangattisa(Photosynthesis)Queen Elizabeth National ParkOkusomaIshasha, YugandaJuliana KanyomoziBweyogerereOmuntuAmama MbabaziAllen KaginaNamaganda SusanKkumi na nnyaLwengo (disitulikit)MaliLuganda - Lungeleza dictionaryLydneviAlice KaboyoSiriimuEDAGALA LY'AMANNYI G'EKISAJJA ERYEKINANSIMowzey RadioAmerikaVayiraasiWalifu y'Oluganda🡆 More