Florence Nebanda

 

Florence Andiru Nebanda, gwebasinga okumannya nga Florence Nebanda, munabyabufuzi Omunayuganda ng'ate munamateeka ali kukakiiko akakola amateeka. Ye Mubaka Omukyala owa Paalamenti akiikirira Disitulikiti ya Butaleka mu Paalamenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo mu Gwokubiri gwa 2013, ng'adira mutoowe mu bigere Cerinad Nebanda, eyafa ng'ali mu ofiisi eno mu Gwekumineebiri mu 2012. Mu 2021, baddamu nebamu londa mukifo kyekimu.

Obulamu bwe n'okusoma kwe

Y'asooka mu famire y'abaana omunaana, nga omulenzi ali omu n'abawala musanvu nga baamuzaalira Entebbe nga 9 Ogwekumi mu 1986 nga kitaawe ye omugenziPeter Waiga ne maama we Alice Namulwa. Yagenda ku masomero gamu Uganda okutuusa bweyamaliriza S6 ku Katikamu SDA Secondary School e Wobulenzi mu disitulikiti ye Luwero mu 2013. Yasenga ng'agenda mu Bungereza okwenyongerayo n'emisomo gye. Yakomawo mu Uganda oluvannyuma lwa muganda we Cerinah Nebanda okuva mu Gwekumineebiri mu 2012. Kigambibwa alina Diguli mu kudukanya n'Okumannya embeera z'Abvakozi gyeyafuna okuva ku University of East London mu 2008 wamu ne Diguli ey'Okubiri mu kumannya n'okudukanya embeera z'abakozi munsi yonna, okuva ku University of Bedfordshire mu ggwanga lya Bungereza.

Emirimu gye

Nga 14 Ogwekumineebiri mu 2012, Cerinah Nebanda, eyali Omubaka wa Paalamenti omulonde akiikirira konsitituweensi ya Butaleja yafa mungeri ya kibwatukira,ekyaletera ekifo kino okubeera nga kyali tekirina muntu akidukanya. Mu kulonda okwali okw'ekitundu ekimu okujuza ekifo kino ekitaalimu mubaka, mukulu we Florence Andiru Nebanda yawangula ng'agidde ku tikiti y'ekibiina kye by'obufuzi ekya National Resistance Movement. Yalina okuwereza ekisanja ekyali kisigaddeyo okutuusa akalulu ka bonna akaalina okubeerawo mu Gwokusatu gwa 2016. Yaliko ne kukakiiko akavunaanyizibwa kunsonga za Pulezidenti wamu n'embalirira.

Obulamu bwe

Nebanda ayagala nnyo okubaka nga byebimu ku by'asinga okwenyigiramu, kuba y'oku kubaali ku ttiimu ya Paalamenti eyeetaba mu mpaka z'okubaka mu Paalamenti eyomwenda. Atera okusoma obutabo wamu ne bayibuli.

Laba ne bino

Ebijuliziddwamu

Ewalala w'oyinza okubigya

Tags:

Florence Nebanda Obulamu bwe nokusoma kweFlorence Nebanda Emirimu gyeFlorence Nebanda Obulamu bweFlorence Nebanda Laba ne binoFlorence Nebanda EbijuliziddwamuFlorence Nebanda Ewalala woyinza okubigyaFlorence Nebanda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Abantu abasinga tebamanyi mugaso gwa ntobaziChadEntababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)Kazannyirizi(Character)CameroonEmeere bugaggaPrincess Elizabeth of TooroENKOKO ENNANSI EREETA AMAGOBALaura KahundeLawrence MulindwaEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?Ssekalowooleza KawumpuliAkaziba ka ayidologyeni (hydrogen atom)NakongezakikolwaAkafubaKibwankulataEmyezi mu MwakaWinnie KiizaKaluleGloria NansubugaKatongaEnkokoLangiSalim SalehCzechiaBakakensa ba Buganda abedda (the Scientists and Philosophers of ancient BugandaAllen KaginaYitaleEkinonoozo (Engineering)UetersenKinshasaFrida KahloKayunga (disitulikit)Angella KatatumbaEbyobuwangwa (Culture)Philippa Ngaju MakaboreImmaculate AkelloOLWEZAChileEbikolwaWinnie ByanyimaDiana NabatanziRepublic of CongoEby'obutondeEBISOKOEritreaMulalamaNakasigirwaEKIKA KY'EMPEEWOOkulima ebinyeebwaMpigi (disitulikit)Amabwa agatawonaAmaanyiAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaOkulima amayuniAlgeriaNnaabagereka Sylvia owa BugandaGautama BuddhaAlice KaboyoTororo (disitulikit)Endwadde y’omutimaButambala (disitulikit)Jackie SenyonjoOKULUNDA EKOOKO ENANSI NENZIJAJABABurundiObuwakatirwa🡆 More