Ebyetaago By'obulamu Eby'omubirithe Physical Needs Of Life

Ebyetaago eby’Obulamu eby’Omubiri okusinziira ku Charles Muwanga.


“Omuntu kalimagezi” (intelligent man) era alina okumanya ebyetaago by’obulamu eby’omubiri, wakiri ebisookerwako n’engeri emibiri gyaffe gye gikolamu.

Mu mibiri gyaffe mulimu ensengekera z’omubiri (life systems) ez’enjawulo kubanga buli kitundu kya mubiri kirina ensengekera yakyo. Omugatte gw’ensengekera z’omubiri ez’enjawulo gwe gukola ensengekera y’omubiri (body system) ey’awamu.

Ensegekera y’omubiri eyimiriddewo ku :

(i) obuzimbe bw’amagumba (the skeletal structure), (ii)obuyungiro (joints), (iii)ensengekera y’ebinywa n’emifumbi (muscular system), (iii)ensengekera y’obusimu bw’omubiri (nervous system), (iv)ensengekera y’obuvuluzi (endocrine system); (v)enneetoloola y’omusaayi n’omukka ogussibwa (circulatory system); (vi)ensengekera y’ennyingiza n’enfulumya y’omukka (respiratory system); (vii)ensegekera ekamula ebiriisa mu mmere (digestive system); (viii)ensengekera efulumya omusulo mu mubiri (urinary system); (ix) n’ensengekera ey’ekizadde (reproductive system).

Tulina ekkolero ly'enkyusabuziba(chemicals) eddene mu mibiri gyaffe eryeyolekera mu “kikyusabuziba” (chemical reactions) okuba kugenda mu maaso buli kaseera nga ffe tetulina kye tuwulira kigenda mu maaso mu mibiri gyaffe, nga tubadde balamu bulungi.

Entomeggana za kemiko (chemical reactions) zino ze zivunaanyizibwa ku buli kintu ekigenda mu maso okutereeza obulamu era kino kiyitibwa “mutereezabulamu” (metabolism). Omubiri okuba nga guli mu mbeera ya mutereezabulamu ennungi, ntegeeza nga “okutomeggana kwa kemiko” kutambula bulungi, kye kikusobozesa okwewulira obulungi mu mubiri n’obwongo bwo okusobozesa omulengera gwo okuba nga gukola bulungi.

N’olweekyo, omubiri gw’omuntu gwetaaga okuba nga mulamu okusobola okukuuma obuzimbe bwagwo n’ensengekera zagwo ez’enjawulo nga bwe nziraze waggulu. Omuntu okukuuma omubiri gwe nga mulamu bulungi; ntegeeza nga gukola bulungi, alina okuguwa ebyetaago byagwo omuli emmere, obujjanjabi, amazzi, okukola dduyiro, n’ebirala.


Omubiri okuba omulamu kyetaagisa:


Okulya emmere ennungi mu bigero ebyetaagisa

Okunywa amazzi amayonjo omubiri gwe getaaga.

Okussa omukka omulungi

Ebbugumu ery’ekigero

Okukozesa omubiri dduyiro (physical exercise)

Obujanjabi

Obuyonjo(okuguyonja)


Ebyo byonna bye bisobozesa enkola za mutereezabulamu (metabolic processes) okugenda obulungi mu maaso. Okusegeera (sense perception) kikolwa kya bwongo na busimu bwa mubiri naye ate okutegeera, okwekenneenya n’okwefumiitiriza byo bikolwa bya mulengera. Omulengera bwe busobozi obutalabika obuva mu bwongo obulabika.

Okusegeera kutandikira mu sensa z’omubiri ettaano ne kuggweera mu bwongo, olwo omulengera ne guleetera omuntu okumanya ekyo ky’asegedde (ekisensedde omubiri gwe). Okusegeera kulimu obusobozi bw’omubiri okuketta okuyita mu sensa ettaano:


•Okusenserwa (feeling) =kuva mu enketteso y’okukwatako

•Okuwunyiriza=okuva mu enketteso y’enyindo

•Okulega =enketteso lwe lulimi(okukombako)

•Okuwulira =enketteso g’amatu

•Okulaba =enketteso g’amaaso

Omuntu singa teyalina nketteso ya kusenserwa (sense of feeling) yandibadde alinnya ku liggwa oba n’ayokyebwa omuliro n’atafuna kusenserwa kwonna, ekintu ekyanditadde obulamu bwe mu katyabaga k’okufa ebiwundu. Ate era singa yali tawulira, tawunyiriza, talaba, yadde okulega teyandisobodde kuwuliziganya na muntu munne (okuyiga), okusikirizibwa okulya oba okulaba ekintu kyonna.

