Olubu tusobola okukiyita oluse omugwa omuntu, ekintu oba ekifo.
Mu Luganda tulina ebigambo eby’enjawulo era ng’ebigambo bino kinnakimu birina embu mwe bigwa. Tulina embu z’ebigambo mwenda omugwa ebigambo by’Oluganda byonna era nga ze zino wammanga:
Erinnya kitegeeza ekyo ekintu kye kiyitibwa.Okufaananako n’ennimi endala, mu Luganda namwo mulimu amannya agayitibwa oba agatuumibwa abantu, ebintu oba ebifo. Amannya gano galimu ebika ebiwerako wabula nga mulimu ebika ebikulu bibiri:
Gano gabeera mannya agatuumibwa abantu, ebintu n’ebifo, nga tegakyukakyuka era nga gasigalawo nga malamba ne bwe gaba nga gateereddwa mu mbu z’amannya ez’enjawulo.
Amannya gano gaawulwamu ebiti mukaaga era nga bye bino wammanga:
N'ebika ebirala.
Weetegereze:
1. Bulijjo bwe tuba tuwandiika amannya gano tugatandika na nnukuta nnene erinnya ne bwe liba nga liwandiikiddwa wakati mu sentensi okugeza;
2. Era bwe tuba tuwandiika amannya gano tugawandiika gokka nga tetugagasseeko kigambo kirala kyonna ekibeera mu sentensi.
Gano gabeera mannya agatwalira abantu oba ebintu awamu era nga googera ku kintu oba ebintu eby’enkalakkalira. Eby’okulabirako:
Weetegereze: Amannya gano tegawandiikibwa na nnukuta nnene okuggyako nga gatabdika sentensi. Eby’okulabirako:
Ebibinja by’amannya ebirala:
Waliwo ebintu mu Luganda nga birina amannya naye nga tebibalika. Kwe kugamba nti omuntu tayinza kugamba nti nnina kimu oba bibiri ng’ayogera ku bintu nga: Amata, sukaali, amazzi, omunnyo, ettaka, omwenge n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo. Wabula, singa oba oyogera ku bika by’ebintu bino oyinza okulaga omuwendo gw’ebika, okugeza,
a) Ebika by’omuddo bibiri, kanyeebwa n’olumbugu bye bitutawaanya ennyo munnimiro zaffe. b) Ntwalira ebika by’omwenge ebyo byombi obitunde.
Weetegereze:
Amannya gano tegawandiikwa na nnukuta nnene okuggyako nga ge gatandika sentensi.
Gano ge mannya agoogera ku bintu ebingi naye nga biteereddwa mu ttuluba limu agamu ku go ge gano: Eggye , eggana, ekibiina, ekinywa, omutwalo, oluwungu n’amalala.
Mu Luganda eriyo ebintu nga tubyogera lunye wabula nga tetusobola kubikwatako oba okubiraga bannaffe. Ebintu bino tubiwulira buwulizi oba tulaba abantu nga babikola oba oluusi ne tulowoozaako birowooze ebimu ku byo bye bino; Empewo, akajanja, akababba, omukwano, ettima, ekiwuubaalo, essanyu, ebbula n’amalala.
This article uses material from the Wikipedia Luganda article Embu z'Ebigambo, which is released under the Creative Commons Attribution-ShareAlike 3.0 license ("CC BY-SA 3.0"); additional terms may apply (view authors). Content is available under CC BY-SA 4.0 unless otherwise noted. Images, videos and audio are available under their respective licenses.
®Wikipedia is a registered trademark of the Wiki Foundation, Inc. Wiki Luganda (DUHOCTRUNGQUOC.VN) is an independent company and has no affiliation with Wiki Foundation.