Okusegeera kikolebwa obusimu bw’omubiri obuketta oba obubega ne buweereza ku bwongo obukola okutaputa n’osobola okulaba, okuwunyiriza, okuwulira, okusenserwa ky’okutteko, oba okulega ky’okombyeko.

"Obutaffaali bw’Omubiri"(the body cells)

Jjukira nti omubiri “omulamu gwe gukola omulengera omulamu “(a healthy body makes a healthy mind). N’obusimu bw’omubiri buyinza obutakola bulungi ng’omubiri teguweereddwa byetaago byagwo ebyo waggulu.

Omuntu kalimagezi n’olwekyo alina okumanya ebyetaago by’omubiri ebyetaagisa okumukuuma nga mulamu era n’akimanya nti singa tebiriiwo aba akosebwa mu bulamu bwe obw’omwoyo ne mu busobozi bw’omulengera.

Buli kitonde ekirina obulamu kikolebwa “obutaffaali obulamu” (living cells). Omubiri gw’omuntu gulimu obutaffaali buwumbi na buwumbi.

Obutaffaali bulina obuzimbe bwe bumu naye bukola ebintu bingi eby’enjawulo okusinziira ku ngeri Katonda gye yabuteekateekamu omuli n’obutaffaali obumu obukola ogw’okuzaala obutaffaali obulamu obulala mu kiyitibwa enjabuluza y’akataffaali (cell division).

Waliwo obutaffaali obutwala wokisijeni mu bitundu by’omubiri ate obulala ne bukugira bakitiiria ne vayiraasi okulumba omubiri ate obulala ne butambuza sigino okuva ku bitundu ebya sensa eby’enjawulo, ebitaano, okuzizza mu bwongo.

Mu butuufu mu kaseera kano waliwo obutaffaali obuli mu kutambuza sigino okuva mu maaso go okuyingira obwongo ng’oli mu kusoma bino. Obutaffaali obumu bukyuusa amasoboza ag’enjuba (sun’s energy) okugafuula emmere (ekiriisa) mu bimera. Kino kiyitibwa kitangattisa (photosynthesis).

Ebikolebwa obutaffaali obuzimba omubiri (body cells) obw’enjawulo bisibuka mu mpuzibbiri eyitibwa “endagabutonde” (DNA). Taminologia obutereko (genes) n’ey’endagabutonde, zitera okubuzaabuzibwa nga ezitegeeza kye kimu naye ekituufu kiri nti obutereko kitundu kya ndagabutonde omuterekwa ebiragiro ebisomebwa endagabutonde.

Kati awo olina ky’otegedde ku lwaki omulengera gwo okubeera nga gukolera ku misinde, obubiri gwo okufaanana n’omwoyo, gulina okuba nga mulamu bulungi.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Democratic Republic of CongoSeetaDiana NabatanziNakongezakikolwaEndagabwolekeroAmasannyalazeEnnyingo(Terms, nomials)Mode Gakuen Cocoon TowerLumonde awusseBujuukoNwoya (disitulikit)Bernadette OlowoAbantuLuandaEkibalanguloAligebbulaMukaagaAsiaPpookinoIsilandiRubindiIShowSpeedJuliana KanyomoziKyendaEMMYEZIAmaanyiTheodore SsekikuboBakitiiriyaNakasigirwaNTV UgandaFrancis ZaakeEkibulunguloRosemary SenindeEkiwalataObulwadde bw'OkwebakaOmwesoChadNsanyukira ekigambo kino lyricsOkulima ebitooke ebyomulembeEmmanvuRomeEmikwataganyo gy'Essomampuyissatu(the Trigonomical Functions)CaayiJessica AlupoObuyuteMedellínMalawiLugajambula (Predator)Amasoboza ag'amasannyalazeWinnie ByanyimaNangugubiro(ohm, unit of electric resistence)EnvaKayunga (disitulikit)Obutoffaali(Particles)Jackie SenyonjoKizza BesigyeEmeere bugaggaAmaanyi g’EnjubaLausanneNzikiriza y'AbatumeObuwangaaliro( Environment)Butambala (disitulikit)BudadiriOkulima amayuniAchia Remegio🡆 More